TOP

Akozesa kasasiro okuwunda ebintu mw'afuna ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

Engeri gy'okozesa kasasiro akwetoolodde n'ofuna ssente nga totaddeemu kapito mungi ate ng'okuza n'ekitone.

Mutaasa3webuse 703x422

Mutaasa ng'alaga ekimu ku bifaananyi kye yakoze mu ndabirwaamu enjaseeyase

Bya Stella Naigino

Ennaku zino, abazadde baagala nnyo abaana baabwe okusomerera emirimu egy’omu ofiisi nga bano basuuliridde ebitone by’abaana.

Kino kivuddeko n’abaana abamu okusoma okusanyusa bazadde baabwe nga bwe bamala, bakola ebyo bye baagala okusobola okukuza ebitone byabwe.

Markmoon Mutaasa alina diguli mu Social Work and Social Administration okuva mu yunivasite y’e UCU Mukono, era bwe yamaliriza yafuna omulimu ku ttendekero lino ng’akola ku nsonga z’abayizi. Wabula okugatta ku mulimu gwe, mu biseera bye eby’eddembe, akola ebintu eby’enjawulo okuva mu kitone kye ng’ate akozesa bintu ebimwetoolodde nga tabitaddeemu ssente nnyingi.

Mutaasa alonderera buli ky’asanga omuli: amayinja, endabirwamu, obusumuluzo obusuulidwa na buli kimu amaaso ge kye galaba era mu bintu bino byonna akolamu ebintu ebisikiriza abantu by’atunda ssente empitirivu.

Mu by’asinga okukola, ze fuleemu z’amayumba era nga zino azikola mu ndabirwamu ezaayatika ng’azigattagatta n’afunamu ekyo ky’aba aluubirirwa okukola.

Kino akikola atya?

Mutaasa agamba nti, nga tannakola asooka kuteekateeka bintu bye yeetaaga okukozesa era mu bino mulimu, eggiraasi ezaayatika, endabirwamu ezaayatika, embaawo, emisumaali, ggaamu ne langi.

 utaasa ngalaga ekifaananyi kye yakolamu omusaalaba Mutaasa ng'alaga ekifaananyi kye yakolamu omusaalaba

 

Bw’amala, akola fuleemu mu mbaawo n’emisumaali era nga wakati ateekawo akabaawo olwo n’akubako ekifaananyi ky’ekintu ky’ayagala okukola.

Bw’amala akwata ggaamu n’amussa ku kabaawo n’atandika okuteekako eggiraasi oba endabirwamu nga yeetoolooza ekifaananyi kyakubye alyoke afune ekyo ky’ayagala.

Bw’amaliriza fuleemu eno agiwa obudde okukala era nga bw’eba ekaze bulungi, agitonaatona ku mabbali ng’akozesa ebintu ng’ebisumuluzo by’alonda n’ebirala by’aba alina.

Bw’amala okutonaatona ekintu kye ng’olwo akiteeka mu ofiisi ye era abakigula mwe bakirabira.

Wabula bw’aba akola ebintu bye, abikola n’essanyu era nga teyeetya. Abantu abamusanga alonderera ebintu bamusekerera naye ye tafaayo kubanga abeera amanyi ky’ayagala.

Agamba nti, abavubuka abawoza gavumenti etuyambe balina okutunuulira ennyo ebitone byabwe olwo balabe kye basobola okubikozesa okweteekerawo emirimu.

Ssente z’afuna zimuyambako mukukola ebintu ebirala wabula ng’aziggyayo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afuddebulengabyjmutebi103945 220x290

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala...

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala

Untitled1 220x290

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza...

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga...

Ssenga1 220x290

Ssenga nnina amaanyi matono

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

6688203923901413243725744760079814268813312n 220x290

KCCA FC lubabu!

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu...

Sozo 220x290

Omusu gunoonya kyamagero

TTIIMU y'Omusu ekyazizza Embogo, ng'enoonya kukola kyafaayo ky’okukyusa obuwanguzi bwa ggoolo 6-1, ezaabakubwa...