TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Weenogere ssente ng’oyongera omutindo ku bintu ebikadde ebiva ku mmotoka

Weenogere ssente ng’oyongera omutindo ku bintu ebikadde ebiva ku mmotoka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2018

Buli kintu ekiva ku mmotoka tokisuula kuba kirimu ssente ssinga olowooza n'obyongerako omutindo.

Swingsmadeoutoftireswebuse 703x422

Omuyizi nga yeesuuba ku kyesuubo ekikoleddwa mu kipiira

Bya Stella Naigino

Ggwe atalina mulimu era ng’onoonya, kino ky’ekiseera okweyamba kubanga eby’okukola bikwetoolodde.

Abakugu bagamba nti, ensi weetuuse abavubuka balina okuyiiya okweggya mu bwavu era nga tebalina kubuusa bintu binaabayamba maaso.

 muyembe ogusimbiddwa mu kibiira ekiwundiddwa obulungi Omuyembe ogusimbiddwa mu kibiira ekiwundiddwa obulungi

 

Richard Mubezi, nga mukugu mu bya bizinensi agamba nti ebintu byonna ebitwetoolodde omuntu asobola okubikolamu ebintu eby’enjawulo era n’afunamu ssente.

Ebintu ng’emipiira gy’emmotoka enkadde omuntu asobola okugyongerako omutindo era n’afuna ssente.

Okikola otya?

Tony Kwagala, akola ebintu eby’enjawulo mu mipiira gy’emmotoka enkadde agamba nti kino si kizibu era nga tekyetaagisa kapito mungi.

Agamba nti, emipiira emikadde abantu abamu bagisuula ate waliwo n’abagitunda ku bbeeyi ensaamusaamu. Ky’okola kugigula n’oyongerako omutindo olwo ng’obwavu obugobye.

 bipiira ebikozesebwa ngolukomera bwoba oyagadde Ebipiira ebikozesebwa ng'olukomera bw'oba oyagadde

 

By’osobola okukola mu mipiira gy’emmotoka emikadde bingi, okuli:

  1.  Okugisiiga langi n’ogiguza abaamasomero

Abantu abalina amasomero naddala aga nassale, beetaaga emipiira emikadde ne bagiteeka ku masomero abaana ne bagizannyisa. Wabula bagyagala nga girina langi za njawulo okuyigirako abaana baabwe.

  1.  Okugisiiga langi n’ogisala mu ngeri ey’enjawulo

Ng’oggyeeko okugisiiga langi, osobola okugisalamu dizayini ez’enjawulo n’okolamu ebintu ebisikiriza ng’ekinyonyi oba ente n’ebirala era nga bino nabyo abaamasomero nabyo babigula, abasimba ebimulu n’ebirime awaka oba abatimba mu maka gaabwe babyettanira.

  1.  Gikolebwamu n’entebe ssaako emmeeza ebitundibwa obuwanana.
  2.  Gikolebwamu engatto.

Asaph Mwesigwa ye emipiira agikolamu ngatto era abantu ze basinga okwettanira okugula.

Agamba nti, omuvubuka atalina mulimu agezeeko okuyiga okukola engatto mu mipiira gye mmotoka taggya kwejjusa.

  1.  Ebyesuubo by’abaana.

Mwesigwa ayongerako nti, ennaku zino abaamasomero tebakyettanira byesuubo bya byuma nga bino bikola obubenje ku baana era nga kati bagula byesuubo ebikoleddwa mu mipiira gy’emmotoka. Kino omuntu bw’akissaako essira n’akola ebyesuubo mu mipiira gy’emmotoka afuna ssente mpitirivu.

 kimu ku biwunde ebyakolebwa mu ndabirwamu ya mmotoka eyayatikayatika Ekimu ku biwunde ebyakolebwa mu ndabirwamu ya mmotoka eyayatikayatika

 

Eggiraasi y’emmmotoka eyatise

Markmoon Mutaasa, ono awunda ebintu mu ggiraasi ez’enjawulo ezaatise agamba nti mu ggiraasi y’emmotoka eyatise, omuntu asobola okuwundamu ekifaananyi era n’akitunda n’afuna ssente olwo obwavu n’abeera ng’abugobye.

Mutaasa agamba nti, kino tekyetaagisa kapito. Ggwe genda mu kifo mmotoka we zitomereganidde olonde ggiraasi ezaatise ng’otandika kuyiiya ssente.

Funa ekibookisi okubeko ekifaananyi, olwo ogatteko eggiraasi osobole okuggyayo ekifaananyi ky’oyagala.

Empanka

Agnes Mutiibwa akola bizinensi agamba nti, empanka osobola okuziguza aba wooteeri oba abasiika capati.

Ono agamba nti, n’obuwempe obussibwa wansi mu mmotoka osobola okubuguza abantu ne babukozesa okusiimuulirwako ebigere ku miryango.

Bino byonna n’ebirala, bisobola okukuggya mu bwavu. Ky’olina okukola kufaayo kuyiga ngeri ebintu eby’enjawulo gye bikolebwamu ng’obwavu obugoba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...