TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Wuuno omukyala avuga ekimotoka ekikola enguudo eyeewuunyisa abamulaba

Wuuno omukyala avuga ekimotoka ekikola enguudo eyeewuunyisa abamulaba

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2018

Okuvuga mmotoka ezikola enguudo kundabisa bangi ng'omukazi nnakapanka naye nze mwe nfuna ssente ezimbeezaawo n'abaana bange.

Alinda3webuse3 703x422

Alinda ng'avuga ekimotoka ekikola enguudo

 

Bya Stella Naigino

Emirimu we gyatuuka tegikyalina bantu bankalakkalira balina kugikola anti buli omu kati alwana kweggya mu bwavu.

Ne Carol Alinda, mukyala gw’oyinza okuyita emmekete era ye teyeeganya mulimu gwonna kuba yakoowa ennaku era ng’akola okwebeezaawo n’abaana be oluvannyuma lwa bba okumulekawo.

Alinda mutuuze w’e Mbale ng’akola ne kkampuni emu ekola enguudo.

 linda ngali ku kimotoka waggulu agenda okuvulumula Alinda ng'ali ku kimotoka waggulu agenda okuvulumula

 

Alinda yali yavugako tulakita era bwe yalaba omulimu gwe balanga ogw’okuvuga ekimotoka ekikola enguudo yagusaba. Bwe yali agezesebwa, yalaga nti ayagala okukola olwo bakamaabe ne basalawo okumuyigiriza era mu bbanga ttono yali ayize. Kati Alinda akakkalabya mulimu gwe era  agwenyumirizaamu.

By’agufunyeemu

  1. Emikwano kuba buli amulaba amwegomba naddala abakyala era abasinga bamufuula mukwano gwabwe.
  2. Ssente z’afuna kati nnyingi, era asobola okulabirira abaana be era basoma.

Ky’ayize mu mulimu gwe

 linda ngayimiridde ku kimotoka kyavuga Alinda ng'ayimiridde ku kimotoka ky'avuga

 

Teri mulimu mubi era ggwe agukola ggwe agufuula omubi oba omulungi. Abantu bafeeyo okukola ebintu ebibayamba okusinga okudda ku kyalo okugeya abalala.

Okusoomoozebwa

Alinda agamba nti, mu ntandikwa, tebyali byangu anti omugongo gwamulumanga naye kati yamanyiira yasigala kunyumirwa ky’akola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....