TOP

Ennaku y’obutasoma nagigema na kuyiiya

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2019

Obutasoma nabussa ku bbali ne njiiya bwe nfuna ssente mu mabanda

Tomsajjabiwebusenew 703x422

Sajjabbi ng'alaga ebimu ku bintu by'akola mu mabanda

Bya Stella Naigino

Oluvannyuma lw’ebisale by’essomero okubula byasindiikiriza Tonny Ssajjabi okuyiiya okulaba ng’ayimirizaawo obulamu.

Yatambulanga okulaba ebintu eby’enjawulo abantu bye bakola ng’eno gye yasanga omusajja akola ebintu mu mbawo.

Kino kyamusoomooza naye n’atandiikiriza okugezaako era bwe yalaba nga kisoboka naye okukola ebintu bino, yanoonyereza okusobola okukola ekintu ekituufu.

Ssajjabi yagwa ku Bayindi n’akola nabo era nga yamaliriza ayize okukola ebintu eby’enjawulo ng’ebikopo, essowaani, eby’omu bulago n’ebirala mu mabanda.

Akikola atya

Ssajjabi, agula amabanda n’agakaza nga tannagasalaasala kutandika kukolamu by’ayagala.

 ajjabbi ne byakola mu mabanda Sajjabbi ne by'akola mu mabanda

 

Oluvannyuma lw’okugasala, akozesa ebyuma okuwunda ebyo by’ayagala era olumaliriza ng’atunda.

By’afunyeemu

  1. Yeekozesa ne yeesasula nga kino kyokka kimuwa amaanyi agakola ennyo.
  2. Aguze poloti.
  3. Awadde abavubuka b’akola nabo emirimu.

Ebimuyambye

  1. Okwagala nnyo by’akola.
  2. Okukola ebintu ebisikiriza abaguzi.
  3. Ayiiya okulaba ng’abaguzi be abawa ekipya buli kiseera baleme okumugendako.
  4. Awuliriza bakasitoma bye bamuwabula okutereeza n’okwongera mum aaso okukola era ekimuyambye okubasigaza nga bamuwagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiruddu1 220x290

Ettaka 1 nga liriko ebyapa 2 ku...

Enkaayana z’ettaka lino okulinnya enkandaggo kiddiridde Palamenti okuyisa bbiriyooni 4 zikozesebwe okugula n’okuzimba...

Bizi 220x290

Mukama yaddamu essaala yange n’ampa...

BWE nnali nvubuka, nnawuliranga nnyo abantu nga beekokkola abaagalwa baabwe olw’emize gye babalaga era kyanneeraliikirizanga...

Ssengalogo 220x290

Ndeete omukyala omulala?

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nze nnina 75.

Ow'emyaka 50 abbye omwana n'amusiba...

POLIISI y’e Kasangati ekutte n’eggalira abafumbo oluvannyuma lw’omukazi ow’e myaaka ataano okubba omwana n’amusiba...

Ssande1 220x290

Abazadde basse omwana waabwe ne...

Okukebera mu kisenge, kwe kuzuula omulambo gw’omwana nga yattibwa ne bamuteeka wansi w’omufaliso Ssande ne mukyala...