TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Obwavu obwannuma bwansindika okuyiga okubajja mwe nfunye essanyu

Obwavu obwannuma bwansindika okuyiga okubajja mwe nfunye essanyu

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2019

Hillary Mubiru obwavu abugobye ayita mu kubajja butanda bw'abaana.

Bed12webuse 703x422

Mubiru ng'amaliriza akatanda k'omwana

Bya Stella Naigino

Hillary Mubiru, omutuuze w’e Seeta teyalina mulimu era nga buli lw’alaba abakola ebintu mu mbaawo yeegomba naye abeereko ne ky’akola yeggye mu bwavu.

Lumu yatuukirira omubazzi w’ebitanda n’amusaba okumuyigiriza era n’akkiriza okumusomesa okumala emyezi mukaaga. Gino bwe gyaggwaako, Mubiru yali akuguse mu kubajja ebitanda.

Wadde nga yali ayize, Mubiru yasalawo okusigala ng’akola okusobola okufuna kapito amusobozesa okuteekawo ebibye era yakolera omwaka mulamba nga bw’atereka ssente. Bwe zaawera, yeetongola era kati yeekozesa.

 kamu ku butanda bwabaana ubiru bwakola Akamu ku butanda bw'abaana Mubiru bw'akola

 

Entandikwa

Bwe nalaba nga ssente ze nali njagala okuweza nzifunye, nasiibula mukama wange era ne mugamba nti ky’ekisera nange nneekozese.

Yampabula era n’ansiibula bulungi, nga kino kyampa amaanyi agakola nga nakati mmwenyumirizaamu.

Nanoonya ekifo e Seeta kye nasasulira 100,000/-, buli mwezi ne ntandika okukola.

Natandika n’ebintu bitonotono era nagenda nnyongerako mpolampola nga bwe njiga ebintu bakasitoma bye basinga okwagala.

Nakizuula nti, bakasitoma baagala ebintu by’abaana ate nga birabika bulungi bwentyo ne nsalawo okukola obutanda bw’abaana.

Emitendera gy’okubajja obutanda

  1. Nkuba ekifaananyi ky’akatanda ke ng’enda okukola ne nkuba ne pulaani y’okukolamu ekyo kye nkubye.
  2.  Ntegeka ebintu bye mbeera ng’enda okukozesa nga; embaawo, emisumaali, obusala embawo, langi n’ebirala olwo nga ntandika.
 ubiru ngalaga akamu ku katanda aka deeka  Mubiru ng'alaga akamu ku katanda aka deeka

 

Ebinkuumidde mu bubazzi

  1.  Obubazzi abumazeemu emyaka ebiri ng’ekimu ku binnyambye kwe kumanya bakasitoma kye baagala.

Nakolanga ebitanda ebinene, n’eby’abaana naye nakizula nti eby’abaana bitambula ne nsalawo okukola ebyo.

  1.  Ngezaako okuyiiya dizayini ennungi okusikiriza bakasitoma, era abasinga bajja ne bagula era ne baleeta n’abalala.
  2.  Okwogera obulungi ne bakasitoma nakyo kinnyambye era kino kimpangaazizza nabo. Mbabuulira amazima era bwemba siisobole kukola muntu ky’ang’amba, mmubuulira ekituufu.
 butanda obulala obwabaana ubiru bwamalirizza okubajja Obutanda obulala obw'abaana Mubiru bw'amalirizza okubajja

 

Bye nfunyeemu

  • Obulamu kati bwakyuka era nsobola okwebeezaawo ne bato bange ne mbaweerera.
  • Nga bwe nayambibwa ne njigirizibwa nange nnina be njigiriza era nga nabo nsuubira bwe banaayiga bajja kusobola okweyamba.

Okusoomoozebwa

Bbeeyi y’ebintu erinnya buli kaseera kikosa engeri gye ntundamu ebintu byange.

Ekirala bakasitoma olumu bakozesa ebintu ne balwawo okusasula nga kino kisiba ssente okumala ebbanga n’ofiirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo

Nyiga 220x290

Ente 2,000 ze zifa buli mwaka mu...

ABALUNZI mu bintu by’e Ngoma bakubidde gavumenti omulanga okubayamba ku kusoomoozebwa kw’amazzi okubakosa ennyo...

Yabuze3679 220x290

Owa Mobile Money eyabula yeeraliikirizza...

ABAZADDE beeraliikirivu olwa muwala waabwe awezezze kati wiiki nnamba ng’abuze okuva ewaka naddala.