TOP

Kasasiro tumukolamu ebimuli ne tufuna ssente

By Vivien Nakitende

Added 27th November 2018

Kasasiro w'ebisusunku bya kasooli mwe tukola ebimuli ebirungiya emikolo gy'abantu

Tourism1webuse 703x422

Bammemba b'ekibiina kya Kyebando Rise and Shine nga bakola ebimuli mu bisusunku bya kasooli

Bya Vivien  Nakitende

Eyayiiya toli mwavu mutwe gwo gwe mwavu yabiraba, anti wano ku nsi kasita obeera omuyiiya n'oteekawo ekitali kyabulijjo nga ssente onoga.

Baabano abakyala ab'ekibiina kya 'Kyebando Rise and Shine' abasangibwa e Kyebando ne Mukono, bakola ebimuli eby'omulembe mu kasasiro gwe balonda mu butale ne ku nguudo ne bamwongerako omutindo ne bakola ssente.

Maimuna Namwanje, ssentebe w'ekibiina kino agamba nti, “Twatandika abakyala batono ku kyalo nga tutunga ebintu eby’enjawulo ne tukolamu ku ssente.

Mu kulonda okwakaggwa ffe abamu ku beenyigira mu kukola ssente za bannabyafuzi abaali banoonya obululu kuba baali batuuka mu bibiina eby’enjawulo nga babakwaasizaako.

Twakyazaako omukyala Ruth Nankabirwa ate nga tugenda kukyaza ne Gen. Salim Saleh.

 ammemba bekibiina kya yebando ise and hine nga boolesa ebimu ku bintu bye bakola mu kasasiro Bammemba b'ekibiina kya Kyebando Rise and Shine nga boolesa ebimu ku bintu bye bakola mu kasasiro

 

Nalowooza ku kintu eky’enjawulo kye tuyinza okukola okwawukana ku balala kuba obusawo bw'embira bwe twali tukola ng'abantu bangi babukoze.

Mukama yampa amagezi ne ntunuulira ebisusunku bya kasooli ne ndaba nga tusobola okukolamu ekintu ekirungi.

Nasooka ne ndukamu ekimuli, n’agenda okulaba nga kikola , nasooka kukirukisa buso ne ndaba nga tekivaamu bulungi bwentyo ne ng’enda nga nkiyiiya okutuusa lwe nagula wuzi ate ne ndaba nga kivaamu bulungi.

Engeri gye tuluka ebimuli mu bikuta bya kasooli

  1. Tulonda n’okufuna abatulonderako ebikuta bya kasooli okuva mu butale ne ku nguudo, tubisunsulamu ebicaafu n'ebiyonjo, tubifumbako mu langi ez'enjawulo okusinziira ku kye twagala.
  2. Tubyanika mu langi zaabyo, bwe bikala olwo ne tutandika okuzinga ebikuta ebyo nga tukozesa wuzi n'obuti obuteekebwako emicomo bwe tuzingako.
  3. Tuyiiya dizayini ez’enjawulo ze tuluka, tugula n'obukebe mwe tubituuza nga tukozesa embira ne byongera okulabika obulungi.
 bimu ku bimuli nga bitimbiddwa Ebimu ku bimuli nga bitimbiddwa

 

Akatale

Akatale k'ebimuli byaffe wadde birungi kakyali katono, abantu baagala kutuwa ssente ntono ate nga bitwala obudde bungi okukola.

Tubitundira waka we tukolera mpozzi n'okutwalako mu myoleso egy’enjawulo ne mu maduuka ag’enjawulo.

Tubitunda wakati wa 10,000/- ne 100,000/-, wabula eby’ebbeeyi ennene tubikolera ku wooda ya muntu kuba birwawo okutambula.

Bikyusizza obulamu bwaffe, kati naffe ng'abakyala tubaako ne ssente ezaffe mu nsawo. 

Ekibiina kirimu abakyala 200 era tuyigiriza abeetaaze, naye tusaba be kikwatako okutukwatirako okutwongera ku ssente n'okutufunira ku katale k’ebintu byaffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata