TOP

Bizinensi ziizino mw'onokola ssente mu nnaku enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 30th November 2018

Manya abantu kye beetaaga mu kitundu kyo mu nnaku zino enkulu okole ssente ng'obibatuusaako.

Lawrencengalengaobummondebwasuubulakubalimiwebuse 703x422

Mucunguzi (ku ddyo) ng'alenga obummonde bw'aguza bakasitoma.

Bya Hafswa Nankanja

Lawrence Muchunguzi ow’e Ntinda agamba nti yamanya Ssekukkulu ng’olunaku omuntu lw’ateekeddwa okuwummulirako n’alya ku ssente z’akoze mu mwaka. Kyokka olw’okuba obwavu bungi ennaku zino, naye ayiiya amagezi okulaba ng’alembeka ku ssente zino alwanyise obwavu. Annyonnyola nti:

Eby’okwebaka n’okukerebera nabisiba ku mabbali ne nsalawo okutetenkanya famire yange esanyukeko mu nnaku enkulu.

Ndi musuubuzi wa bummonde mu katale e Nakawa kyokka, obutafaananako nga bulijjo, mu kiseera kino nkeera mu bunyonyi n’oluusi ng’abalimi tebannajja ne nsobola okweroboza ku kye ngula.

 nva endiirwa mu kiseera kino za ttunzi Enva endiirwa mu kiseera kino za ttunzi

 

Ensawo y’obummonde bagituguza 130,000/- kyokka eky’enjawulo ekiri mu kukeera nti oluusi bbeeyi mugiteesaako kuba babeera tebannafuna babapakusa.  

Oluvannyuma obummonde mbutwala ku mudaala ne nziramu okubusuubuza abantu ssekinnoomu nabo abaddamu okubutunda.

Kino kinnyambye okweteekerateekera Ssekukkulu kubanga buli nsawo nsobola okugifunako ssente ezitakka wansi wa 30,000/- ze mbadde sifuna emabegako.

Ssente zino nfuna we nzitereka era Ssekukkulu nze egenda kunnyumira nga Katonda ye mubeezi wange.

Bizinensi y’obummonde teyeetaaga kapito mungi kyokka nga buli lunaku onnyuka n’akaveera,” Muchunguzi bw’amaliriza.

 buti obutimbibwa ku sekukkulu nabwo buli ku katale Obuti obutimbibwa ku Ssekukkulu nabwo buli ku katale

 

Bizinensi endala z’oyinza okukola

Bizinensi nnyingi z’osobola okukola kyokka ezimu nga zeetaaga kapito wa 10,000/- zokka. Ssente zino bw’ozikekkereza nga bw’oterekako, Ssekukkulu eneegenda okutuuka ng’ensawo yo nsanyufu.

Hajji Jamil Sebalu, omukugu mu bya bizinensi akulaga ezimu ku bizinensi z’otosaanye kubuusa maaso mu kiseera kino. 

  1. Okulya: Mu kiseera kino abantu bagenda kugula ebintu bye batalya bulijjo. Ssente 20,000/- gyokka zikumala okutandika okusuubula amatooke okuva ku balimi ggwe n’oguza abasuubuzi oba abantu ssekinnoomu. Eyatandika n’enkota 2, Ssekukkulu eneegenda okutuuka ng’oli mu 10 n’omusobyo. Eby’otulo by’olina okwesonyiwa osobole okukeera ku mmotoka z’abalimi mu butale.
  2. Osobola okusuubula enva endiirwa nga nnakati, emboga oba ennyaanya n’obutungulu okuva ku balimi nazo n’oziguza abo abazeetaaga.
  3.  Gula enkoko ezikuzeemu oyongere okuziriisa zigejje oguze abantu ku ssekukkulu okoleko amagoba.
  4. Osobola okuteekawo omudaala gw’ennyama ku kyalo kuba bangi kati baagala ey’okwokya, okulya enfumbe n’okukozesa mu byokulya ebirala. Wabula, olina okubeera omuyonjo n’okufuna ennyama ennungi eneesikiriza abantu baleme kukuyitako.
  5. Alina wooteeri ky’ekiseera okugyongeramu ebirungo. Leeta ebyokulya by’omanyi nti biwooma era nga n’ebimu bya njawulo ku byabulijjo. Enfumba nayo gikyuseemu.
  6. Eby’okusanyuka: Bino ebiseera bya bubaga, buno bulimu abantu abava ebweru n’obuggalawo omwaka. Noonya ebintu ebyo byokka by’osobola okutwalayo. Okugeza, eby’okutimba, endongo n’ebirala.
  7. Mu bitundu ebimu naddala mu byalo babeera n’ekizibu ky’amazzi. Ggwe alina obusobozi gula amazzi ogatambuze mu byalo bino tojja kusigala kye kimu.
  8. Okwambala: Akaseera kano abantu abasinga bali mu keetalo ka kunoonya ngoye mpya. Oli bw’aba alina famire, ye bw’aba tasobodde kwegulira waakiri ajja kugulira abaana oba omukyala. Ky’okola kya kunoonya kifo awali akatale obulungi.
 mukyala ngagabirira enkoko zalunda okutunda ku sekukkulu Omukyala ng'agabirira enkoko z'alunda okutunda ku Ssekukkulu

 

Ebirala mulimu:

Okweyonja: Abantu bali mu kuyooyoota maka gaabwe. Okugeza, funa akuuma akasaawa omuddo otambule nako nju ku nju mu bifo w’omanyi amaka. Ku maka 10 g’oyiseeko, waakiri 3 bajja kwetaaga obuyambi bwo

Abalala banoonya babasiigira langi ku mayumba. Ggwe akola omulimu guno, totuula butuuzi tambula nga bw’onoonya akatale.

Entambula: Manya nti, kino ekiseera kya bantu kuwummulako. Oluwummula luno abasinga balukozesa okulambula bannaabwe n’abalala bagenda mu byalo lwa nsonga nti n’abaama babeera bawummudde. Kitegeeza nti, ggwe akola mu ntambula ojja kuganyulwamu.

Ne bw’oba n’emmotoka yo ey’obuyonjo osobola okugiteeka ku kkubo n’otikka abantu nga bw’obatwala mu byalo. Wabula olina okuba omwegendereza ku budde bw’otambuliramu na wa gy’obatwala. Oteekeddwa kubakomya ku siteegi awali abantu olw’ensonga z’ebyokwerinda.

 byokwewunda nabyo biri ku katale Ebyokwewunda nabyo biri ku katale

 

Atunda eddagala: Mu nnaku zino abantu bajja kulya ebintu bye bamanyidde n’ebyo bye babadde tebamanyidde oba emmere ey’obutwa. Manya ddagala ki lye bajja okwetaaga n’ebintu ebirala.

Eby’okwewunda. Muno mulimu eby’omu maaso, enviiri, ebigere, omubiri okugeza abakola masaagi n’ebirala. Funa eby’okwewunda eby’omulembe ebigya mu kaseera kano.

Obuti bwa Ssekukkulu ne kaadi za kulisimaasi byonna bifuna mu kiseera kino.

Buli alina omulimu noonya engeri gy’ogwongerako omutindo oba okufuna omulimu omulala okugeza, owa saluuni osobola okugattako ensawo z’abakyala n’engoye. Omuntu bw’agya okumuyooyoota, osobola okubikubira akalango ng’obyogerera n’obimwagazisa wadde nga si bye yajjiridde n’akugulako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...

Nyo 220x290

Ebigambo bya Nnamwandu ebikaabizza...

Nnamwandu wa Muhangi, Patience Mbabazi yakaabizza abakungubazi bwe yalombozze embeera enzibu gy’abadde ayitamu...

Fu4650979 220x290

Omutaka w'ekika ky'Engo ayogedde...

OMUTAKA Muteesasira ayogedde ekyamutwala ku lyato era neyebaza mukazi we olw’okubeera omukakkamu ku mbeera eriwo....

Aid4 220x290

'Bannayuganda munyiikire okugaba...

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu kugaba omusaayi naddala mu biseera bino ng’abaana b’amasomero...

Besigyenganyumyanedr 220x290

Omulamuzi talabiseeko mu musango...

OMUSANGO oguvunaanibwa omusomesa w’e Makerere, Dr. Stella Nyanzi, gwongezedwaayo okutuusa nga 19, December, 2018,...