TOP

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde bw'ensi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th September 2018

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu ebikozesebwa nga bitaasa obutonde bw'ensi kwetaagisa.Yiino esigiri ekoleddwa okutaasa obutonda nga tekaluubirizza bulamu bw'abantu.

Mic3webuse1 703x422

Michael Oboth ng'alaga enkozesa y'essigiri eneeyamba okukuuma obutonde bw'ensi

Bya Mary Nambwayo

Mu kaweefube w’okukuuma obutonde, ebibiina n’abantu ssekinnoomu bavuddeyo okukola sigiri, amanda, ebikozesebwa okukuma essigiri n’ebintu ebirala bingi n’ekiruubirirwa kino ate n’okwanguyiza abantu ssaako okukekkereza obudde nga bategeka ebyokulya.

Mu mwoleso ogwategekeddwa ku kisaawe kya UMA Show Ground e Lugogo abantu ab’enjawulo boolesezza ebintu bye bakola nga bayita mu mitendera egy’enjawulo basobole okukuuma obutonde era twayogeddeko n’abamu ku bye batunda n’okukola okulaba bwe bituukiriza omulamwa.

 both ngalaga swiiki ekendeeza nokwongeza omuliro ku sigiri eyakoleddwa Oboth ng'alaga swiiki ekendeeza n'okwongeza omuliro ku sigiri eyakoleddwa

 

Micheal Oboth ow’e Kampala agamba nti, balina essigiri eyitibwa Envirofit Super Saver Stove ng’eno okugikola kyava mukunoonyereza okwakolebwa Bbanka y’ensi yonna, minisitule y’ebyamasannyalaze n’abantu bannakyewa.

Ekiruubirirwa ky’okukola sigiri eno kwali kubeera ng’esobola okukomya enkyukakyuka y’obudde n’okukomya okwonoona embeera y’obudde, okukomya obulabe obuva ku mukka.

Eno era eyamba okukekkereza amafuta, amanda n’enku ebivaako okusaanyaawo ebibira, era ekigero kyayo eky’okukendeeza kiri ku bitundu 58 ku 100.

Efumba mangu, ekendeeza omukka ku bitundu 68 ku 100, ate ng’okozesebwa buli wamu.

ssigiri nga bwe zifaananaEssigiri nga bwe zifaanana

 Enkozesa yaazo

Ogikuma okozesa amanda n’ebikozesebwa ebirala, wabula erina swiiki eyongeza n’okukendeeza bw’oba ofumba.

Ebbeeyi yaayo esinziira kukifo w’ogiguzo n’agikuguza wabula nga bw’ogikwata obulungi ewangaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu