TOP

Muyiiye nga mukola emirimu egy'ebyemikono

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

Emirimu gy'ebyemikono si gya basiru wabula gyetaaga bayiiya okusobola okugifunamu kuba gye giri ku katale kati.

Graduateswebuse1 703x422

Abamu ku bayizi abaatikkiddwa e Mayuge mu kutunga n'ebyalaani ebyabaweereddwa ng'entandikwa

Bya Stella Naigino

Abayizi b’e Mayuge abaatikkiddwa oluvannyuma lw’okukuguka mu byemikono bakubiriziddwa okukola ebintu ebibazimba olwo balyoke beekulaakulanye.

Bano nga baali baava mu ssomero olw’ebizibu eby’enjawulo, baayambibwa abazirakisa ne babatwala okusoma ebyemikono okuli: okusiba enviiri, okukanika, okwokya ebyuma, okutunga   n’ebirala.

Baakubiriziddwa okufaayo okukyusa obulamu bwabwe bakyuse endowooza y’abantu nti abo abasoma emirimu gy’ebyemikono babeera basiru era nga balemereddwa.

 bamu ku bayizi abaatikkiddwa nga bali nebintu byabwe ebyabaweereddwa ngentandikwa Abamu ku bayizi abaatikkiddwa nga bali n'ebintu byabwe ebyabaweereddwa ng'entandikwa

 Moses Omajungo, akulira ettendekero lya Pioneer Technical Institute abaana bano mwe baabanguliddwa yagambye nti, ennaku zino ensi ekulaakulana era ng’eyimiriddewo ku bantu abakuguka mu misomo gy’omu mutwe n’emikono era yakubirizza abayivu okuyiiya ennyo bakole ebintu ebizimba eggwanga.

“Ng’onoosanyukira mu ky’okola, kola nnyo era obeere muyiiya olwo osobole okufuna ssente era nga ne bakasitoma bajja kweyongera,” Omajungo bwe yakkaatirizza.

Timothy Nsada, omu ku bayizi abaatikkiddwa agamba nti, ensi yali emutisse akazito oluvannyuma lwa kitaawe okufa n’asigala nga y’alabirira famire ye ne nnyina.

 bayizi nga baweebwa satifikeeti oluvannyuma lwokutikkirwa Abayizi nga baweebwa satifikeeti oluvannyuma lw'okutikkirwa

Kino kyamuwaliriza okuva mu ssomero ng’ali mu siniya eyookubiri  n’essuubi ly’okudda mu ssomero nga lyamuggwaamu, naye kati kyatuuseeko kimulaze nti tewali mbeera ya lubeerera era musanyufu ku kyatuuseeko.

“Wano Mukama w’antuusizza, nja kufuba okukola ennyo obutaswaza abo abansomesezza.

Abayizi bano nga batikkirwa, baaweeredwa entandikwa okusinziira ku buli omu kye yasomeredde. Abatunga baaweereddwa ebyalaani, n’abasiba enviir ne baweebwa ebintu n’abalala bwe batyo.

Bano baayambiddwaako aba Habitat for Humanity.

                                            

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.