TOP

Kasasiro abasinga gwe beenyinyala ffe mwe tuyoola ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2019

Okuyiiya n'okukozesa ebitwetoolodde mwe tukoze ssente era abaali baseka kati batweyunira okutugulako bye tukola.

Kasumba9wakatinennyinamukydorothydyongabakwasakkasitomaekifaanayikyebamusiigiddewebuse 703x422

Kasumba ne nnyina mukyala Migadde ne kasitoma gwe baali basiigidde ekifaananyi

Bya Hafswa Nankanja

Bangi abalaba kasasiro tebaagala kumwesembereza kuba balaba bucaafu na ndwadde kyokka, wabula nga waliwo ababitunulako ne balaba zaabu attulukuka ng’omubisi gw’enjuki.

Solomon Kasumba, dayirekita wa Dormi Arts abakugu mu kusiiga ebifaananyi e Bulange ku luguudo lwa Sentema agamba nti, mu kasasiro mwayoola zaabu. Annyonnyola bw’akola emirimu gye:

Nsiiga bifaananyi era kati abaali bansekerera ate be basinga okulwanira ebisiige byange era mbibaguza buwanana.

 ukyala igadde ngalaga ebimu ku bisiige bye bakola Mukyala Migadde ng'alaga ebimu ku bisiige bye bakola

 

Kino ky’ekiseera Bannayuganda okuvaamu endowooza y'okutunuulira omulimu gw'okusiiga ebifaananyi ng'ogw'obutaliimu olw'emigaso emingi egigulimu.

Ekisooka, mulimu gwa mu mutwe, noolwekyo, kizibu omuntu yenna okugusoma n'atagufunamu ssente.

Obuyiiya bwo bwe bukweyimirira kubanga eby'okukozesa ebisinga by'ebyo ebitwetoolodde ng'ate n'ebisinga bibeera bya bwereere. Okugeza buli kintu ekisuulibwa mu kasasiro osobola okuddamu okukiyooyoota n'okifunamu ensimbi. 

Ekyokulabirako, obucupa bw'amazzi, obuseke bwa soda oba pulasitiika yenna asuuliddwa omufunamu ssente. 

Kuno gattako ebitiititi eby'enjawulo ne bwe kibeera kyewetaaweta kitya kibeera kirungi kubanga mu mulimu guno tulina enjogera egamba nti, buli nsobi mu kikula ky'ekintu ebeera dizayini.

 mu kummeeza ze bakola Emu kummeeza ze bakola

 

Olaba osobola n'okukung’aanya obugoye obubeera busuuliddwa ku batunga engoye n'ebyalaani ggwe n'obikolamu ekintu ate n'okibaguza bo kennyini.

Omulimu gwa Art kitegeeza kuyiiya. Noolwekyo omuntu k'abeere nga teyamusoma kyokka ng'alina obuyiiya obw'enjawulo mu kusiiga n'okukuba ebifaananyi n'obwagazi asobola okugukola era n'agufunamu.

Emirundi mingi ne bw’oba tolina ssente nnyingi otandika kuba kasasiro n’obuyiiya ye kapito wo asooka.

Ebifaananyi bindi mu musaayi

Omulimu gw'okusiiga n'okukuba ebifaananyi nkitwala nga kitone. Bajjajja abakyala abazaala maama ne taata bombi baali basiizi ba bifaananyi. 

Nakula ndaba bazadde bange nga bakola ebintu eby'enjawulo ebyewuunyisa  era buli we naddanga okwetegereza nga waliwo ebintu ebimpaliriza okusiiga ebifaananyi okugeza ng'ekkalaamu, empapula, langi n'ebirala. Mu kusooka nakikolanga ng'eky'okuzannyisa nga simanyi nti nalinga mu kweteekateeka okw'enjawulo.

Kitange omugenzi Experito Mwebe yali musomesa wa Art ku yunivasite e Makerere era nga mukugu mu kukuba ebifaananyi n’okubisiiga.

 kifaananyi ekisiige bino bitera kulabikira ku butabo Ekifaananyi ekisiige, bino bitera kulabikira ku butabo

 

Olw’obukugu bwe, yakolanga ebintu ebimu ebyalinanga amakulu n’obubaka obwekusifu era bino byamuviirako okutandika okuyiggibwa ng’abamuyigga bamuteebereza okuba nti yali asiga bukyayi mu bantu abamu.

Kyamuwaliriza okuwanganguka ne famire ye okuva mu Uganda ne bagenda e Kenya gye baatuzaalira era bagenda okusalawo okudda mu Uganda mu 2006 nga tufuuse basajja na bakyala bakulu.

Bwe ntuuka mu Uganda, essomo lya Art nasalawo okulitwala mu siniya era naliyita bulungi ku mitendera gyonna.

Natandika okufuna ssente mu bifaananyi nga ndi mu siniya yaakuna.

Nzijukira mu 2009, bwe nali naakatuula S.4 nga nnindirira bivudde mu bigezo, waaliwo abasomesa abaali basiibulwa okuva ku ssomero lino nga batwaliddwa ewalala kyokka ab'obuyinza ku ssomero ne basalawo okubakolerayo eky'enjawulo. Wano we nnayingiriramu. Olw'omutindo gwe nnalina mu bifaananyi bino, bampa mulimu gw'okukuba n'okusiiga ebifaananyi by’abasomesa 10 bye baabawa ng'ebirabo ebyali bibasiibula.

 ukyala iggundu ngalaga ebintu bye bakola mu kikula kyebimera Mukyala Kiggundu ng'alaga ebintu bye bakola mu kikula ky'ebimera

 

Omulimu nagutuukiriza era ne bansasula bulungi ssente ze nnali sisuubira kufuna mu kiseera ekyo.

Kino kyampaliriza okutwala omulimu gw’okusiiga ebifaananyi ng’eky’okukola eky'okunnyimirizaawo. Okuva olwo saddirira, wano we nasalirawo okwegatta ku maama nga mmuyambako ku mirimu egitali gimu gye yali afuna. Mu kiseera kino taata ye yali takyakola nnyo nga tumwebuuzaako ku kibeera kitulemeredde.

Taata bwe yafa nakwatagana ne maama, Dorothy Migadde ne tuwandiisa kkampuni yaffe eya Dormi Arts kuba wadde nga yaliwo naye, mu kiseera ekyo teyali mpandiise.

Ebintu bye tukola

  1. Tusiiga n'okukuba ebifaananyi eby'enjawulo ebiyiiye n'eby’abantu.
  2. Tukola dizayini ez'enjawulo mu miti n'embaawo.
  3. Tukuba ebifaananyi mu bitabo ebikwatagana n'emboozi ezibeera ziwandiikiddwa.
  4. Ebifaananyi bya sitoole ey'amakulu ameekusifu. 
  5. Fuleemu z'ebifaananyi ezirina dizayini.
  6. Okubumba ebifaananyi byonna ebikolebwa mu bbumba.
 asumba nomu ku bakozi nga baliko emmeeza gye bawunda Kasumba n'omu ku bakozi nga baliko emmeeza gye bawunda

 

Obuzibu bwe tusanze

1. Ekisinga okutumalamu amaanyi be bantu abatuwa emirimu kyokka ne balwawo okutusasula. Kino kituzza emabega kubanga ebikozesebwa ebisinga tubeera naffe twetaaga okubisasula mu bwangu.

2. Bannayuganda abasinga omulimu gw'okusiiga ebifaananyi tebagutwala nga kikulu era ky'ova olaba nga n'abamu bwe babeera basoma Art ku yunivasite era bamukola kuyita so si kumwagala ng’omulimu.

3. Abantu abasinga ebifaananyi bino ebisiige bakitwala nga eky'okwejalabya. Balowooza wa buseere, era oli yeekanga talaba nsonga lwaki agula ekintu ng'ekyo.

4. Art atwala obudde bungi ddala era bw'otoba mugumiikiriza weesanga tomazeeko. Okuggyayo ekintu ne kirabika bulungi kikutwalira ebbanga ddene okusinga ku kiri ekyabulijjo. Okugeza, entebe ffe gye tukolera wiiki ate abalala ababaggya ezitali za dizayini batwala lunaku lumu lwokka okugikola.

 asumba ngasiiga butereevu ekifaananyi  kyomukyala Kasumba ng'asiiga butereevu ekifaananyi ky'omukyala

 

 

Ebirungi bye nfunye

  1. Ebintu bya Art bibeera bigumu ddala: ebbanga ly'omala ng'okikola oba okukiyooyoota era lye liraga amaanyi n'obugumu bwakyo.
  2. Binyuma okukola: Buli lw'okola ekintu ne kisiimibwa oddamu amaanyi.
  3. Ekifo kyonna ekitaliimu kintu kya Art,tekinyuma kubeeramu kuba kikooya obulamu.
  4. Art alimu ssente ssinga obeera n'akatale mu bantu abamutegeera ng'Abazungu.
  5. Art awummuza ebirowoozo. Ky'ova olaba ng’omuntu bw'abaako ne by'alowooza, abasinga akwata akakalaamu n'atandika okuwandiika ebintu oba okubisiiga kyokka nga naye tamanyi gy'abiggya.
  6. Tuwadde abavubuka bangi emirimu nga mu bano mwe muli n'abo abakola ebintu eby'enjawulo mu mipiira gy'emmotoka, abakola eby'okwewunda by'abakyala ng'ebikomo n'eby'oku matu.
  7. Nfunye obwesigwa okuva mu bantu ab'ebitiibwa bangi. Okugeza, bannaddiini era nga twetegekera okujjukira olunaku lw’Abajulizi, Ssaabalabirizi omugenzi Livingstone Mpalanyi Nkoyooyo, yatuwa omulimu gw'okusiiga abakulembeze ba Uganda bonna okuva gye twatandikira. Omulimu twagukola bulungi era ebifaananyi ne biteekebwa mu myuziyamu awakuumirwa eby’edda ku kiggwa ky'Abajulizi e Namugongo.    

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...