TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Kasasiro tumukolamu ebigimusa n'okutunda ebicupa ne twongereza ku musaala

Kasasiro tumukolamu ebigimusa n'okutunda ebicupa ne twongereza ku musaala

By Vivien Nakitende

Added 18th April 2019

Ekibiina kya bakawenja kituyambye okwegobako obwavu nga tutunda kasasiro n'okukola amanda.

Kabamazimabugagga14webuse 703x422

Abakyala b'ekibiina kya Amazima Bugagga Development Association nga bakung'aanya ebicupa.

 

Bya Vivien Nakitende

Bannayuganda bangi bakaaba obwavu kyokka nga beetooloddwa zaabu wa kasasiro gwe bamalirako ssente nga bamugula mumaduuka kuba oluggyamu bye baagalamu ng abakasuka awatalikulowooza nti basuula ssente.

Baabano abakyala abeegattira mu kibiina kya Amazima Bugagga Development Association abasangibwa mu Ndeeba, abafunye ssente mu kasasiro.

 ano nga bapima obuzito bwobucupa bwe bagula ku bantu abalala Wano nga bapima obuzito bw'obucupa bwe bagula ku bantu abalala.

 

Joyce Nabalamba, ssentebe w’ekibiina kino agamba nti: Tukung’aanya ebicupa bya pulasitiiki n’obuveera byonna okuva mu bantu ne tubiguza kkampuni ennene, ate era tubigula ku bantu ssekinnoomu ababikung’aanya ne babituleetera wano.

Erinnya lyaffe eppaatiike tweyita ba ‘Kawenja’ kuba tuwenja kasasiro mu buli kasonda okwefuniramu ensimbi.

Twasooka kubeera kibiina kya bakyala nga twekung’aanya ne tutereka ssente ne tumala ne tugabana buli luvannyuma lwa wiiki omu n’afuna, ate wiiki endala omulala n’afuna. Nkola mu kitongole kya KCCA nga njera nguudo, naye waliwo omuvubuka eyampa amagezi okulonda ebicupa mbitunde nange ne ngawuliriza.

 memba wekibiina ngatwala obucupa obuwedde okutegeka we babutereka Mmemba w'ekibiina ng'atwala obucupa obuwedde okutegeka we babutereka

 

Natandika okulondanga ebicupa ebyo gye nayeranga enguudo e Mengo ku luguudo lwa Ham Road, nga nyinyuka n’ebikutiya ebijjudde.

Nafuna ekisenge ku nnyumba yange nga mwe ntereka ebicupa bino, bwe biwera ne mbitunda mu Kisenyi e Kampala.

Mu 2015, waliwo mukwano gwange akola ku munisipaali e Lubaga yantegeeza nga kkampuni emu bwe yali egenda okukola pulojekiti y’okukung’aanya ebicupa ng’ebyetaaga mu bungi n’ang’amba nfune abantu ababironda tukole ssente.

Nategeezaako bammemba bannange mu kibiina kyaffe ne tukkiriziganya nti ebicupa tujja kubirondanga n’okubigula.

 bicupa bingi biyiibwa mumyala ne bigizibikira kyokka nga birimu ssente Ebicupa bingi biyiibwa mumyala ne bigizibikira kyokka nga birimu ssente

 

Twatandika okubikung’aanya, bwe byawera ttani 4, twakubira KCCA n’ejja n’ebitwala mu kkampuni ebigula gye bakolagana nayo. 

Emikolo we gibeera ffe we tukeera ne tuyonja ne twetwalira zaabu waffe owa kasasiro.

Kasasiro wa nnakavundira  tumukolamu amanda agafumba ne twongeza ku nnyingiza yaffe, kati tetukyakaaba bwavu.

Buli kkiro y’ebicupa tugigula 200/- ku babireeta, obuveera kkiro ya 100/- ate aba kkampuni batusasulamu 400/- buli kkiro.

Tuli bammemba 30, kasasiro bwe tumala okumukung’aanya ate tumusosola ne tumutegeka bulungi Coca Cola n’emunona okumutwala nga mwawule.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo