TOP

Ssente z'akameeza zansindika okutandika okubajja

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2018

Nakoowa okubalirwa ssente z'akameeza ezitamala ne nsalawo okugenda mu kubajja era ndi musanyufu.

Julianangapimaebipimobyakakabadawebuse 703x422

Juliana Kyosaba ng'apima ebipimo bya kabada

Bya Hafswa Nankanja

ENSANGI zino abasajja bangi bazaala abaana ne badduka obuvunaanyizibwa bwabwe. Olwo omukyala n’asigala ku yoleke y’okunoonya ssente okulabirira abalonda mu mbeera zonna.

Wano abakyala abasinga we baterebukira ne bakwata abaaba baabwe ne babasuulira abalala, okubasibira mu mayumba ne bakonziba so n’abandi eby’okubasomesa bye bavaako nga beekwasa obutaba na busobozi.

 yosiga ngawawula ekitanda Kyosaba ng'awawula ekitanda

 

Kyokka omuntu Mukama gwe yawa emikono ebiri, obwongo n’ebitundu ebirala byonna nga bikola bulungi toyinza kulemererwa kulabirira mwana we.

Juliana Kyoshaba, omutuuze w’e Kazinda- Kyengera omu ku bakyala bano. Ono abajja ebintu eby’enjawulo ebikolebwa mu mbaawo era olugendo lwe alunyumya bw’ati:

“Nayingira ekibuga Kampala mu 2012. Muganda wange abeera e Najjanankumbi ye yandeeta nga nzize okumuyambako ku guno na guli awaka. Ng’era bw’omanyi omuwala yenna nga tasoma, abasajja bamutunuulira nnyo, nange bwe gwali era oluvannyuma lw’emyaka esatu nafuna omusajja eyamperereza n’anzigya ewa mukulu wange. Omwami ono ye yandeeta e Kazinga nayo kati gye mmaze emyaka esatu.

Twakula tuli bakalabakalaba

Ewaffe e Mbarara twakula tuli bakozi okuviira ddala ku bazadde baffe. Enkuza eno ye yantambulirako kubanga wadde nali nfunye omusajja ng’ampa ebyetaago era nalaba ng’okutuula awaka tekinnyamba so nga bwe nkola ne nnyongera ku nyingiza yaffe tuba tujja kukulaakulana mangu ate era n’omukwano gwaffe okweyongera okunywera kubanga omwami mba simuteeka ku bunkenke bwa byetaago.

 yosaba ngalanda olubaawo Kyosaba ng'alanda olubaawo

 

Ntandika okukola

Bwe tusenga e Kazinga, nasalawo okuteekawo omudaala gw’ebikozesebwa okufumba ng’ennyaanya, obutungulu, entula, endagala n’ebirala ebiri mu ttuluba eryo. Eby’embi ebintu bino ebisinga bivunda mangu kyokka nga n’ebbeeyi yaabyo ekyukaakyuka. Kino ky’anviirako okufiirizibwanga eza buli kiseera era omulimu ne guntama.

Ntandika okubajja

Bwe naggalawo bizinensi y’ebintu ebivunda amangu era saatuula. Waayita wiiki emu yokka ne ntandika okutambula ku byalo eby’enjawulo nga noonya emirimu egy’okukola. Nga nkyabeera ewa mukulu wange, nalina mukwano gwange eyali akola omulimu gw’okuyooyoota ebibajje era nga bwe mmaliriza emirimu gya mukulu wange nga ntera okugenda ku bajjiro okumulabako. Ono namulabanga afuna ssente ezimweyagaza era nga buli ky’ayagala akyetuusaako.

 yosaba ngafuuyira vanisi kukitanda Kyosaba ng'afuuyira vanisi kukitanda

 

Kyokka mu kaseera ako saafaayo kukoppa na kumusaba kunjigiriza by’akola lwakuba omulimu gwe nalabanga ng’ogw’obucaafu ate mu kiseera ekyo saalina nnyo bwetaavu bwa ssente.

Emirimu, egyandi mu mutwe gyali ebiri; ogw’okusiimuula okugeza amaduuka amanene oba amalwaliro n’ogw’okukola ku bajjiro nga mukwano gwange.

Ekirungi tekyantwalira budde buwanvu nga noonya emirimu. Nasooka ku maduuka ne bang’amba balina abakozi abamala olwo ne njolekera akabuga k’e Kyengera. Wano we nagwiira ku bajjiro lino. Nabasaba omulimu ne bagumpeerawo.

Kyokka baasooka kungaya nga bagamba nti engeri gyendi omukyala nja kubakongola. Wabula nabakakasa nga bwendi omulalirivu okukola era kati mpezezzaawo emyaka ebiri n’abaali bangaya beewuunya enkola yange ey’emirimu.

yosaba ngazibikira ebituli mu lubaawo olukoleddwaamu ekitanda Kyosaba ng'azibikira ebituli mu lubaawo olukoleddwaamu ekitanda

 

Ekirungi ku mulimu guno kiri nti, emikono gyo n’obwangu bw’okozesa bye bikweyimirira. Totawaana na bya kapito.

Bye nkola

Mpawula ebitanda oba enzigi, nsiiga ‘sanding paper’ n’okuteekako ‘Smoother’ emaliriza omulimu ekitanda ne kibeera kiweweevu.

Ennyingiza

Olunaku nsobola okukola ekitanda eky’obunene bwa ffuuti 6 ku 4 ne nkimaliriza era wano babeera bansasula 30,000/-.  Ate ekya ffuuti 6 ku 6 bansasula 50,000/-.

 yosaba ngannyonnyola ku  mulimu gwe Kyosaba ng'annyonnyola ku mulimu gwe

 

Mu kiseera kino ndi mu kukoppa ebintu ebirala ebikolebwa ku kitanda era bakama bange bwe babeera n’emirimu emingi olumu bampa ne mbayambako ku bimu ng’okubajja n’okufuuyira langi ku kitanda oba okupima ebibalo bya bakasitoma eby’enjawulo.

Omulimu guno gumpa emirembe kubanga bannange be nkola nabo babeera bansaasira engeri gyendi omukyala. Okugeza bannyamba okunsitulirako ebintu eby’enjawulo era ne bwe mba mbisobola tebang’anya kubisitula mbu ndi mukyala.

Kati sikyalindirira musajja kuleka ssente z'akameeza era lwe ziba zimubuze asanga buli kimu nakiguze dda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte