TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Nagaana obwavu okunsinza amaanyi ne mbuyiiyiza okutambuliza ebyamaguzi ku pikipiki

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi ne mbuyiiyiza okutambuliza ebyamaguzi ku pikipiki

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2018

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 703x422

Asiimwe ng'ali ku piki piki ye kw'atambuliza kkufulu.

Bya Ali  Wasswa

Frances Asiimwe muvubuka nzaalwa y’e Kinoni -  Rwampara mu Mbarara era oluvannyuma lw’okunoonya engeri gy’ayongera ku nnyingiza ye yayiiya okutambuliza by’atunda ku kigaali ekitamumenya.

Yafunye pikipiki ey’emipiira esatu n’agizimbako akayumba  nga mw’atundira kkufulu. Kuno yataddeko n’omuzindaalo ogugenda gulanga bizinensi ye era alina kkufulu ezitandikira ku 1,000/- okutuuka ku 30,000/-.

Asiimwe yategeezezza  nti okutembeya kufulu yakutandika emyaka musanvu  egiyise nga yasuubulanga obukufulu 10 obwa Diamond n’abutambuliza ku bbaasi ne mu ppaaka ya takisi. Wano we yava n’atandika okugula ezisingako awo n’agenda ng’alanda mpola n’atandika okugenda mu butale bw’omubuulo.

 siimwe ngatereeza omuzindaalo gwe Asiimwe ng'atereeza omuzindaalo gwe

 

Natundanga ssente ntonotono nsobole okumalawo amangu ate ndeete endala.   Oluvannyuma nagulayo akagaali  n’akazindaalo ka mukalakaasa ke nneeyambisanga mu butale bw’omubuulo.

Wabula nasalawo okugula pikipiki kwe nateeka ekibaawo ne nsibako ebyamaguzi byange. Nakola akabenje pikipiki yange ne bagikwata, ne nziririramu. Wabula oluvannyuma nafuna ssente ne ngula pikipiki magulu asatu.

Mu  mulimu guno nguzeemu poloti mu kibuga  Mbarara n’okwezimbira amaka e Rwampara wadde tennaggwa.

Nsuubira okuva mukutembeya ebyamaguzi byange nkole edduuka eddene nga lya makufulu kuba ge nsinga okutegeera.

Abavubuka bangi banyooma emirimu era bangi abansekereranga nga ntandika okutunda kkufulu ne bantuuma ‘kakufulu’, kati abamu bali mu makomera kuba baayingirira ebiduula by’abamenyi b’amateeka gye byaggweera nga babakutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...