TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Obudde bw'omala mu ofiisi nga tolina ky'okola bukolemu ssente weekulaakulanye

Obudde bw'omala mu ofiisi nga tolina ky'okola bukolemu ssente weekulaakulanye

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

Omulimu gwa ofiisi nagwongerezaako okuyiiya ebirala nkozese ebiseera bye nali nyonoona mu kutuula obutuuzi nga ninda abaguzi.

Zziwa3web2 703x422

Ann Zziwa ng'aluka ebitimbisibwa okuva mu mawulire ku mulimu w'atundira eby'emmotoka

Bya Stella Naigino

Ensi weetuuse buli omu kimukakatako okukola ennyo asobole okubeerawo, era nga kino kyetaagisa okuba omuyiiya ennyo.

Wabula abantu abasinga bwe bafuna emirimu gya ofiisi ng’olwo balowoza nti batuuse, naye oluvannyuma bakizuula nti ssente ze bafuna ntono ddala era tezibamala.

Abamu bayiiya ne bateekawo bizinensi wabula abalala bakola ebyo bye bawulira nga bayaayaana okukola.

Ann Zziwa, atunda sipeeya wa mmotoka, wabula yasalawo nti ajja kukolera mu ofiisi ye olwo ayongere ku ssente z’afuna asobole okwekulaakulanya.

 kinyonyi kyennyonyimuzinge ziwa kye yakola mu mawulire Ekinyonyi ky'ennyonyimuzinge Zziwa kye yakola mu mawulire

 

Yatuula n’alowooza ku ky’asobola okukola nga tateesemu nnyo budde kyokka ng’afunamu ssente. Yali alina amawulile amakadde mangi nga ge yaterekanga n’asalawo okunoonyereza ky’asobola okugakozesa.

Yeeyambisa emikutu gya yintaneeti era oluvannyuma yafuna eky’okukola nga byali bimuli. Ono akola buli musono era nga kati yafuna n’akatale.

Engeri gy’abikola

Yasookela kukozesa mawulire makadde naye kati agula empapula mu Kikuubo.

Zino azisalaasala n’atandika okuzifunya nga bw’azigatta okusobola okufuna ekintu ky’abeera ayagala okukola.

Bw’amala ateekako gaamu okusobola okugatta ky’aba akoze kisobole okuwangaala.

Gaamu bw’akala, ng’olwo Zziwa amanya nti ekyo kiwedde.

 bintu ebirala ziwa byakola mu mawulire Ebintu ebirala Zziwa by'akola mu mawulire

 Zziwa annyonnyola nti, mu kifo ky’okwebaka nga talina by’akola mu ofiisi, akolamu ebimuli bye era nga kino kimukuuma alina ky’akola buli kiseera ate n’afuna ssente.

Ebimuli bye abiguza abantu abatimba ku mikolo nga n’abamu ku bakasitoma be bagula ebintu bye ne babitimba mu maka gaabwe.

Agamba nti, omuntu yenna bw’aba anaakola bizinensi, tekyetaagisa nnyo ssente wabula kapito asobola okuba mu mutwe gwo n’ebyo by’olina ewuwo. Wabula abantu abasinga, baagala okukola kubanga abalala bakola.

Kola ekyo ky’oyagala era ekikuwa emirembe olwo ne bw’ofuna ebikusoomooza, osigala olemerako era n’otereeza ebyo ebiremye.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...