TOP

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2018

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 703x422

Abasuubuzi mu katale ka Kireka Main Market

Bya Tonny Kayemba

Abasuubuzi abakolera mu katale k’abalimi aka Kireka Main Market e Kireka mu Divisoni y'e Namugongo mu Munisipaali y'e Kira bennyamivu olw’embeera embi akatale kaabwe gye kalimu nga kamaze emyaka 90 naye kadda mabega.

Steven Katende, Ssentebe w'akatale kano omuggya yategeezezza ng’akatale kano bwe kaatandikibwawo mu 1928 nga famire ya Kisosonkole yawa eggombolola y'e Kira ettaka lino ku liizi bazimbeko akatale abatuuze bakolere omwo ng’ettaka lino liweza obunene bwa ffuuti 50 ku 100.

ssentebe teven atende ngaliko byannyonnyola ssentebe Steven Katende ng'aliko by'annyonnyola

Katende yagambye nti, akatale kano kaazimbibwa nga kaakukoleramu abasuubuzi abasoba mu 500 wabula kati kalimu abasuubuzi 180 ng’emidaala egisinga mikalu ng'abantu baakaddukamu olw’enzimba embi. Tebaakateekamu makubo bakasitoma we bayita ekireeta abakakoleramu obutafuna baguzi .

Tekalina mifulejje gitambuza mazzi ng’enkuba olutonnya mukoka ava ku luguudo lw’e Namugongo aggweera mu katale kano.

Pulaani y’akatale yali nfu

Yategeezezza nga pulaani y'akatale kano bwe yali enfu olw’engeri gye kaazimbibwaamu ng’omuntu atakamanyi kibeera kizibu okumanya nti waliwo akatale kyokka n’amaduuka agaazimbibwa ku katale kano abaali bakansala n'abakozi ku ggombolola ebiseera we baakazimbira baageddiza olwo ne baleka abasuubuzi be baasanga mu katale kano nga tebafunye maduuka era abantu abo be basolooza ssente mu maduuka gano.

Abasuubuzi bagamba nti, n’ebizimbe Kira bye yazimbako byagirema okumaliriza nga n’amaduuka olw'omutindo omubi gwe gaazimbibwaamu gatandise okwatika ate nga ga kalina ekintu ekitadde obulamu bwabwe ne bakasitoma mu matigga kubanga ebizimbe bino ssaawa yonna byandibagwiira.

Bano basabye munisipaali y'e Kira okubazimbira akatale kaabwe n’okugonjoola ebizibu byabwe oba bwe babeera tebakisobola, babakwase akatale kaabwe mu butongole bo bakeddukanyize okusinga lwe babasoloozaamu empooza ate nga tebabafaako kukulaakulanya katale kaabwe.

Ssente ezisasulwa munisipaali zitukaluubiriza okufuna

Anthony Wandera, Ssentala w'akatale kano ng’ono ye yaweebwa ttenda esolooza empooza mu katale kano yategeezezza nga bwe bakolera mu buzibu okuggyayo ssente ze bateekeddwa okusasula ku munisipaali olw'omuwendo gw'abasuubuzi ogwesala buli lukya.

 sentala nthony andera Ssentala Anthony Wandera

 Ono agamba nti, emidaala egisinga mu katale wakati abasuubuzi baagiddukamu ng’oli olugupangisa akoleramu ekinene wiiki bbiri n’aggalawo olw’enzimba embi akatale kano gye kazimbibwamu ng'abakazimba tebateekamu makubo kayingiza bakasitoma nga n’emidaala baagitunuza wakyamu.

Ayongerako nti, abantu abamu abaludde mu katale kano okuli Aziz Namukasa abeeyita bannansangwa mu katale kano nabo bakoze kya maanyi okulemesa enkulaakulana yaako nga bano beenyigira mu mirimu egitali gyabwe kw’ossa okuvuma n’okulemesa buli ssentebe ajja mu katale kano ng'abagamba tebasobola kukkiriza mukulembeze mupya mu katale okubafuga.

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo

Mu lukiiko lw'ebyobulamu olutudde mu katale kano nga lutegekeddwa abatwala Division y'e Namugongo, Ssentebe w’akatale kano Steven Katende yasabye Ssentebe wa Divisoni eno, Ernest Gaster Mukasa n'omumyuka wa Mmeeya wa Kira munisipaali, Godfrey Nsubuga okubakolera ku bizibu bye bayitamu n’okubayambako okubazimbira ku katale kaabwe katuuke n'omutindo ng’obutale obumu.

 sentebewaivisoniyeamugongoasterukasakuddyonomumyuka wa eeya wairaodfreysubugangabalimukatalekairekaainarket mu lukiiko Ssentebe wa Divisoni y'e Namugongo, Gaster Mukasa (kuddyo) n'omumyuka wa Meeya wa Kira, Godfrey-Nsubuga nga bali mu katale ka Kireka Main Market mu lukiiko

 

Gaster Mukasa, yasabye abantu abalemesa enkulaakulana mu katale okuli Namukasa okukola emirimu gyabwe bave ku bakulembeze b'akatale bakolere abaabalonda era yasabye omumyuka wa Mmeeya okuwa Namukasa enkoko 100 nga entandikwa alunde ezo ave mu kutabula akatale okwo kw’anaakolera omulimu gwe ogw'okutunda amatooke.

Yalagidde akulira ebikwekweto mu Division y'e Namugongo, George Ssekalega okukwata abantu bonna abatundira ebintu ku nguudo e Kireka abaleete mu katale ku mpaka bafune emidaala kubanga mwegiri mingi.

Yategeezezza ng’aba munisipaali bwe baali bayisizza obukadde 110 okuzimba akatale kano mu mbalirira y'omwaka ogwaggwa, wabula ate ssente ne bazikozesa okuddaabiriza oluguudo olwagwaamu ku mugga gwa Namalere wabula n’asaba bakansala abatuula ku munisipaali okulwana okulaba ng'akatale kano kazimbibwa mu mbalirira y'omwaka guno.

 basuubuzi ku midaala gyabwe Abasuubuzi ku midaala gyabwe

 Omumyuka wa Meeya wa munisipaali y'e Kira. Godfrey Nsubuga yategeezezza nga bwe bagenda okukwatagana n’abateekeraateekera munisipaali y'e Kira balabe ng'akatale kano kamenyebwa kaddemu kazimbibwe mu ngeri etuukana n'omutindo.

Yabagumizza nga bannannyini ttaka bwe bakkiriza okuguza munisipaali ettaka okuli akatale, wabula nga kyetaagisa ssente nnyingi era nga ze bakyanoonya basasule ekifo kino bave ku nkola ya liizi gye baliko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana