TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abasuubuzi balumiriza Meeya okubasibako abatundira ku nguudo

Abasuubuzi balumiriza Meeya okubasibako abatundira ku nguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2018

Abasuubuzi b'e Kyaliwajjala basonze ku bakulembeze baabwe okulemeza abatundira ku nguudo ekibalemesezza okutunda ng'ate bawa empooza.

Abasuubuziabagalajanaolwabanabweabatundiramuluguudongabalimukataleuseyiiyawebsite 703x422

Abasuubuzi mu katale ka Kyaliwajjala Market Centre

 

Bya Tonny Kayemba

Abasuubuzi abakolera mu butale obw’enjawulo busatu e Kyaliwajjala mu divizoni y'e Namugongo mu Munisipaali y'e Kira balumirizza meeya wa Kira Julius Mutebi Nsubuga ne ssentebe w’ekyalo Kyaliwajjala Edward  Musisi n'abamu ku bakozi ba gavumenti ku Munisipality e Kira okubeera emabega w'egimu ku mivuyo egiri mu butale bwabwe omuli n'okulemezaawo abatundira ku nguudo be bagamba nti balina okuggyibwako kuba babalemesa okutunda ng’ate basasula emisolo bo gye batawa.

Musa Kayondo akulira akatale ka Kyaliwajjala Market Centre, Moses Opoloti owa People's Market ne Geoffrey Kabugo baategeezezza nti bazze beekubira enduulu eri abakulembeze ku Munisipaali ne divizoni  okubayamba babagobere abasuubuzi abatundira ku nguudo ng’ate tebasasula mpooza yonna kyokka tewali kikolebwa. 

 usa ayondo ssentebe wakatale ka yaliwajjala arket entre Musa Kayondo ssentebe w'akatale ka Kyaliwajjala Market Centre

 

Okuyingizza Meeya Mutebi mu mivuyo gino, kiddiridde okutegeezebwako nti waliwo abasuubuzi abakozesa ensimbi nga bazitwala ku munisipaali n'ekigenderwa eky'okubaleka bakolere ku nguudo nga kiteeberezebwa nti bazikwasa abamu ku bakulu ku munisipaali.

Bannyonnyodde nti, bazze batuula n’abakulembeze mu nkiiko ez'enjawulo okulaga obulumi bwe bayitamu era ne babategeeza nti bagenda kubagobawo kyokka obudde oluwungeera n’emisana nga bakomawo nga kigambibwa nti ebiteeso bye baba bateesezza mu nkiiko bikomawo ng’abakulu babayita emabega ne boogera nabo mu nkukutu ne babalagira okuddamu okutundira ku nguudo.

Balumiriza Ssentebe w'e Kyaliwajjala, Edward Musisi okutuuza enkiiko eziragira abasuubuzi  abakolera ku nguudo okuddako nga tasoose kutegeeza ku bakulu abalina obutale mu kitundu ng’akikola n’ekigendererwa okwefunira obuganzi  mu bantu.

Edward Musisi, Ssentebe w'e Kyaliwajjala ‘A’ yategeezezza ng’ebimwogerwako nti alina omukono mu bantu abakolera ku luguudo e Kyaliwajjala ne balemesa abakatale okukola ebintu byabwe ne bivundira ku midaala bwe babimusibako olw’empalana z’ebyobufuzi eziri mu bamu ku bakulembeze b’obutale buno.

Musisi yagambye nti, obuzibu we businga okuva kwe kuba nga ssentebe w’akatale ka People's Market Moses Apoloti bwe yali amwesimbyeko ku kifo ky'obwassentebe w'ekyalo n’amuwangula ng’ono yalemererwa okunoonya akalulu obulungi mu basuubuzi ng'agenda abagamba nga ssentebe Musisi bw’atadde abantu ku luguudo okukolerako ng'abasaba bamuwe akalulu asobole okubagobako ng'atuuse mu ntebe.

“Siyinza kuyingira mu ntalo za butale kubanga nnina emirimu gyange n’obuvunaanyizibwa abatuuze b'e Kyaliwajjala ‘A’ bwe bampa okubakulembera. Nsaba bassentebe bakolagane ne kkanso okugonjoola ensonga zaabwe.”

 sentebe dward usisi Ssentebe Edward Musisi

 

Okutundira ku luguudo kireetedde entambula y'ebidduka okusannyalala kuba amakubo bagakola nga mafunda  ekintu  ekivaako obubenje mu kitundu.

Basabye abakulembeze okuva mu mivuyo gino kubanga kizza ekitundu kyabwe emabega kubanga tewali nkolagana mu bizinensi n’abakulembeze.

Irene Namazzi, Town Clerk wa Namugongo divizoni mu lukiiko olwasembayo yasaba abasuubuzi okubeera abakkakkamu kubanga ensonga yaabwe ey'okubagobera abasuubuzi ku nguudo bagenda kugikolako.

Meeya Mutebi yategeezezza nga bwatalina nkolagana n’abantu abakolera ku nguudo kubanga bakolerawo mu bukyamu era n’ategeeza nga kkanso bwe yabalagira edda okwamuka ebifo bino lwakuba abamu bakyalemeddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...