TOP

Ayagala okweggya mu bwavu weekwate Yiiya Ssente mu Bukedde

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

Ayagala okwekulaakulanya weekwate emiko gya Yiiya Ssente mu Bukedde buli Lwakusatu weegobeko obwavu.

Dscn2224websue 703x422

Esther Baroma ng'alaga amawulire ga Bukedde omuli emiko gye Yiiya Ssente egijjudde amagezi ag'okukola ssente.

Bya Madinah Sebyala

Akulira eby'obusuubuzi ku disitulikiti y'e Mukono, Keneth Ntege akubiriza abantu abaagala okulinnyisa eddaala mu byenfuna beekwate BUKEDDE kubanga mulimu emboozi eziyigiriza obusuubuzi.

Agambye nti, ye BUKEDDE naddala ow’oku Lwokusatu afulumya emiko gya YIIYA SSENTE mulimu bingi omuntu ayagala okutandika bizinensi naddala ez'obwegassi by’ayigirako Kuno bagattako ‘Ensi Kuyiiya’ eya Micheal Mukasa Ssebowa ne Yiga Enkwata ya Ssente nga ssinga weekwata BUKEDDE toyinza kulekebwa mabega mu byensimbi. 

 Akulira ebyobusuubuzi ku disitulikiti, Keneth Ntege ne Baroma ng'aliko byatangaaza 

Yabadde mu musomo oguyigiriza abakyala obwegassi ku kitebe kya Disitulikiti y’e Mukono gye yayitiddwa  ekibiina kya Mukono Women Forum SACCO. 

Mu kusomesa yakubirizza abakyala okukendeeza ku budde bwe bamala nga tebayingiza era n'abakubiriza n’okukuuma ebitabo mu bizinensi ze bakola.

Easter Baroma, akulira  olukiiko olufuga abakyala mu disitulikiti y'e Mukono era nga y'omu ku bataddewo kaweefube okulaba nti abakyala bagoba obwavu mu maka nga bayita mu kibiina kyabwe kino yakubirizza abakyala okutandikawo bizinensi beewole nga bwe batereka ate bafube okuyamba ku baami baabwe nga kye kinaamalawo n’obutabanguko mu maka.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera