TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Ebbumba eryenyinyalwa abasinga lintambuzizza amawanga n'okumpanguza engule

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga lintambuzizza amawanga n'okumpanguza engule

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Sserunkuuma2webuse 703x422

Sserunkuuma ng'aggya ebimu ku bibumbe by'akola mu kyokero.

Bya Scovia Babirye

ABANTU bangi bakaaba emirimu ate ng’egimu bagiraba ng’egya wansi egikolebwa abajama era abataasoma.

Wabula wuuno omusomesa mu yunivasite y'e Makerere eyeenyumiriza mu kubumba omulimu abasinga gwe bateeyunira olw’okuba obeera mu bbumba ekiseera kyonna. Annyonnyola bw’akola emirimu gye nga kw’atadde n’okutendeka abayizi mu yunivasite e Makerere ne by’afunye ate ne gy’alaga:

 bimu ku bibumbe bya serunkuuma nga bikozeseddwa okutimba nokulabisa ekifo obulungi nebimu biwanikiddwa waggulu okulengejja Ebimu ku bibumbe bya Sserunkuuma nga bikozeseddwa okutimba n'okulabisa ekifo obulungi n'ebimu biwanikiddwa waggulu okulengejja

 

Nze Bruno Sserunkuuma, nasoma essomo lya ‘Fine Art’ ne nkuguka mu kubumba kiyite ‘Ceramics’.

Mu kubumba mugenderamu ebibumbibwa mu bbumba ne byokebwa okusobola okuguma obulungi nga tayiro, ebikopo, ebituulwako ku kaabuyonjo, amasowaani, ensuwa, ebikozesebwa okutimba, ebibumbe by’abantu oba ensolo n’ebirala bingi.

 mu ku bisuwa serunkuuma byabumba nga kiwundiddwaako ebifaananyi byebinyonyi Emu ku bisuwa Sserunkuuma by'abumba nga kiwundiddwaako ebifaananyi by'ebinyonyi nga kituuziddwa ku biti ebisaleesale ebikoze akaswa

 

Dizayini z’ebibumbe zoogera ku Afrika

Dizayini ze nteeka ku bibumbe bye nkola ezisinga zibeera zoogera ku kintu ekyo kwe nzitadde kye kikola. Naye ebisinga bibeera byogera ku bakyala ba Afrika n’obuzibu bwe basanga  naddala ku by’obufuzi, obutaweebwa mukisa ng’abaami, obulwadde nga siriimu n’ebirala.

Eky’okulabirako nabumba ensuwa nga ngiggye ku luyimba lw’omugenzi Basudde ng’agamba nti, ‘Ekiwuka kyagwa mu ntamu, ng’ategeeza nti abakyala be balina omusango ku siriimu era nagifunamu n’engule’. 

 kibumbe kyomukazi atemeddwaako emikono ngakyusizza ensingo Ekibumbe ky'omukazi atemeddwaako emikono ng'akyusizza ensingo

 

Emirimu gyange ngikola okujjuukirirako maama

Emirimu gyange egisinga ngitambuliza ku bakyala kuba maama wange ye yampeerera era n’andabirira mu buli kimu kyokka ate n’afa nga tebannantikkira. Kati ngezaako nnyo okumujjukira olw’okuweerera omuntu nga nze era mujjuukirira mu bibumbe byange.

 serunkuuma ngalaga ekimu ku bibumbe bye yawundako abakyala Sserunkuuma ng'alaga ekimu ku bibumbe bye yawundako abakyala

 

Era ndowooza nti, abakyala basaana okuweebwa ekitiibwa eky’enjawulo kuba bayita mu bingi. Era emirimu gyange egimu egikwata ku bakyala gye gyawangula n’engule endala eya UNESCO.

 bibumbe ebyenjawulo ebiwundiddwaako abakyala nembeera endala Ebibumbe eby'enjawulo ebiwundiddwaako abakyala n'embeera endala

 

Dizayini endala nziggya mu firimu okugeza mu firimu ya  ‘Last King of Scotland’ eyali ekwata ku Amin, nze nabumba ensuwa ezaali mu kisenge kya Amin bwe baali bakwata firimu eyo. Okuva olwo firimu eyo ngiggyamu emboozi nnyingi ze nyumya ku bibumbe byange.

Akatale

Ebintu bye nkola sikoma ku kubisomesezaako bayizi wabula n’okubitunda mbitunda era ng’akatale kaabyo kasinga kuva mu bitongole ebikola emirimu gy’obwannakyewa, ebitebe by’amawanga amalala.

Gavumenti n’abaali abakugu mu bintu eby’enjawulo. Ebintu byange bitandikira ku 5,000/- n’okudda waggulu.

Ebiseera ebisinga bw’ogenda ku mutimbagano n’oteekamu Bruno Sserunkuuma ondaba oba n’oteekamu Ceramic Artist era ondaba oba okugenda ku website yange www,rhinoheadgallery.com oba okunsanga ku Makerere University ku School of Art, era eno yonna nfunirayo akatale kanene.

 bimu ku bibumbe byakola Ebimu ku bibumbe by'akola

 

Ebbumba nkozesa lya wano

Ekirungi Uganda Mukama yatuwa ebbumba eddungi okusinga ku nsi ezituliraanye era ebbumba lyonna lye nkozesa lyaffe wano, langi ezimu nzeekolera endala ne nzigula ebweru kuba nzibu za kulabika ate za buseere.

Bwe tuba tugenda okubumba tusooka kukuba pulaani ku lupapula kati bw’oba obumba ogoberera pulaani eri ku lupapula okwewala okukola ensobi.

Bye nfunyeemu

Nnambudde amawanga mangi ate amanene  nga njolesa emirimu gyange kye nnali sisuubira, mbaddeko mu e  Denmark, UK, Egypt, Burkinafaso n’amalala  ate nga mpangulirayo engule ez’enjawulo.

Nneenyumiriza mu lukung’aana lwa CHOGM, kuba ekirabo ekyaweebwa Prince Charles nze nakibumba era kyantunda nnyo n’okunnyongera ettutumu mu nsi z’ebweru.

 rake sewagudde ngannyonnyola ebimu ku bikwata ku bisuwa ebikolebwa kitaawe serunkuuma Drake Ssewagudde ng'annyonnyola ebimu ku bikwata ku bisuwa ebikolebwa kitaawe Sserunkuuma

 

Abayizi ba yunivasite bangi be nsomesezza abettanidde omulimu guno ate nga bagufunyeemu.

Famire yange nayo sigyerabira, bonna baagala bye nkola era beenyigiramu ku mitendera egy’enjawulo mu mulimu guno y’emu  ku nsonga ennyongera amaanyi nga nkola.

Okusoomoozebwa

  1.  Ebintu bye nkola Gavumenti ebiraba nti birungi naye tebabisiima ate nga ffe twagala abantu babyeyunire bakome n’okukozesa pulasitiiki kuba akolebwa mu woyiro avaamu endwadde ezitawaanya ennyo abantu.
 bimu ku bisuwa ebibumbibwa serunkuuma Ebimu ku bisuwa ebibumbibwa Sserunkuuma

 

  1.  Mu Afrika, tuli baavu nnyo, mu maka gaffe tujjuzaamu pulasitiiki na byuma ebijjudde obutwa ebisinga okutambuza endwadde. Ebibumbe bwe tubigula tubiterekera bagenyi, kyokka ate Abazungu ne babigula y’ensonga lwaki ffe endwadde zituluma okusinga Abazungu.
 ssowaani ebbakulu nensuwa yamazzi byonna nga bibumbe mu bbumba ne biwundibwa bulungi Essowaani, ebbakulu n'ensuwa y'amazzi byonna nga bibumbe mu bbumba ne biwundibwa bulungi

 

  1.  Abantu balina okukoma okukozesa pulasitiiki n’obuveera waakiri beeyunire empapula oba ebibumbe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...