TOP

Obutooki bwe nakolanga okuzannyisa kati mbufunamu ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Nasooka kukola butooki bwa kuzannyisa kyokka ekibululu ekyajja olw'amasannyalaze okuvaako kye kyanzibula amaaso kati nkola ssente.

Kawooya3webuse2 703x422

Kawooya ng'alaga akatooki k'amalirizza okukola nga kaaka.

Bya Paul Kakande

Ronald Kawooya 10, asoma P.4  ku Ivory Primary School e Kateera mu Town Council y’e Bukomero nga mutabani wa Charles Kasule e Kateera y’omu ku balwanyisizza enzikiza mu kitundu kye oluvannyuma lw’okuyiiya obutooki obukozesebwa ng’amasannyalaze gavuddeko ng’era afunyeemu.

Anyumya bwe byatandika:

Okutandika okukola obutaala buno nali mbuzannyisa ne bannange, kyokka olumu amasannyalaze gaavaako okumala ebbanga abantu nga balina kukozesa mafuta.

Amafuta gaggwa ku ssundiro eryaliwo ate ng’abaali bagatunda mu bidomola bagaseera.

 awooya ngagatta waya okwakisa tooki Kawooya ng'agatta waya okwakisa tooki.

 

Nali nkola butooki bwange nga mbuzannyisa ne bannange era ekibululu bwe kyatuuka ne ntandika n'okubukozesa mu kisenge kyaffe kubanga taata yali tayagala tukozese misubbaawa ng’atya okwokya ennyumba.

Taata bwe yalaba nga bwaka bulungi n’andagira nkoleyo n’ak'omu ddiiro era ne nkakola, okuva olwo buli eyajjanga awaka nga kaaka, nga yeebuuza eyakola akataala ako, bwe baamugambanga nti nze ng’ang’amba okumukolerayo.

Maama ne taata bwe baalaba nga bye nkola waliwo ababyagala ne basalawo okumpagira nga bampa bye nali nkozesa ng’amanda ne waya, olwo ne nnonda enkoba n’ebibookisi bye nkozesa okusiba amanda ne ntandika omulimu.

Bye nkozesa

Mu kukola obutaala buno sseetaga bintu bingi, nkozesa ebipapula by’ebibookisi, enkoba, obuti, amanda n’obutaala bwa balubu obuva mu butooki obukaddiye.

Enkoba, ebibookisi n’obuti, mbikozesa mu kusiba amanda ge mbeera ng’enda okukozesa okwakisa balubu.

Nkozesa amanda okuva ku limu okutuuka ku mukaaga. Amanda gye gakoma okubeera amangi n’ebbanga lye kamala nga kaaka okubeera eggwanvu naye ne ssente ze nsaba gye zikoma okulinnya.

 awooya ngalaga amanda gakozesa okwakisa tooki zakola Kawooya ng'alaga amanda g'akozesa okwakisa tooki z'akola

 

Obutaala bwange buwangaala wakati wa wiiki 2 n’omwezi kyokka bwe kaba kaweddemu amaanyi omuntu ampita ne nziramu ne nsumulula amanda ne tuggyamu agayonoonose ate ne nteekamu amalamu oba okugaanikako ate ne tuddamu ne tugakozesa.

 Be nguza  obutaala bwange

Obutaala bwange mbuguza baliraanwa baffe ate naffe awaka tubukozesa bwe wabeerawo obwetaavu.

Kyokka mu kiseera kino omuntu bw’aba ayagala okumukolera akataala ye yeegulira amanda olwo nze ne noonya ebisigadde ne mukolera akataala okuggyako ssinga aba akkiriza ebbeeyi gye naakamuguza nga nze nneenoonyeza amanda.

Obutaala bwe nkola busingira wala obutooki obutundibwa mu maduuka kubanga bwo bukola olunaku lumu ate obubwe busobola n’okusukka omwezi.

 awooya ngalaga obuwanvu bwa waya zasiba ku tooki zakola Kawooya ng'alaga obuwanvu bwa waya z'asiba ku tooki z'akola

 

Ekirala mbusiba wamu ng’omuntu tasobola kwerabira waakatadde kubanga akasibira mu kifo kimu kyokka ne bw’oba oyagala akokutambuza asobola okukakola nga katambuzimbwa.

 Ebbeeyi y’akataala

Akataala kange bwe mba nga buli kimu nze nkyefunidde mba nkatunda wakati wa 2,000/- ne 4,000/-, kyokka bwe kiba nga kaasitoma y’aguze amanda, nze ne nfuna ebikozesebwa ebisigadde kaba wakati wa 1,000/- ne 3000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi