TOP

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2019

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 703x422

Muteteri ng'abaaga embuzi kw'afuna emitwe

Bya Hafswa Nankanja

Abaganda baagereesa nti, “Enswa bw'ekyusa amaaso nga naawe envubo okyusa”, kino abakyala abasinga kye bakoze. Abasajja bwe babazaddemu abaana kyokka abamu ne badduka obuvunaanyizibwa nabo kwe kusalawo okuyiiya engeri gye banaalabiriramu abaana baabwe ekibatuusizza okukola n’emirimu egiyitibwa egy’ekisajja.

Sarah Muteteri, ow’e Nakuwadde y’omu ku bakyala abaasalawo ennaku okugisiba ku mpagi okusobola okukolerera abaana be. Ono musuubuzi wa mitwe n’ebigere by’embuzi mu lufula ya ‘Kyengera Cattle Traders’ era olugendo lwe alunyumya bw’ati;

Mu 2009 nga nvudde ewaffe e Rwanda, nanoonya ekifo aw'okusula Mukama n'ansuula Wakaliga mu katale k’abaazirwanako. Okuva e Rwanda najja ne kapito wa 1,000,000/- ze nnali nkung’aanyizza okuva mu mirimu gye nakolanga eyo. Ssente zino ze napangisaamu  akaduuka ne nteekamu firiigi y’ebyokunywa n’ebyokulya era nga mwe nsula n’okusula.

 uteteri ngatwala embuzi okugibaaga Muteteri ng'atwala embuzi okugibaaga

 Eby’embi  ekifo kino kyagaana okukola nga bwe nateebereza era okukkakkana nga ssente zange zonna zifiiriddemu ne nzirayo ku zeero nga n’omwaka teguweze.

Mu kaseera nga nkyali mu kugezaako okwetereeza we nafunira n’omwami eyampasa mu 2012.

Omwami ono yandaga omukwano ogw’ekimmemette anti buli kye nayagalanga nga njogera bwogezi n’aleeta. Kwe kugamba yajjira mu kiseera ekituufu nga kapito wange amaze okusaanawo ye n’anzidaabiriza. Ekibi omukwano gwe yagussaamu ebbuba eritagambika eryamuviirako okung’aana okuddamu okukola bizinensi yonna ng’agamba abasajja abalala bajja kunkwanirayo.

We yabing’ambira safaayo kubanga nange nali nkyaliko situleesi y’emirimu era nakkakkana ne ntandika kuzaala. Mu bufumbo bwaffe bwe twamalamu emyaka omukaaga, twafuniramu abaana babiri ng’omukulu wa myaka etaano ate omuto w’esatu.

 uteteri ngapakira emitwe gyembuzi okugitwala okugifumba Muteteri ng'apakira emitwe gy'embuzi okugitwala okugifumba

 Wabula, omwana wange omuto bwe yaweza omwaka gumu ne nfuna ekirowoozo ky’okuddamu okukola. Nakiteesaako ne baze era naye n’akisemba. Mu butuufu nneewuunya omuntu abadde omukambwe ennyo buli lwe nayogeranga ku kigambo okukola gye yakkakkanira n’akkiriza okusaba kwange. Kirabika Mukama yali ng'amubikkuliddeko nti, mu biseera ebijja tajja kubeera naffe era n’andeka nsobole okweteekerateekera obuvunaanyizibwa.

Waaliwo mukwano gwaffe Godfrey Bugingo, we yanzigirira mu lufula y’e Kyengera naye gye yali akola nti emirimu gyegiri ate nga tegyetaaga kapito mungi. 

Mu 2016 najja n’empapula zange ez’obuyigirize ku lufula eno ne nsaba emirimu era ne bampa ogw’obuwooza nga bansasula 150,000/- buli mwezi. 

Eby’embi nali naakakolayo omwaka gumu n’ekitundu baze n’anfaako mu 2018.

Nze n’abaana baffe yali yatumanyiiza okutuwa buli kimu era kino kyatukosa n’okwekyawa ne nneekyawa nga ndaba ensi enfundiridde. Abaana bange nabaggya mu masomero gye baali basomera ne mbazza mu gasasuza ssente ensaamusaamu era n’akayumba ne tufuna aka 80,000/- omwezi.

 uteteri ngayoza ebyenda byente nabyo byatunda Muteteri ng'ayoza ebyenda by'ente nabyo by'atunda

 Olw’obuvunaanyizibwa buno, nalaba nga ssente ze bampa 150,000/- tezisobola kutubeezaawo n’abaana bange kwe kusalawo okuta omulimu ogwo ne nnyingirira ogw’okusuubula embuzi. Olw’ensonga nti ekifo n’ebikolebwamu nali mbitegedde bulungi, omulimu gw’obusuubuzi gwannyanguyira.

Mu kaseera ako obusente bwange bwe nnali ntereseewo obusinga bw’agenda ku by’okuziika n’abaana okusoma era we natandikira okusuubula embuzi.

Nalinawo 300,000/- zokkaze nakozesa okusuubula embuzi eza 120,000/- ate ne nziramu okuzitunda. Embuzi emu nsobola okugiggyako wakati wa 10,000/- ne 20,000/- n’oluusi okusingawo okusinziira ku bunene n’enteeseganya yo n’omuguzi.

NATANDIKA OKUSUUBULA EMITWE GY’EMBUZI

Olw’ensonga nti, tomanya ddi lw’onootunda mbuzi, nalaba nga nnyigirizibwa kwe kusalawo okugattako omulimu omulala. Nakwata amagoba gange ne ntandika okusuubulamu emitwe, amagulu n’ebyenda by’embuzi bye nguza abantu ab’enjawulo kubanga akatale ko weekali.

Omutwe n’amagulu g’embuzi mbisuubula ku 3,500/-. Oluvannyuma lw’okubirongoosa obulungi, mbisuubuza wakati wa 7,000/- ne 8,000/- nga kisinziira ku bunene bwabyo.

Byo ebyenda mbigula wakati wa 10,000/- ne mbitunda ku 20,000/- nga nakyo kisinziira ku bulungi bwabyo. Ebyenda nze mbyeyoleza nga nyambibwako abavubuka be nsasula 500/- ku buli nda ya mbuzi. Olunaku osobola okukola 30,000/- mu bintu bino.

 uteteri ngasitudde ebyenda ebiwedde okwoza okubitwala okubifumba Muteteri ng'asitudde ebyenda ebiwedde okwoza okubitwala okubifumba

MBAAGA EMBUZI

Ebirala bye nkola mulimu okubaaga embuzi nga kino tukiyita ‘kugikuba mukono’, kuno kubeera kugiggyako ddiba ng’okozesa ekikonde kyo. Wano buli mbuzi gy’okolako bakusasulamu omutwe n’amagulu. Kitegeeza nti, oteekeddwa okubeera n’amaanyi wamu n’obwangu mu mikono okusobola okukola ku mbuzi eziwerako kw’ofuna emitwe n’amagulu nga tokozesezza ssente.

NSUUBULA N'EBYENDA BY'ENTE

Ekirala, nze otulo ewange natugobayo. Ku lufula nkeerawo wakati w’essaawa 10 ne kkumi n’emu nga ntambulira ku boda boda. We zituukira essaawa ekinene ennyo mukaaga mbeera mmalirizza egya wano olwo nga njolekera Naakuwadde. Eno nayo nakolayo akaduuka awo ku siteegi ya ssentebe nga ntunda ebintu ebikozesebwa awaka.

Bwe mba nyinyuka mu lufula ng’enda n’ennyama y’embuzi gye nfumba ekiro ne ngitundirako muwogo omufumbe olw’eggulo awo ku kkubo.

Ennyama eno abantu bagyettanidde era enkoledde kubanga buli lunaku nyinyuka ne 150,000/-.

Ssente zino bwe nzigattagatta ne ze nakoze mu lufula mbeera mpezaaweza abaana ne basobola okusoma nga tebataataaganyizibwa.

 uteteri bwafaanana wano ngasitudde emitwe gyembuzi Muteteri bw'afaanana, wano ng'asitudde emitwe gy'embuzi

 EBINNYAMBYE

  1. Nze sinyooma mirimu. Omulimu gwe nkola ogw’okulongoosa ebyenda n’ebirala osanga abakyala batono ddala abayinza okugukola. Si lwa maanyi wabula olw’okuba bagulaba ng’omulimu gw’obucaafu ogwenyinyaza.
  2. Mpuliriza okuwabulwa n’okubuulirirwa kw’abo abansingako, mu myaka ne mu mirimu. Kino kinnyambye naddala mu kaseera kano ng’omwami yaakafa.
  3. Enkolagana ennungi ne bannange. Banneesiga ne bampa n’emirimu ku banja era nange neekubiriza nensasula ky’ova olaba nga mpangadde nabo.

 OBUZIBU

  1. Abantu abamu bajoozi, bajja nga beefudde bakasitoma kyokka nga babbi. Ogenda n’omuwa ebintu byo naye okukusasula amala kukukubya nduulu ate oluusi bagaanira ddala okusasula.
  2. Oluusi wabeerawo okubbibwa kw’embuzi n’emitwe oba ebigere by’oba waguze. Kino kinkoseza ddala kuba nange oluusi ekintu kye babeera babbye kwemba nsibidde olukoba.
  3. Nneetaaga abazirakisa okunkwata ku mukono nsobole okwongera kapito mu bizinensi yange oboolyawo n’okunnyambako ku fiizi z’abaana bange nabo basobole okufuna ku bulamu obweyagaza mu biseera eby’omu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi