TOP

Mukole ebibiina mu nkola y'obwegassi mwekulaakulanye

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

Okukolera awamu n'obuteenyooma kimu ku bigenda okugoba obwavu mu bavubuka n'abakyala.

Thechairpersondisplayssoapafterithasbeenmadewebuse 703x422

Annet Nabwiiso, akulira abakyala mu kibiina kya Yesu Afaayo ng'alaga sabbuuni gwe bamaze okukola.

Mukole ebiibina mwekulaakulanye

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abantu bangi bakaaba obwavu naddala abavubuka kyokka ng’obuzibu bwa kuzinga mikono ne batayiiya kubaako kye bakola ekiyingiza ssente ng’ate bingi by’osobola okukola n’ofuna ssente mu kifo ky’okulinda Gavumenti ekuyambe.

Obwavu buno ssinga abantu beegatta ne babaako kye bayiga n’okukola kyangu okubugoba.

Jude Jjuuko nga muvubuka abeera Masaka, kino yakigezaako era yakunga abavubuka n’abakyala ku kyalo gy’abeera ne beegatta ne babaako kye bakola okukyusa ku mbeera yaabwe. Annyonnyola bw’ati:

 ammemba bekibiina kya esu faayo nga bakola sabbuuni nga bakulembeddwa abakulira muky nnet abwiso asooka ku kkono Bammemba b'ekibiina kya Yesu Afaayo nga bakola sabbuuni nga bakulembeddwa abakulira muky. Annet Nabwiso (asooka ku kkono).

 Nasomerera busomesa ne ntikkirwa mu 2009 naye ng’emirimu gyabula ne ntandika okutetenkanya kye nsobola okukola.

Oluvannyuma lw’okulowooza ennyo, nasalawo okukunga abantu ne mbasaba tugatte amagezi tubeeko ne kye tukola twekulaakulanye.

Kino abantu baakisanyukira era ne beekolamu omulimu ne batandika okutereka ssente era bwe zaawera, ne basalawo okunoonya abakugu mu bintu eby’enjawulo batusomese. Twayagala tuyige okukola ebintu eby’enjawulo buli omu asobole okubeerako ne kye yeenyigiramu twekulaakulanyize wamu.

Twasoma era ne tuyiga okutunga ebyalaani, okukola sabbuuni ow’ekitole, okufumba emmere ey’emikolo, okutunga ebitambaala, okufumba obundaazi n’ebintu ebirala bingi nga bino bituyambye okwekulaakulanya,” Jjuuko bwe yagambye.

Engeri gye tukola emirimu gyaffe

Annet Nabwiso, akulira abakyala annyonnyola nti, twesigang’ana n’okukuuma obuntubulamu, tukola nga teri kweganya era ebiva mu bye tukoze tubigabana ne tuterekako ne ssente ezimu mu nsawo yaffe.

Okwewa ekitiibwa kituyambye okusobola okwekuuma nga tukyali wamu era bwe wabaawo ensonga etutabula, tutuula ne tugigonjoola ng’abantu abayivu era abategeeragana.

Bwe tubeera awamu tugabana amagezi era ne tunoonyereza kw’ekyo kye tubeera tukola olwo ne tufulumya ekintu ekirungi ekisikiriza bakasitoma.

Akatale tukanoonyeza wamu era buli muntu alina obuvunaanyizibwa era buli omu afaayo okutuukiriza omulimu gwe.

 ude juuko omu ku baatandika ekibiina kya esu faayo Jude Jjuuko omu ku baatandika ekibiina kya Yesu Afaayo

 Bye tufunyeemu

  1. Twafuuka baaluganda era mmemba bw’afuna obuzibu tukolera wamu okumalawo obuzibu obwo.
  2. Twafuna emirimu egy’okukola era nga mu kibiina kyaffe ekya ‘Yesu Asobola’, buli omu afuna omusaala anti buli lwe tutunda bye tukola ssente tuzitereka era omwezi nga guggwaako, tugabana amagoba olwo kapito n’asigala ng’akola era buli omu alina  ssente z’atereka mu kibiina buli mwezi.

Hanifa Mwebaza, atereka ssente agamba nti kati basobola okwetuusaako ebyetaago era n’abaana baabwe basoma.

Akubiriza abantu bave mu tulo batandike okukola okweggya mu bwavu. Buli lwe weebaka, nga n’obwavu bubalumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...

Owoyesigire 220x290

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana...

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga...

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda