TOP

Ebimuli bimponyezza amabanja g'obusomesa

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2019

Amabanja agandi mu bulago olw'omusaala gw'obusomesa omutono ngawonye lwa kulima bimuli

Janeninsiimatusingwirengalagaakagandakebimulikatundasente1000webuse 703x422

Ninsiima ng'alaga akaganda k'asiba aka 1,000/-

Bya Hafswa Nankanja

Kituufu enkumbi terimba. Kino kituukira ku Jane Ninsiima Tusingwire ow'e Nanziga mu Wakiso. Ono mulimi wa bimuli ebyeru ebitimbibwa ku mikolo eby'ekika ekiyitibwa Mams. Alaga bwe yayingira obulimi bw’ebimuli ne by’afunye:

Nali musomesa wa pulayimale e Kireka ng’omusaala mutono era ng’amabanja ge gansingako obungi.

Kino kyampaliriza okunoonya ekintu ekirala kye nsobola okugatta ku mulimu gwe nasomerera abaana bange basobole nabo okweyagalako. Nga nkyakubaganya ebirowoozo ku bizinensi ki endala gye nteekeddwa okukola Katonda laba bw'andeetera muliraanwa waffe. Twalina amazzi awaka omwami ono n'ajja ng'atusabako kuba yalina ennimiro era n’atugamba ajja kutusasuliranga bbiiru y'amazzi buli mwezi. Namuwakanya nga ndowooza nti ayagala kutubba kyokka n'atukakasa nga bw'alina ebintu by'akola ebivaamu ssente oluvannyuma lw'ekiseera.

 insiima nabamu ku bammemba bekibiina kye nga basala ebimuli bya ams bye balima Ninsiima n'abamu ku bammemba b'ekibiina kye nga basala ebimuli bya Mams bye balima

 

Yang’amba nti, bwemba nfunye obudde ng’ende mukyalireko andage by'akola.

Nasitukiramu okugenda okulaba w’anaafuna ssente zaffe ez'amazzi era natuuka mu kifo we yantwala nga kyonna kitemagana olw’ebimuli ebyeru (mams).

Yang’amba nti, nange nali nsobola okubirima kuba ku ssomero navangayo ku ssaawa kkumi, nga essaawa ebbiri olw'eggulo nsobola okuzikolamu omulimu guno. Amagezi ge yampa nagatwala era ne ntandika bizinensi y’ebimuli mu 2005.

Muliraanwa ono ye yampa ku ttaka lye akatundu akaakola ng'entandikwa era wano we ntandikira bizinensi y'okutimba ku mikolo ng'oluusi ebimuli nze mbyerimidde.

Baze bwe yalaba ng'ebintu bitambula bulungi n'ang’amba tunoonye ettaka era kati nnimira bugazi bwa yiika ssatu e Nanziga, Maya - Wakiso.

Ekika ky’ebimuli ebifuna

Wano mu Uganda ebimuli ebisinga okutambula bye bya Rose kyokka bino bitawaanya ate ng’okubisimba oteekeddwa okuba ne ssente ez'okubirabirira kuba biriko emisoso mingi ddala egiyinza okufiiriza omulimi.

Noolwekyo bw'oba mufunampola, waliwo ebika ebirala ebikukolera ng'ekika kya Mams nze kye nnima.

Mams kimu ku bika by'ebimuli ebitagwa bbeeyi era nabyo akatale birina akataggwaawo. Bino bijjira mu langi ez'enjawulo okugeza emmyuufu, kiragala, kyenvu, kakobe n'enjeru. Kyokka langi enjeru y'esinga okutambula era nze gye nnima kuba omuntu bw'agigula asobola okugigatta mu bimuli bya rose ne bimukolera ekintu eky'enjawulo nga kirungi. Ebimuli bino bikulira mu myezi ebiri n’ekitundu gyokka.

bimuli bya ams bibeera ne sizoni nnya mu mwaka ngobirabiridde bulungiEbimuli bya Mams bibeera ne sizoni nnya mu mwaka ng'obirabiridde bulungi

 

Bookisi y'ebimuli bino eri wakati wa 70,000/- ne 100,000/-. Bokisi eno ebeeramu obusaketi 30 nga buli kamu kalimu obumuli 50, kitegeeza nti bookisi ebaamu obumuli 1,500. Buli bookisi bw’eba tesaze nsobola okugiggyamu wakati wa 200,000/- ne 250,000/-.

Kino kibeerawo buli luvannyuma lw'emyezi ebiri, Kyokka jjukira nti ennimiro ennamba eya yiika emu esimbibwa ebbookisi 10. Kino kitegeeza nti, bw'osimba ebbookisi 10 nga buli emu ogifunako emitwalo 25, ku myezi ebiri kitundu obeera ofunye 2,500,000/-.

Kyokka, buli bookisi ngimalirako 150,000/- ez'abakozi, okufuuyira, ebigimusa n'ebigwabitalaze. Zino bw’ozikubisa mu bookisi 10 obeera ofunako amagoba ga 1,000,000/- ku yiika emu.

Ekikulu kye tusinga okufuna ku bimuli kiri nti, bw'osimba osala ne biroka, era osinga kufuna ku luutu yaakubiri kubanga ky'osazeeko bwe kiroka kiddako nga kingi era ebbookisi osobola okugiggyamu emitwalo 30.

Bw'otobigayaalirira osobola okubikungulamu enfunda nga nnya mu mwaka gumu kuba mu mwaka tulinamu sizoni nnya. Buli sizoni bw'oba ofuna kakadde, mu sizoni nnya ofuna obukadde buna mu yiika emu.

Ssente zino nalaba nga nnyingi ku ze nali nfuna mu busomesa ate oluusi nga zabanga  za kubanja.

Ensimba y'ebimuli eby’ekika kya Mams

  1. Ennimiro: Ennimiro terina kya njawulo ky'ogikolako okuggyako okutema obukata obutonotono ng'obwa lumonde. Buno buyamba okuziyiza amazzi okukulukuta okuva mu nnimiro yo kuba ebimuli bigeetaaga. Oluvannyuma obulimiro bwo obuseeteeza bulungi ettaka ne liba nga terisigaddeemu mpulunguse.
  2. Ensigo ozisimba mu kifo we wategese obulungi ng'obaze obuwanvu bwa ffuuti 3 ku ffuuti 10 obugazi.
  3. Okubikka. Bw'omala ofuna essubi oba obutimba n'obubikka okulaba ng'omusana tegubyokya.
  4. Okufuuyira. Okola bbeedi nga ey’ennyaanya mwe bimala wiiki bbiri n’obibikkula. Wabula obireka wano n’ofuuyirako ebigimusa.

Ku wiiki eyookusatu oteekako kalimbwe w'enkoko okugimusa ekimuli kikuwe ekimuli ekirungi.

Bw'omaliriza ofuna eddagala ly'ebiwuka erya bulijjo lye bakozesa ku nyaanya, emboga butunda n'ebirala.

Enkuba bw'etonnya, olina okukozesa eddagala ery'obuwunga n'ery'amazzi okusobola okutta akawuka akatawaanya ebimuli.

Eddagala olina okulifuuyira buli wiiki okutuusa ku myezi ebiri n'ekitundu.

 bimuli bya ams nga bwe bifaanana Ebimuli bya Mams nga bwe bifaanana

 

Akatale:

Mbitunza ab'amaduuka amanene, abantu ssekinnoomu abaagala okubitonera mikwano gyabwe, abagenda okuziika, abatimba ku mikolo n'abalala.

Okusoomoozebwa

1. Bizinensi eno si nzibu ng'endala okuggyako waliwo sizoni lw’ebeera embi ebimuli ne bidiba naddala mu kiseera ky'ekisiibo ky'Abakatoliki.

2. Obulwadde: Edda ebimuli tebyalwalanga kyokka kati waliwo obulwadde obujja ne butusumbuwa.

3. Omusana omungi gubitta: oteekeddwa okufukirira ennyo ebimuli obutakala.

4. Ababbi abatubba mu katale: Oluusi abantu batusaba ebimuli ku bbanja ate ne batatusasula.

Ebirungi:

  • Nsobodde okuweerera abaana bange mu masomero amalungi.
  • Nneezimbye
  • Nsomesezza abakyala bangi ku kyalo era tulina ekibiina kye twegattiramu ekiyitibwa Seamaulundongo mwe mbayigiririza omulimu guno. Bangi bagufunyeemu kuba buli luvannyuma lwa mwaka buli mmemba agabana ebbaasa ya ssente ezitakka wansi wa 200,000/- ez'ekibiina kyokka nga balina n'ebyabwe bye beerimira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...