TOP

Emirimu gy'oyinza okutandikirako ne weekulaakulanya

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2018

Abavubuka bangi balowooza nti olumala okusoma balina kunoonya mirimu egitakyalabika era ekyo nakyo ne gufuuka mulimu. Wuuno Kenneth Wasswa akuwa amagezi ku ngeri y’okwekozesa n’oyingiza ssente nga bw’onoonya ebirala.

Kenethwasswawebuse 703x422

Wasswa ng'ali mu dduuka lye ly'addukanya kati

 

Bya Prossy Nababinge

BULI muvubuka agenda ku ssomero aliko ekirooto ku ky’ayagala okubeera. Ebirooto ebimu bituukirira so ng’ebirala tebituukika era kino kye kisinga okweraliikiriza abasinga.

Kenneth Wasswa, omu ku bavubuka abaasalawo obutalera ngalo ng’amalirizza emisomo gye. “Mu kiseera nga nsoma, natandika okukola emisubbaawa awaka era we natuukira okumaliriza emisomo nga nnina ku ssente.

Zino ze nneeyambisa okutandikawo bizinensi yange era nga mu kiseera kino nneekozesa.

Nkubiriza abavubuka obutanyooma mirimu n’okwagala ekyo kye bakola newankubadde nga kiyinza okubeera nga kyawukana ne kye baasomerera.

Okukola omulimu gwonna kutandika na kwagala era mu kiseera nga ndi mu luwummula oluwanvu lwa siniya eyoomukaaga nasalawo okusoma satifiketi mu kufumba era bwatyo natandika okukola cookies n’obundaazi nga mbutambuza mu masomero.

Ekiseera kyatuuka nga nnina okweyongerayo okusoma era maama yampa amagezi njige okukola emisubbaawa.

Yamba n’entandikwa ya 600,000/- era gye byaggweera eno ye bizinensi eyampeerera ku Buganda Royal University gye nasasulanga 800,000/- wabula nga maama annyongerezaako entonotono.

Nasomanga bwe nkola emisubaawa kwe nagatta okulunda embizzi. Nasooka kugulayo bbiri ku 100,000/- buli emu ne zizaala obuto  munaana awo ne nsimbula saddirira.

Nga nkyali mu misubbaawa n’okulunda ate waliwo omuntu eyampa amagezi okusuubula ebyamasannyalaze. Omusaala gwe nali nfuna eno gwali mutono wabula nasalawo okugutwala ng’essomo era ekiseera kyonna kye namalayo sikyejjusa.

Nga njize bizinensi eno bw’etambula, natandika mpola okukwata ssente ze nabanga nterese ne nsuubulamu ebintu ne mbitundira mu bya mukama wange oluvannyuma lw’okumusaba olukusa.

Oluusi, ebimu nabigulanga mbitereka era we natuukira okuva ewa mukama wange nga mpezezza ebintu ebitandika edduuka.

Nnatandika n’essa limu wabula mu kiseera kino nagaziwa era nneekozesa.

Amagezi ge mpa abavubuka kwe kutandikira ku mirimu gye basola okukola nga tebataddeemu ssente nnyingi bagende nga bayiga mpola bizinensi olwo lwe banaakulaakulana okusinga okulinda okukozesebwa.

Egimu ku mirimu gy’osobola okutandikirako kuliko; Okusuubula obuntu obutonotono kyokka nga byetaagibwa naddala ebyokwewunda by’abakyala, emirimu gy’okukuba ebifaananyi, okusiika obumpwankimpwanki n’emirala egiteetaagisa kapito mungi okutandika.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...

Crisps4webuse 220x290

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe...

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.