TOP

Asigala awaka lima obutiko weegobeko obwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2018

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa

Mushroomharvestingwebuse 703x422

Omukyala ng'ategeka ensigo ewedde ng'etuuse okusimba

Bya Stella Naigino

Omukyala atuula awaka komya okwekubagiza bw’otolina byakukola kufunamu ssente. Ekimu ku mirimu gy’oyinzaokukola kwe kulima obutiko n’ofuna ssente nga tovudde waka wo.

Naawe omukyala akooye okuleka abaana boa waka weekwate guno tojja kwejjusa kuleka mulimu gwa ofiisi.

Innocent Musinguzi nga mukugu mu byenfuna agamba nti, obutiko ky’ekintu ekyangu okulima era ng’abakigezezzaako bakifunyeemu.

Agamba nti, omuntu ky’alina okukola kwe kwekwata abo ababulima bamuyigirize engeri y’okubulimamu ng’olwo atandika kwenogera ku nsimbi.

Harriet Mulumba, ng’ono alima obutiko mu maka ge agamba nti omuntu yenna asobola okulima obutiko era n’akatale gyekali.

 mukyala ngategeka ebirimiro byobutiko byamaze okusimba Omukyala ng'ategeka ebirimiro by'obutiko by'amaze okusimba

 

Mulumba annyonnyola nti, ebyetaagisa si bingi ng’omuntu alina kuzimba kiyumba era kino kirina okubeera nga kinnyogoga okusobozesa obutiko okumera obulungi.

Omuntu alima obutiko atandika okwenogera ssente mu bbanga lya wiiki eziri wakati wa 4 ne 6 okusinziira ku ngeri gy’abusimbyeemu era nga bwe bumera, omulimi akungula buli lunaku era n’atunda.

Mulumba agamba nti, ng’omaze okutegeka ekiyumba ogula ensigo ne ppamba n’ofuna n’obuveera.

Otabula ensigo ne ppamba nga bino biba binnyogovu era n’obiteeka mu buveera n’ossaako obutuli obutiko we bufulumira era bino n’obiteeka mu kiyumba n’osigala ng’ofukirira amazzi buli ku makya n’olweggulo.

Mu wiiki ntono obeera otandise okukungula era ne weenogera ssente.

Racheal Nsiima, naye alima obutiko agamba nti obutiko bulungi era omuntu asobola okubukolamu ebintu bingi ng’obuugi era nga buno abantu babwettanidde.

Nsiima agamba nti, omuntu asobola okutunda obutiko obukaze oba obubisi era n’afunamu ssente z’ayagala. Abantu bonna abasobola okukolera awaka bagezeeko okulima obutiko nga buno bujja kukyuusa enfuna yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...