TOP

Mu kuwunda amayembe nfunyeemu ebyengera

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2018

Amayembe abamu ge basuula nga kasasiro mwe nnoga ssente.

Walusimbi81webuse 703x422

Walusimbi ng'alaga ebimu kubintu by'akola mu mayembe g'ente

Bya Emmanuel Ssekaggo

BANNAYUGANDA abasinga  bakaaba obwavu nga beekwasa nti emirimu gyabula. Ekituufu kiri nti, emirimu gy’omu ofiisi giyinza okuba nga tegirabika wabula omuntu okuba obulungi mu nsi alina okuba omuyiiya okusobola okweyimirizaawo.

Ssaalongo Walusimbi Lule Soony ow’e Mukono bwe yalaba ng’embeera mu Uganda yeetaaga kuyiiya nnyo kwe kusalawo okukola ebintu ebiwundibwa eby’enjawulo ng’abiggya mu mayembe g’ente.

Ebintu Ssaalongo Walusimbi by’akola mu mayembe g’ente mulimu ebikomo by’abakyala, eby’omu bulago, ebikwata enviiri, ebisanirizo, okuwunda amayembe gennyini ne gasanyusa amaaso n’ebintu ebirala bingi.

 alusimbi nomu ku bakozi be yeswa ku kyuma ekiyooyoota amayembe Walusimbi n'omu ku bakozi be Kyeswa ku kyuma ekiyooyoota amayembe

 

Omu ku bakozi be, Joshua Kyeswa yagambye nti buli kintu omuntu ky’ayinza okulowoozaako kisobola okuva mu jjembe ly’ente kasita kiba nti agawunda alina obukugu obumala ate n’akatiba k’agenda okweyambisa okukikola.

Olw’okuba buli kintu kyetaaga obukugu okukikola, Ssaalongo Walusimbi agamba nti, “Mu 2013 nasalawo okugenda e Girimaani okusoma engeri gye nnyinza okukola ebiwunde nga mbiggya mu mayembe g’ente nga nakikola kwagala kwongera ku bukugu bwe nalina olwo nsobole okukola ebintu ebiri ku mutindo gw’ensi yonna.

Era nasalawo okwongera obukugu mu kuwunda amayembe kubanga nalaba omukisa abantu abasinga we baali tebagulaba. Mu biseera ebyo amayembe g’ente abantu tebaagalabangamu mugaso era nga bwe bamala okugaggya ku nte basuula masuule naye ate nga nze ndaba nga nali nnina kye nyinza okugakolamu.

Nga sinnagenda Girimaanyi nali nasoma okusiiga ebifaananyi wabula nga njagala okuleeta ekintu ekipya mu ggwanga kwe kusalawo okugenda okwongera okubangulwa mu kukola ebiwundibwa mu mayembe.

Okusoma e Girimaani kwagenda bulungi era Mukama yannyamba nti, oluvannyuma lw’okusoma ebyuma bye nasomerako byampeebwa era ne nzija nabyo nga nakati bye nkolerako. Mu kusoma kuno nafuna obukugu mu kukola ebintu eby’enjawulo okuva mu mayembe.

Kati natandika ne kkampuni ewunda amayembe eyitibwa ‘Eka Craft Creation Limited’ ng’ekola eby’okwewunda by’abakyala okuva mu mayembe g’ente.

 yeswa ngateeka ejjembe mu kyuma ekigasala Kyeswa ng'ateeka ejjembe mu kyuma ekigasala

 

Entandikwa  ne we ntuuse

Natandika ne 500,000/- ze nagulako ebyuma ebyannyamba okusala amayembe okuli emisumeeni, makansi n’obwambe, langi ey’okugawunda n’ez’okusasula abakozi be nali ntandise nabo.

Amayembe ge twatandika nago twagalondanga bulonzi  era gaali 20,  anti ebiseera ebyo amayembe g’ente abantu tebaagalinaamu mugaso. Essaawa eno, ejjembe ndigula 500/- okuva mu lufula  olwo ne nondamu amalungi mwe nkola ebiwundibwa ate amabi ngakolamu obuntu obutono okugeza amapeesa, eby’oku matu n’ebirala oba oluusi okugakolamu emmere y’enkoko.

We njogerera nkozesa abakozi bana ab’enkalakkalira wabula ng’abantu bangi abafuna mu mulimu gwange kubanga waliwo bangi abatambuza bye mmaze okukola mu mayembe okubitwala  gye tubitundira wano mu ggwanga ate oluusi n’ebweru waalyo.

Ekisinga okumpa amaanyi kiri nti, ebintu byonna bye nkola bifuna akatale akabimala era sirina kye nkola ne kidiba. Abasinga okungulako okusinga  batera kuba bakyala kubanga  be basinga okuganyulwa mu byenkola naddala nga bagula eby’omu bulago, ebikomo n’eby’oku matu.

Wabula n’abasajja bangulako  nga baagala okutimba ennyumba zaabwe oluusi ne ofiisi anti amayembe ganyuma nnyo nga gali mu ddiiro ne mu ofiisi.

Olw’okuba bye nkola biri ku mutindo, nfuna n’abantu abaagala okugula byenkola okuva ebweru w’eggwanga naddala okuva e Kenya ne Rwanda.

Bannayuganda naddala abavubuka balina okuba abayiiya era  batandike okunoonya obukugu  okusobola okubaako emirimu naddala egy’omu mutwe gye bakola basobole okukyusa obulamu bwabwe.

 alusimbi ngalaga ekiwundiddwaamu maapu ya ganda nebirala okuva mu mayembe Walusimbi ng'alaga ekiwundiddwaamu maapu ya Uganda n'ebirala okuva mu mayembe

 

By’afunye mu mulimu guno

  1. Abaana bange  tebanoonya mirimu, bwe bamaliriza okusoma nga batandika kukola wano ku kkampuni yaffe olwo ne tusobola okugikulaakulanya, okugeza muwala wange eyaakamaliriza okusoma, yasoma bya kuwunda bifaananyi era tukola naye wano.
  2. Mu ngeri y’emu era okuwunda amayembe kinfudde mumanyifu era bw’otuuka e Mukono ng’onnoonya tosobola kumbulwa. Ate ne mu ggwanga lyonna mmanyiddwa era n’ebweru waalyo. Obumanyifu buno bwonna sandibufunye ssinga nali sitandise mulimu guno gwa kuwunda mayembe ga nte nga ngaggyamu ebintu ebisikiriza abantu.
  3. Ssente ze nkozesa emirimu egy’enjawulo era nziggya mu mulimu gwange guno gwe nkola okugeza okuweerera abaana mu masomero amalungi  n’okulabirira amaka gange. Ssente zonna nziggya mu kuwunda mayembe ga nte era omulimu gwange sigwevuma.

Okusoomoozebwa

Nga bwekiri ku buli mulimu nti temubulamu bisoomooza ne mu kukola ebiwundibwa mu mayembe era mulimu ebisoomooza, Joshua Kyeswa akola ne Ssaalongo  Walusimbi yalaze okusoomoozebwa kwe bayitamu nga bali mu mulimu gwabwe guno.

Kyeswa agamba nti, bw’oba osala n’okuwawula amayembe gano, empumbu egavaako ebeera mbi nnyo ssinga omuntu aba agisikidde mu mukka gw’assa nga kiyinza okumuviiramu obulwadde. Kye nkola, nfuba okulaba nga nneesabika naddala ennyindo ekiseera kyonna.

 yeswa ngatadde ejjembe mu kyuma ekikozesebwa okugawunda Kyeswa ng'atadde ejjembe mu kyuma ekikozesebwa okugawunda

 

Ate ekirala, mu kukozesa ebyuma bino ssinga abikozesa taba mwegendereza bisobola okumusala ate olunsi ssinga tabisiba kubinyweza biyinza okusumulukuka ne bimukuba era ne bimuleetako obuvune obw’amaanyi.

Omuntu yenna ayagala okutandika omulimu guno ogw’okuwunda amayembe alina okukimanya nti amayembe gano gawunya naddala nga gaakaleetebwa era agamu oluusi gabaamu n’ebiwuka. Kino kitegeeza nti, agakolamu alina okugumira ebyo byonna okusobola okugaggyamu ekirungi ekinaanyumira omuguzi.

Ye Ssaalongo Walusimbi yagambye nti, okusoomoozebwa kw’asanga kwe kuba nti Bannayuganda abasinga tebannaba  kwettanira kugula bye baggye mu mayembe gano okuggyako abakyala oluusi abatera okwagala okugula eby’okwewunda.

Abalala tebagula nga beekwasa nti, ebitundibwa tubiseera naye nga ssinga obala ssente ze tuteekamu n’okubeezaawo ebyuma bye tukozesa ogenda okwesanga nga tetulina kya maanyi kye tufunye.

Abakozi balina okuyiga okwenyumiriza mu mirimu gyabwe era bajaagale olwo ne bye bakola bijja kuba bibanyumira era kijja kubaleetera okukola ebintu ebiri ku mulembe ebijja okusanyusa bakasitoma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...

Nyo 220x290

Ebigambo bya Nnamwandu ebikaabizza...

Nnamwandu wa Muhangi, Patience Mbabazi yakaabizza abakungubazi bwe yalombozze embeera enzibu gy’abadde ayitamu...