TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe nafuna ebsiale bya yunivasite

Kulisipu ze nsiika mu ndiizi mwe nafuna ebsiale bya yunivasite

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2018

Okusoma ebya bizinensi nalina kusiika kulisipu za ndiizi ne nsoboa okusasula fiizi.

Crisps4webuse 703x422

Wokulira ng'alaga kulisipu eziwedde okupakira

Bya stella Naigino

Erisa Wokulira agamba nti, yali abonaanona n’okunoonya ebisale bya yunivasite wabula yazuukuka n’asalawo obutanyooma mirimu. Anyumya bwati:

Nga mbonyebonye ekimala, nasalawo mbeereko ne kye nkola era nga mmaze okulowooza ennyo nasalawo okusiika kulisipu mu ndiizi.

Wadde nali sirina kapito nasalawo okutambula mu booluganda lwange ne mbasaba bankwatireko era tebandekerera. Bampa ssente era nga zino ze nakozesa ng’entandikwa.

Natandika na 150,000/- ne nsuubula ndiizi ne mmutereka n’ayengera bulungi olwo ne mmusalaasala.

Ntegeka butto, essefuliya, obuveera bw’okupakiramu n’ebirala.

 bamu ku bakozi ba okulira ngabasiba kulisipu ze basiika Abamu ku bakozi ba Wokulira ngabasiba kulisipu ze basiika

 

Mu ntandikwa nasiika butono kuba saalina katale era natambula mu supamaketi ez’enjawulo nga nnoonya akatale. Oluvannyuma nakafuna era ne ntwalayo kulisipu zange ne bazigula ne bansaba nneeyongere okubakolera.

Kino kyampa amaanyi era nneeyongera okukola kubanga nali mmanyi nti nja kuwona ennaku y’okunoonya ebisale bya yunivasite.

Natandika okunoonya ndiizi era nga namufuna mu bungi olwo ne nsobola okweweerera nga kati namala okusoma era nakuguka mu bya bizinensi.

 ulisipu ezisibiddwa Kulisipu ezisibiddwa

 

Kye nayigamu

  1. Namanya nti, teri mulimu mubi wabula akukola ggwe ogufuula kye gulabika.
  2. Namanya nti, ekintu kyonna ng’onookifunamu olina kukiwa budde era n’ossaayo omutima okulaba nga kikolebwa bulungi.
  3. Kasitoma ye mukamaawo era bw’otomuwa kitiibwa olwo omulimu guba gukulemye.

Bye nfunyeemu

  1.  Mpadde ku bantu emirimu: Ebbula ly’emirimu liyitiridde kati ng’abantu abasinga tebalina bya kukola. Nze nkozesa abantu bataano ekinsanyusa okuba nga nange nnina be mponya obwavu.
  2.  Ngize okukolagana n’abantu: Mu nsi bw’oba onoowangula, olina kubeera muntu w’abantu kuba obeetaaga buli kaseera. Omulimu gwange gunnyambye okumanya engeri entuufu ey’okukolagana n’abantu era nga kino nkyenyumirizaamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Makulu 220x290

Ab’e Mpererwe baloopye OC wa poliisi...

ABAKULEMBEZE b’ekyalo kye Nammere e Mpereerwe balaze obutali bumativu kw’atwala poliisi y’omu kitundu kyabwe gwe...

Ret2 220x290

Latif Ssebaggala abuuliridde abawooweddwa...

Latif Ssebaggala abuuliridde abawooweddwa

Drhuzairuwebuse 220x290

Ssefuliya mw'ofumba lwefuuka ey'obulabe...

Sseffuliya n'ebbinika by'ofumbamu lwe bikuzaalira akabasa

Saba 220x290

Bacoomedde nnamwandu wa Kaweesi...

ABOOLUGANDA lwa Kaweesi bavudde mu mbeera era mu be balumbye ne nnamwandu bamutwaliddemu nga beebuuza lwaki yagaana...

Monday2 220x290

Agasirwe alumirizza Kayihura okuwa...

Agasirwe alumirizza nti byonna bye yakola yakoleranga ku biragiro bya Kayihura wadde nga tebyali mu buwandiike...