TOP

Fiizi nzikoze mu misubbaawa na bitabo

By Vivien Nakitende

Added 30th October 2018

Ebbula lya fiizi naligaana okunnemesa okusomerera obwayinginiya bwe nali njagala

Ngavaokusaanuusaeddagalaerikolakando2webuse 703x422

Oteba ng'asaanuusa wakisi gw'akolamu emisubbaawa

Nkola bitabo na misubbaawa okufuna fiizi za yunivasite

Joseph Oteba, asoma bwayinginiya mu byempuliziganya ku ttendekero lya Uganda Institute of  Information and Communication Technology e Nakawa ng’atikkirwa mwezi ogujja.

 teba ngayiwa wakisi mu katiba mwakolera emisubbaawa Oteba ng'ayiwa wakisi mu katiba mw'akolera emisubbaawa

 

Yeeweeredde wabula fiizi aziggye mu bitabo by’akola n’aguza abaana b'amasomero n'amasomero ssaako okukola emisubbaawa.

Annyonnyola bwe yatandika bizinensi eno: Bwe natuula siniya ey'omukaaga ku Tororo Rock High School mu 2010, bazadde bange ssente zaabula ezinnyongerayo ne noonya emirimu ne bankozesaako mu kkampuni y’amasimu emu ng’eno gye natereka ne nkung’aanya 800,000/-.

Nagenda ku mukutu gwa yintaneeti ne nsoma ku kye nnyinza okwekolera nga kivaamu ssente nga nkolera waka. Nasoma ku kukola emisubbaawa nga ngitaddemu ne dizayini ez’enjawulo ne nzitembeeya n’okuziguza abaamaduuka g'oku byalo n'abantu ssekinnoomu.

 teba ngaggya emisubbaawa mu katiba Oteba ng'aggya emisubbaawa mu katiba

 

Abantu baazisiima nga ntwalako mu supamaketi ne mu masinzizo.

Mbadde nsasula 990,000/- buli lusoma era nga sisobola kwesigama ku misubbaawa gyokka okuziweza. Waliwo mukwano gwange eyanjigiriza okutunga ebitabo era ne nfuna ekifo ku luguudo lwa Nasser ne nteekayo muganda wange, naye ne mmuyigiriza okubikola, kale nze bwe mbeera ku ssomero nga ye atunda n'okukola.

 Emisubbaawa gyange bangi bazaagala era nzikolera ku wooda, oli bw'aba azaagala ankubira essimu ne mmukolera omuwendo gw'abeera ayagadde era zino nzikola kiro olwo ku makya ne ng'enda ku Nasser ne nkola ebitabo n'okutunda. 

 emisubbaawa teba gyakola emisubbaawa Oteba gy'akola

 

Nkola ebika eby’enjawulo omuli: eza bulijjo, ez'amazaalibwa, ez'embaga, ez'omu masinzizo n'ebika ebirala.

Nakifuula tteeka buli wiiki nteeeka ku akawunti yange ssente emirundi ebiri, ku Lwokusatu n’Olwomukaaga, ne bweziba ntono zitya, era olusoma bwe lutuuka ezibaako nziggyayo ne nsasulako ebisale by'essomero.

 misubbaawa egiggyiddwa mu katiba nga gigenda kusalibwa gipakirwe Emisubbaawa egiggyiddwa mu katiba nga gigenda kusalibwa gipakirwe

 

Bye nkozesa

Emisubbaawa nkozesa; wax, sterlic acid, langi, akatiba, wuzi.

Nsooka ne nsalaasala wax mu butundutundu, ne nteeka mu ssefuliya ne nfumbako ne ngattamu ebijiiko bya sterlic acid bibiri.

Bwe bisaanuuka mbiteeka wansi ne biwola ne bisigalamu kisu, awo ne njiwa mu katiba akasibemu wuzi wakati.

 bimu ku bitabo teba byakola Ebimu ku bitabo Oteba by'akola

 

Bwe biwola nga bimaze okukwata ne nsalamu emisubbaawa ne ngiteeka ku kimeeza ekitukula okwongera okukala.

Okunyiga dizayini ez’enjawulo nkozesa obutiba obw'enjawulo.

Emisubbaawa ngitunda okuva ku 200/- okutuuka ku 10,000/- okusinziira ku dizayini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana