TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Obwakondakita bwamponya ennaku y'okuwambibwako bizinensi mu Kampala

Obwakondakita bwamponya ennaku y'okuwambibwako bizinensi mu Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2018

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu ab'ebika eby'enjawulo.

Zaina2webuse 703x422

Awori ng'ayita abasaabaze

Bya Stella Naigino

Abantu baali bamanyi nti, omulimu gw’okuvuga takisi n’okukola obwakondakita gya basajja naye Zaina Awori, ekyo yakiwakanya anti agamba nti ensi kati etambulira ku misinde era bw’oba okyasumagira nga banno bakuleka.

Ono yasomako okutuuka mu siniya eyoomukaaga, n’asalawo atandike okwekozesa nga yasooka kutembeya, byakunywa mu kibuga naye nga batukwata era KCC yakwata ebintu byange byonna ne kapito n’agenda.

Natuula ne ndowooza ku kiddako era wano we nasalirawo okuyimba emmotoka mu kibuga nga mpita abantu okuyingira ng’era nsasulwa 2,000/-  buli mmotoka ejjula.

Kino nakikolera ebbanga lya myezi esatu era nga wano bakama bange banneesiga ne bampa obwakondakita mu mmotoka nga n’okutuusa kati guno gwe mulimu gwe nkola era mbeera ku siteegi y’e Seeta - Kampala.

 wori bwafaanana Awori bw'afaanana

 

Nasanyuka era omulimu guno gumbeezezzaawo era nga kati mwendya  n’okusomesa abaana bange.

Baze eyanzaalamu n’abalongo yandekawo naye sifaayo, nkolerera baana bange era obulamu butambula bulungi.

Ky’ayize mu mulimu guno

Sinyooma mirimu era nga kino kinnyambye. Nneeyongedde okwagala kye nkola era nga kino kimpa amaanyi okuzuukuka buli lunaku.

Njize nti, omulimu ye mukamaawo era ng’omuntu alina okuwa bakama be ekitiibwa era n’abo b’akola nabo, nga kino kikuyamba okukola ng’oli musanyufu.

Okusoomoozebwa

Abasaabaze olumu tebaagala kusasula mu budde nga n’abamu bannyooma kubanga ndi mukyala. Bano sirwana nabo, wabula nzigalawo luggi ne nsirika, bwe basasula nga mbaggulira.

Ngezaako okusolooza ssente mu bwangu nsobole okufuna ze nziriza abalina ssente ennene

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...