TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda mw’akola ebizigo n’afuna ssente

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda mw’akola ebizigo n’afuna ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2018

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula bizigo bya nviiri na lususu era sijulirira kuwummula mirimu gya Gavumenti.

Bamboowebuse 703x422

Newumbe (owookubiri ku ddyo) n'abaana be ng'annyonnyola kasitoma (ku ddyo) ebirungi by'okukozesa ebizigo ebikolebwa mu mabanda

Bya Stella Naigino

Omuntu bw’agenda akula amaanyi agakola gagenda gakendeera era bw’aba teyakolerera bukadde bwe obulamu bumukaluubirira.

Gertrude Newumbe, nga yasomerera busomesa era n’asomesa emyaka mingi, yatuuka ekiseera n’afuuka omukulu w’essomero e Mbale, gye yamala emyaka egiwera.

Wabula bwe yamanya nti anaatera okuwummuzibwa, yasalawo okutegeka ebinaamukuuma ng’akola mu bukadde bwe ng’abifunamu ssente.

 bimu kubintu ebirala ewumbe byakola mu mabanda Ebimu kubintu ebirala Newumbe by'akola mu mabanda

 

Newumbe yakola nga bw’atereka ku ssente era nga zino ze yakozesa okutandika wo bizinensi gy’akola kati.

Newumbe, yalaba ng’ewaabwe e Mbale amabanda mangi kyokka nga bagaggyako maleewa ag’okulya gokka. Yanoonyereza ku migaso gy’amabanda emirala era n’akizuula okusinziira kukunoonyereza kwe yakolera ku Uganda Research Institute (URI) nti asobola okugakolamu ebizigo era n’asoma engeri y’okubikolamu era mu wiiki mukaaga yali ayize eky’okukola.

Yakwatagana n’abaana be, nga kati bakola bizigo eby’enviiri, olususu mu bikoola by’amabanda.

bimu kubizigo ne sabbuuni ewumbe byakola nayolesa mu myoleso gye yeetabamuEbimu kubizigo ne sabbuuni Newumbe by'akola n'ayolesa mu myoleso gye yeetabamu

 

Engeri gy’akola ebizigo

  1. Atema amabanda n’agaggyako ebikoola n’abikaza. Bw’amaliriza, akwata ebikoola by’amabanda n’abiteeka mu kyuma ekibikuba ne bifuuka obuwunga.

Muno ayongeramu ebirungo ebirala nga Custer oil  olwo n’apakira n’atunda.

Ekimuyambye

Newumbe agamba nti, ayiiya nnyo era asoma ku mabanda asobole okuwa bakasitoma be ekintu ekiri ku mutindo era ebintu bye babigula.

Ono ayogera ne bakasitoma ssekinnoomu okubannyonnyola lwaki balina okwettanira okukozesa ebintu ebiva mu mabanda era nga bakkakkana baguze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte