TOP

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala gwo

By Scovia Babirye

Added 18th September 2018

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Kkeesiwebusebig 703x422

Omusuubuzi wa keesi ng'alaga bw'ategeka keesi n'ensawo by'atunda mu katale k'e Nakawa

ABASUUBUZI abasinga bakaaba obutafuna baguzi n’okutuuka okulangira bannaabwe okubaloga kyokka ng’ensengeka y’ebyamaguzi byabwe y’evaako obuzibu. Wabula abagezigezi kino baakiraba dda era bakola ssente olw’okutegeka obulungi ebyamaguzi bakasitoma ne babiraba mangu awatali kusooka kubuuza na kubuna kibuga nga banoonya.

Bano bakozesa obukodyo obw’enjawulo omuli okuteekawo ebizindaalo ebiranga bye batunda, okuyita bakasitoma nga babategeeza bye batunda, okulanga mu mawulire ne ku ttivvi, okuwandiika ku maduuka gaabwe bye batunda n’ekisinga obukulu kwe kutimba bye batunda awalabika obulungi kasitoma n’atabiyitako.

 muvubuka atunda ebikozesebwa awaka ngalaga bwabitegeka okusikiriza abaguzi Omuvubuka atunda ebikozesebwa awaka ng'alaga bw'abitegeka okusikiriza abaguzi

 

Obukulu bw’okutegeka obulungi ebyamaguzi ku mudaala

Isaac Moses Kasule, omukugu mu byenfuna okuva mu kkampuni ya IMK Business Consultancy annyonnyola obukulu bw’okutegeka obulungi by’otunda ku mudaala:

  1. Abasuubuzi bategeka emidaala gyabwe n’ekigendererwa ky’okutunda kuba okusika omuntu okugula kyetaagisa obukodyo bungi era bangi babasikira awo.
  2. Abantu abamu baba tebazze kugula naye bwe balaba omudaala omusengeke obulungi ne balabako bye beetaaga kibasikiriza okukyama ne bagula.
 mukyala apimye ebijanjaalo ne kawo byaguza bakasitoma Omukyala apimye ebijanjaalo ne kawo by'aguza bakasitoma

 

3.  Omudaala ogutegekeddwa obulungi gwetunda nnannyini gwo ne bw’aba talina ky’ayogedde na kasitoma. Wabula gulina kuba nga guli wayonjo ate nga buli kimu kirabika bulungi.

 musuubuzi ngawanise obugoye bwabaana abaguzi we babulabira amangu Omusuubuzi ng'awanise obugoye bw'abaana abaguzi we babulabira amangu

 

4. Abasuubuzi kye balina okujjukira nti okulaga by’otunda ku mudaala kiyamba okumanyisa abantu nti mu kifo kino watundibwawo ebintu eby’enjawulo n’agenda asonda ssente ng’amanyi w’ajja okujja okugula ng’azifunye oba ng’akyetaaze.

Enkola eno eyamba nnyo abasuubuzi abatunda ekimu kimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...