TOP

Ebbumba n'emiti mwe njiiyiza ne nfuna ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2019

Mu kulambula abaliko bye bakola mwe naggya ekirowoozo ky'okubumba n'okuwunda emiti kati mwe nzigya ssente

Oteyo3jpgweb 703x422

Oteyo ng'alaga ebimu ku bintu by'abumba n'okubajja.

Bya Stella Naigino

Omuntu bw’akugamba nti toli mwavu mutwe gwo gwe mwavu abamu baseka abalala ne bajerega naye nga Richard Oteyo akikkaatiriza nti kituufu.

Agamba nti, ky’ekiseera abantu bayige okukola ssente nga bakozesa obwongo bwabwe, n’amagezi amazaale beggye mu bwavu.

Oteyo agamba nti, buli omu atondebwa ng’alina ky'asobola okukola ne bw’abeera tasomye naye bw’ayongerako amagezi ag’omu ssomero olwo ayitirira.

Annyonnyola nti: Nnali sirina kye nkola naye nazuukuka lumu ne nsalawo neeyongereko era nasalawo okuwunda ebintu eby’enjawulo nga nkozesa ebbumba.

 tega ngalaga ekimu ku bibumbe ebitimbibwa mu nju Oteyo ng'alaga ekimu ku bibumbe ebitimbibwa mu nju.

 

Entandikwa

Natambula ne ndaba ebintu bingi era nga mu bino mwe naggya ekirowoozo ky’okukola ebintu bye nfunamu ssente.

Nalowooza ku ngeri gye nsobola okubikola nga bwe natunula amaaso gaatuukira ku bbumba ne mmanya nti nfunye kapito era nanoonya kifo waakukolera ne ntandika.

Nkola entebe mu bifaananyi by’ebinyonyi n’ebisolo, obubakuli, emizannyo nga chess, omweso n’ebirala, ebitimbibwa mu nnyumba, ebivuga, n’ebirala bingi.

Bye nfunye

  1. Nfunye emikwano naddala mu bavubuka abalabye ebintu byange. Bangi banneebuuzaako nga baagala kubayigiriza. Bano bafuuka mikwano gyange.
  2. Njize okukolagana n’abantu era okufuna mu ky’okola olina okwekwata abantu osobole okwongerwako amagezi.
 birala ebikolebwa teyo Ebirala ebikolebwa Oteyo

 

Ebimuyambye

  1. Kubeera muyiiya

Omuntu yenna okufuna n’akulaakulana, alina kubeera muyiiya kuba bakasitoma beetaaga kuyiiyiza buli kiseera kuba baagala bitambula na mulembe ate nga bya mutindo.

  1. Okukola ennyo

Okufuna ekiwera olina kukola nnyo ng’abaguzi buli lwe bajja basangawo ekipya ekiwedde kye batwalirawo ne batadda mukulinda ate kwekyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte