TOP

Nkola weema okwebeezaawo ne bavubuka bannange

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2019

Abooluganda abambuuza omulimu omutuufu gwe nkola bansindiikiriza okutandika okukola weema nfune eky'okubaddamu

Tenti7webuse 703x422

Mugabi ng'atunga weema

Bya M. Anthony Nantambi


ABANTU abamu balowooza nti okubeera n’omulimu gw’okola kwe kubeera ne mukamaawo gw’okolera ng’akusasula omusaala oba kagwiirawo.
Peter Mugabi Matovu 30, omutuuze w’e Masajja mu Wakiso alina diguli ey’obusomesa okuva mu yunivasite e Makerere.
Agamba nti, bwe yamala okusoma n’afuna omulimu gwe yasomerera naye yagenda okulaba ng’omusaala mutono okusinga ku buvunaanyizibwa bw’alina n’asalawo aguleke n’atandika okukola emirimu.
Yakolako omubisi gwe yasibanga mu buveera, okukwata vidiyo ku mikolo, yakolako obwakitunzi mu bifo eby’enjawulo.
Mikwano be n’abooluganda bwe baamubuuzanga omulimu omutuufu gw’akola nga talina gw’alondako n’alowooza era ne yeezuula nti yali asobola okukola weema ez’ebika eby’enjawulo.
Yatandika ne kapito wa 15,000,000/- ze yeewola ku nnyina ne muganda we.

 ugabi ku ddyo nomu ku bakozi be nga bapanga weema Mugabi (ku ddyo) n'omu ku bakozi be nga bapanga weema

 
Ebikola weema
Mugabi agamba nti, “Nkozesa matiriyo ow’ekika kya A-plus nga buli kidondi kitundibwa 870,000/-; Africa ne hard bya 850,000/-; Korea wa 950,000/- n’ebyuma ebiwanirira weema bya 700,000/-.
Nkola weema okusinziira ku kipimo n’ekika kasitoma ky’abeera ayagala okumukolera.
Ng’otandika, ozingulula ekidondi kya matiriyo ekola weema, n’opimako ffuuti nga 20.
Wano osalawo endabika gy’oyagala weema efaanane, olwo n’olyoka okomola obutundu obulala obubeera bubulako ne batandika okugatta amatundubaali gano n’ekyuma okusobola okufunamu weema ennamba.
Osala ebyuma n’ossaamu ensonda n’ofuna payipu okusinziira ku buwanvu bwa weema. Bino bye bipangibwa ne byambazibwa ettundubaali lye wasaze olwo nga weema ogimalirizza.

Ebika bya weema ez'enjawulo
Mugabi agamba nti, ebika bya     weema Mugabi z’akola kuliko: Ordinary ng’eno ebeera ya kkanisa abantu gye basabiramu; Canopy (ey’akasolya) eno ebeera ya mikolo ng’embaga, okwanjula n’ebirala; Camping eno ebeera ya kusulamu; waliwo n’eterekebwamu emmotoka eyitibwa ‘Car tent’ n’ey’enkuhhaana ez’enjawulo.
Mugabi agamba nti, weema tezigulibwa buli lunaku naye mu wiiki afunamu bakasitoma nga basatu era bwe bagula buli weema afunako amagoba ga 200,000/-.

 ugabi ngalaga weema ewedde okuzimba Mugabi ng'alaga weema ewedde okuzimba

 
B'ani baaguza weema?
Mugabi agamba nti, bakasitoma baaguza weema kuliko abasumba ababeera batandika kkanisa, ababeera balina emikolo, ababeera baagala okutandikawo bizinensi y’okupangisa weema ku mikolo nabo babaguza.
Abalina ebibiina by’abakyala, bassekinnoomu ng’agyagadde ewuwe, abaamasomero, amalwaliro n’abatunda ebintu ebyetaagisa ebisiikirize nga entebe n’ebirala.

By'afunye
Aguze ettaka ly’agenda okuzimbamu ennyumba.
Okwebeezaawo n’okulabirirako famire ye.
Emikwano n’okuyamba abavubuka okubawa emirimu ng’akozesa abantu 15 ssaako abayiga okukola weema.

 ugabi ngalaga ebintu ebyenjawulo byakola nobutebe bwe yagula okugaziya bizinensi Mugabi ng'alaga ebintu eby'enjawulo by'akola n'obumu ku butebe bwe yagula okugaziya bizinensi

 

Okusoomoozebwa
1. Mugabi agamba nti, okusoomoozebwa kw’asanze bwe butaba na bikozesebwa mu kukola weema ate ng’ebiriwo byabuseere.
2. Amasannyalaze agavaavaako oluusi ne gabeera matono nnyo ekitaataaganya enkola y’emirimu.
bya buseere.
3. Ebiseera by’enkuba bibatawaanya kuba bakolera wabweru mu kyererezi ng’ate ebyuma ebyokya tebikwatagana na mazzi kubanga bya masannyalaze.
4. Bakasitoma tebasasula kumalayo ssente ate nga ze tukozesa okugula ebikozesebwa ebirala.

Ebirala by'akola
Mugabi akola ensawo z’amasomero, ebipande by’oku kkubo, obutebe, waleti ez’abaami n’abakyala, ebiwempe by’omu nyumba n’ez’emmotoka, ensawo z’ebyuma by’ebidongo, engoma, bbandi, sitandi, kkamera ne minvuuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Bumate United FC etanziddwa emitwalo...

Bumate United FC etanziddwa emitwalo 50 mu Big League

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe