TOP

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi era sejjusa kuva mu kyalo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2018

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi ate ndi musanyufu.

Katereggangalagaapozatundawebuse 703x422

Enock Kateregga ng'atunda apo

 

Bya Hafswa Nankanja

“Nali mmanyi nti Mukama b’akolera ebikulu baba bakulu, nedda Mukama akebera mutima munda ng’anakkolera tomanya,” bw’atyo Enock Kateregga 22, bw’ayanukula bw’omubuuza ebirungi by’afunye mu bizinensi y’okutambuza ebibala kya apo.

Kateregga agamba nti, okuva lwe yatandika okutunda apo obulamu bwe bweyongerako kinene ddala kubanga kati ennaku za Ssekukkulu buli lwe zituuka ajaguza n’abajaguza abalala nga teyeetya wadde okweraliikirira ekintu kyonna ekikwatagana ne ssente. Annyumya bw’ati:

Nava mu kyalo okujja e Kampala okunoonya ssente olwa mikwano gyange mingi gye nalinga ndaba abakolerayo ng’obulamu bubatambulira bulungi ddala. Okugeza mu nnaku enkulu nga bwe bajja mu kyalo buli omu abeera abayaayaanira. Kino kyandeetera omutima ogunoonya engeri gye neesogga Kampala.

Lumu nga ndi mu kibuga e Iganga, mukwano gwange  y’ajja n’ansaba okuntwala e Masaka okumusiikirako capati. Ebiseera ebyo, Kampala nali mpulira muwulire kyokka wadde twayitamu  muyite, era nakisanyukira kuba namanya nti nsenvuddeko.

Nakolanga nga mukwano gwange oyo Hamuza ansasula 10,000/- buli lunaku. Ssente zino kwe kwali ez’okulya nga mu butuufu bw’olyako emirundi esatu olunaku tosigazaawo.

 ateregga asiba ne epulooni okukuuma obuyonjo Kateregga asiba ne epulooni okukuuma obuyonjo

 

Ekintu kino kyannyiga naye nga sirina bwe nkimugamba kubanga olwo ye yali mukama wange ate nga yaakandeeta. Obwesigwa bwe nakozesanga, bwandeetera emikwano mingi nga mu bo mwe mwali ne Alex. Ono yali atunda apo e Kampala era nga ndaba azifunamu.

Yansaba okuntwala e Kampala mutambulizeeko apo nga naye ansasula 10,000/- buli lunaku. Wano tewaali njawulo na kusiika capati kuba bonna baali bansasula kye kimu, wabula ekikulu kya byonna nze kye nnali njagala nali nkimanyi era nalaba ng’ekituukiridde ekiseera ekyo.

Omulimu ogwokubiri nagukozesa ng’omukisa gw’okwesogga ekibuga Kampala era bwe yang’amba nasitukiramu.  Nafuba okukola nga bwe nkekkereza mu nsaasaanya n’okutereka era mu myezi ebiri n’ekitundu gye nnali naakamukolera nali mmaze okukung’aanyaawo 140,000/-.

Apo nze nali nzisuubula era nga buli kimu ekikwatagana n’omulimu nali mmaze okukiyiga bwe kitambula. Bwe naweza ssente ezo nasaba mukwano gwange nneetongole era kati bizinensi ndi mu yange nze nneetwala.

 po emmyuufu Apo emmyuufu

 

Nsuubula apo okuva mu Kikuubo. Buli bookisi ngigula 140,000/- kyokka ng’ebeeramu apo 198 ze ntunda ku 1,000/- buli emu. Kitegeeza nti ku buli bookisi nfunako 58,000/- ez’amagoba.

Mu nnaku ez’okukola ebookisi ngitundirako ennaku bbiri kyokka ku wiikendi ntunda bookisi bbiri era we buzibira nga ndi mu mitwalo 10 olunaku.

We njogerera nga ndi mu myezi ebiri n’ekitundu bukya ntandika okwekozesa era buli luvannyuma lwa mwezi nkung’aanya sente ezitakka wansi wa 300,000/-. Ssente zange ezaasooka nazigulamu embuzi 6 ne nziweereza maama mu kyalo e Iganga. Ezisinga zaazaala kati ndi mu mbuzi 12.

Togaya mulimu kuba teri mubi okuggyako agukola y’agwonoona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu