TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Ebbeeyi y'ebyennyanja okukka esanyusizza abasuubuzi mu katale e Mukono

Ebbeeyi y'ebyennyanja okukka esanyusizza abasuubuzi mu katale e Mukono

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

Abasuubuzi b'ebyennyanja basanyufu olwa bbeeyi yaabyo okukka bakasitoma ne beeyongera.

Abamukubakolamubyenyanjangabasalaempuutaokuziguzaabazisiikakumakuboezifuuseezettunziwebuse 703x422

Abasuubuzi nga balongoosa empuuta ze baguze

Bya Joanita Nakatte

Abasuubuzi b’ebyennyanja mu katale ka Kame (mu kikko) e Mukono basanyufu olwa bbeeyi y’empuuta okukka.

Nga bakulembeddwa kkansala waabwe, Alex Kivumbi, baategeezezza Bukedde ng’embeera bw’ezze etereeramu okusinga bw’ebadde emabega mu bbanga lya myezi nga munaana era nga kati ebyennyanja omuli n’empuuta mu katale kano  bigulwa ku bitundu 70 ku 100.

 mpuuta ezitundibwa bwe zenkana Empuuta ezitundibwa bwe zenkana

 

Kivumbi yannyonnyodde ng’ensonga y’ebbeeyi y’ebyennyanja bwe yasinga okukosa abavubi ababiguza aba fakitole olw’obungi bwe byaliko wabula ng’ate si bwe gwali eri bo olw’ensonga nti n’abaali batabirya olw’ebbeeyi yaabyo, baatandika okubyettanira oluvannyuma lw’okubiteeka ku bbeeyi esikiriza.

"Gye buvuddeko tubadde tukaluubirirwa era nga tufiirwa bakasitoma olw’ebbeeyi okubaddusa ku midaala gyaffe. Okuva empuuta lwe yakka ebbeeyi kizibu okusigaza ebyennyanja naddala empuuta ku midaala kubanga babitwala mu bungi era mu wiiki weesanga osuubudde emirundi egitakka wansi w’etaano," Kivumbi bwe yagambye.

musuubuzi ngasalaasala ebifi byempuuta bakasitoma bye bagula mu kataleOmusuubuzi ng'asalaasala ebifi by'empuuta bakasitoma bye bagula mu katale

 

Yagambye nti, newankubadde guli gutyo bafunye okusoomoozebwa nga bo abasuubuzi omuli emmotoka z’ebyennyanja byabwe okubafiirako mu kkubo nga babireeta mu butale olw’amakubo amabi gye babitambuliza ekivaako okwonooneka, nga n’emiwendo gy’emisolo egibasoloozebwamu miyitirivu olwo ne beesanga ng’amagoba agandibayambye okwebeezaawo ate bagazzizza eri gavumenti.

"Tusaba gavumenti etuukirize bye yatusuubiza naddala ku nsonga z’okutukolera amakubo mu bifo eby’enjawulo gye tuggya ebyennyanja byaffe.

Twagala erongoose ne mu mbeera y’abavubi gye bakoleramu kubanga bwe banyigirizibwa naffe mu ngeri emu oba endala tukosebwa.

 ivumbi ngalaga empuuta nengege bye batunda Kivumbi ng'alaga empuuta n'engege bye batunda

 

Twagala ekendeeze ku miwendo gy’amaato n’obutimba bwe tukozesa ebiri ku buseere era twetaaga okuyambibwa okulaba nga tutereeza omulimu gwaffe naffe tugufunemu ng’abalala tusobole okweggya mu bwavu," Kivumbi bwe yagambye.

Yawanjagidde munisipaali y’e Mukono okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa abagabirizi b’obuyambi abaabazimbira ekizimbe mwe baddukanyiza emirimu gyabwe, obw’okukirabirira n’okukiddaabiriza nga babateeramu byonna ebyetaagisa omuli firiigi n’ebintu ebirala ebinaabasobozesa okulongoosa mu mbeera gye bakoleramu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.

Buku1 220x290

Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa...

FIFA olwamaze okumukaliga emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira, Moses Magogo, abadde pulezindeti wa FUFA, yasibidde...

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...