TOP

Abakyala mwongere okwekkiririzaamu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2019

Muyige okwekkiririzaamu lwe munaamala obwavu mu maka n'obutabanguko mu bafumbo

Ssentebewadisitulikitiyemukonoandrewssenyonganemukyeasterbaromamumusomoogwabaddekukitebekyadisitulikitingagukubirizabakyalabwegassi1webuse 703x422

Ssentebe wa disitulikiti w'e Mukono, Andrew Ssennyonga ng'annyonnyola abakyala ku nsonga y'okwekkiririzaamu bwe babeera baakwegobako obwavu

Bya Madinah Sebyala  

Ssentebe wa disitulikiti y'e Mukono Andrew Ssenyonga akubirizza abakyala okwongera okwekkiririzaamu batandikewo emirimu egisobola okugoba omwavu mu maka gaabwe. 

Yagambye nti, okwekkiririzaamu n'okwematira ku ky’ogenda okukola kyongera obumalirivu olwo n'osobola okuvvuunuka obuzibu obuyinza okusangibwa mu nkulaakulana 

 sentebe  ngayogera eri abakyala abeetabye mu lukungaana Ssentebe Ssennyonga ng'ayogera eri abakyala abeetabye mu lukung'aana

 

Yabadde ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono ng’ayogera eri abakyala mu musomo gw’obwegassi ogwabadde gutegekeddwa mukyala Esther Baroma akulira obukiiko bw’abakyala obufuga disitulikiti y'e Mukono nga beetegekera ekibiina ky’obwegassi kye batandiseewo ekya Mukono Women Forum SACCO.

Baroma yakunze buli mukyala okwebeereramu ng’atereka n'okwewola basobole nabo okubeera ne ssente bayambe ku basajja mu bizibu by’amaka gaabwe ekinaayamba okuggyawo obutabanguko mu maka. 

Yagambye nti, ssinga abakyala bajjumbidde ekibiina kino, omwaka guno we gunaggwerako nga bawezezza ssente ezisoba mu kawumbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi

Kayihura1 220x290

'Eby'okutta Kaweesi byandeetera...

GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n’ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi,...