TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abasuubuzi mu katale ka Ssaza bakaaba lwa baamaduuka kubamalako mirimu

Abasuubuzi mu katale ka Ssaza bakaaba lwa baamaduuka kubamalako mirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th October 2018

Abaamaduuka okutunda ebyamaguzi ebyandibadde bitundibwa mu katale kimazeeko abaakatale ka Ssaza e Masaka emirimu kuba bakasitoma bagula mu maduuka, bo ne basigala nga bakaaba obwavu.

Ssazamarket2webuse 703x422

Ssentebe Olivia Kabuye ng'ayogera mu lukiiko.

 

Bya Phiona Nanyomo

Abasuubuzi abakolera mu katale ka Ssaza mu ggombolola ya Katwe - Butego mu munisipali y’e Masaka beemulugunyizza ku basuubuzi bannaabwe abakolera mu maduuka okuliraana akatale kano okutunda ebintu nabo bye batunda nga bakasitoma abandibaguzeeko ate bagula ku baamaduuka ekivaako ebyamaguzi byabwe okuvunda ne bakomekkereza nga bafiiriddwa.

Bano nga bakulembeddwamu ssentebe w'akatale kano, Olivia Kabuye bagamba nti ebyamaguzi babisuubula buwanana kyokka bakomekkereza nga tebaganyuddwaamu olw'abasuubuzi b’amaduuka okuba nga nabo batunda ebyamaguzi bye bimu.

Bano baagasseeko nti, bangi ku bo ssente ezisuubula ebyamaguzi bino bazeewola mu bbanka kyokka gye biggweera nga bbanka etutte ebintu byabwe olw’okulemererwa okusasula amabanja.

Bagamba nti, embeera kati ebayinze nga tebakyafuna ssente kuyimirizaawo maka gaabwe ko n'okuweerera abaana baabwe.

Embeera eno bagitadde ku bakulembeze b'ekibuga Masaka abalemereddwa okubaako kye bakola okulaba nga nabo baganyulwa mu mulimu gwabwe.

Wano we basinzidde ne basaba abakulembeze b'ekibuga okukoma ku basuubuzi b’amaduuka nabo basobole okufuna ekigulira magala eddiba.

Ebimu ku byamaguzi bye batunda mwe muli amatooke, ennyaanya, emboga, obutungulu n'ebirala kyokka nga n'abaamaduuka abaliraanye akatale kano nabo bye batunda kw’ossa ebirala omuli sukaali, sabbuuni n'ebirala.

Kyokka abaamaduuka bategeezezza nti, ensonga ebakozesa kino kwe kuba nti basasula omusolo mungi kw’ossa layisinsi ekintu ekitali ku bakolera mu katale.

Bagamba nti, nabo babeera bagezaako okulaba nga bayiiya okusobola okufuna ssente z'okusasula omusolo guno ne balandiroodi.

Meeya wa Masaka, Godfrey Kayemba Afaayo agamba nti abasuubuzi abakolera mu butale tebasasula musolo wadde ebifo mwe bakakkalabiza emirimu gyabwe ekitali ku baamaduuka.

Agamba nti, wadde nga guno guli bwegutyo wabula n'abaamaduuka kino bakikola mu bukyamu.

Kayemba ategeezezza nga kanso bwe yabaga amateeka agafuga abasuubuzi mu kibuga kino wabula bangi ku bo amateeka tebagagoberera.

Annyonnyodde nga bwe bali mu nteekateeka z'okuyamba abasuubuzi bonna okulaba nga beenyumiriza mu mirimu gye bakola awatali kunyigirizibwa.

Abasuubuzi bakaaba lwa butafuna bakasitoma

Sulaina Nagginda : Embeera etunyigiriza nnyo kubanga tetukyafuna bakasitoma eno mu katale, bonna ebintu babigula eri ku baamaduuka.

Ritah Nabwanika: Ebintu nga bwe tubisuubula bwe bivunda kubanga bakasitoma eno mu katale tebakyajja bagula ku balala.

Ahmed Kabubi: Abamu ku ffe ssente ze tusuubulamu ebintu tuzeewola mu bbanka kyokka tukomekkereza tetulina kye tutunze ate nga tulina okusasula amabanja.

Annet Nansamba: Abakulembeze baffe tebatuyambye ku nsonga eno kyokka nga tumaze akaseera nga tubategeeza batuyambe naffe tuganyulwe mu mulimu gwe tukola.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...