TOP

Amatendekero aga waggulu gaakwongerwa ensimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2019

Yunivasite zisaba Gavumenti kuzongera ku ssente basobole okwongera okutendeka abayizi mu kuyiiya bafulume nga bajjuvu.

Sam1706webuse 703x422

Minisita Muyingo ng'alambula ebimukubintu abayizi ba yunivasite ez'enjawulo bye bakola

Bya Jaliat Namuwaya

Gavumenti yaakwongera amatendekero aga waggulu ssente naddala mu masomo ag'okunoonyereza.

Bino byayogeddwa minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysastom Muyingo ng’aggalawo omwoleso ogw'omulundi 11 ogw'amatendekero aga waggulu nga gwategekeddwa ekitongole kya National Council for Higher Education ku kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo.

 bayizi nga balambula ebintu ebikolebwa bannaabwe mu yunivasite ezenjawulo Abayizi nga balambula ebintu ebikolebwa bannaabwe mu yunivasite ez'enjawulo

 

Minisita Muyingo ategeezezza nti, eno y'emu ku ngeri ejja okuyamba mu kutumbula omutindo gw'abayizi abafuluma mu yunivasite.

“Nsaba yunivasite zituyambe okulaba nti buli kye bakola, omutindo bakitwala nti kikulu okusobola okutuyamba okumalawo ebizibu byaffe,” minisita Muyingo bw’annyonnyola.

Mu mwoleso guno yunivaiste ezisoba mu 20 zoolesa tekinologiya omupya gwe bakozesa mu kubangula abayizi nga kw’otadde n'ebimu ku byemikono ebyewuunyisa ebikoledwa abayizi. 

Wabula abakulira amatendekero gano balaajanira Gavumenti okubakendeereza ku misolo egibaggyibwako mu kugula ebimu ku byuma bye bakozesa mu kusomesa abayizi.

 muyizi ku ddyo ngaliko byannyonnyola minisita uyingo ku mwoleso Omuyizi (ku ddyo) ng'aliko by'annyonnyola minisita Muyingo ku mwoleso.

 

Fredrick Mbabali Kyazze, amyuuka avunaanyizibwa ku by’ensomesa ku yunivasite ya Ndejje annyonnyola nti waliwo obwetaavu bungi obw’okubakendeereza ku misolo olwo kiyambe mu kwongera okutereeza eby’ensomesa mu ggwanga nga buli luuyi terunyigiriziddwa.

 Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu ekya National Council for Higher Education bategeka omwoleso guno buli mwaka okuyambako abazadde ababeera bagenda okutwala abaana baabwe ku matendekero gano okumanya biki ebikulu ebisomesebwayo  n’okubawabulamu ku masomo omuyizi ge yandibadde yettanira naddala ago ag’ettunzi ku katale.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...