TOP

Mwesigwa okutunga engatto kumuliisa nga muloodi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

Bagamba ensi kuyiiya naye Asaph Mwesigwa ayiiyizza okutuusa lw'atuuse ku lyengedde.

Mwesigwa1 703x422

Mwesigwa ng'atunga engatto. EBIFAANANYI BYA STELLA NAIGINO

Bya Stella Naigino

Bagamba ensi kuyiiya naye Asaph Mwesigwa ayiiyizza okutuusa lw'atuuse ku lyengedde.

Ono nga mutuuze w'e Seeta mu disitulikiti y'e Mukono teyasoma kugenda wala era obulamu bwamukaluubiriza nnyo muntandikwa, nga n'eky'okulya kyamagero gy'ali.

Agamba yayingira ekibuga siringi omutwalo gumu (10,000/=) era nga muno yagulamu ewuzi ezitunga engatto n'ensawo olwo n'ayitayita mu bantu ng'abuuza abo abaagala okubatungira engatto n'ensawo.

" Nafunanga bakasitoma era ng'obusente bwenfuna ngndyako ekyemisana endala ne nzitereka nsobole okusonda kapito.

 

Oluvanyuma lw'emyaka esatu nnali maze okukung'aanya emitwalo 30kwe naggya ze mpangisaamu ekifo kati wenkolera ng'omwezi nsasulawo emitwalo 5

Okuva lwe nnafuna wentuula obulamu bwangondera n'okukyuka ne bukyuka kuba kati eyo ye ofiisi yange , anjagala ansanga awo n'ampa eky'okukola.

Kati eyatandiika n'akatono, nfuna kinene era abanvumanga obutaasoma kati mbasekerera kubanga ssente zenfuna tebazifuna

Ebiyambye Mwesigwa okuwangula

  • Kye sisobola kukola sikyerijjako
  • Njogera bulungi ne bakasitoma bange n'okubeebuuzaako ku ki kye baba baagala mbakolere.
  • Njolesa obukkakkamu nga nkola omulimu gwange

Mwesigwa agamba nti yadde nga yatandiikira mu kutunga nsawo za bakasitoma, eziyurise, kati akola n'engatto ezenjawulo naye akyakola kiri kyeyatandikira ko, kubanga kye kyavamu kapito.

 

Ayongerako nti taseera nnyo bakasitoma be era agezaako okunoonyereza akole ekintu ekiri ku mulembe.

Okusomoozebwa

Mwesigwa agamba nti bbeeyi y'ebintu yeeyongera buli kaseera era nga kino kimukakatako naye okukola ebintu ebyenjawulo olwo n'ayongera mu kasente, kasitoma baleme kudduka.

Agamba nti bakasitoma nabo olumu bamutawaanya nga baleta ebintu byabwe okubitunga naye ne batabikima mu budde so nga baba tebasasude, kino kisiba kapito. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...