TOP

Olunaku nfuna 30,000/- mu kusiika capati

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2019

Emirimu gye nasooka okunyooma kati mwe nfuna ssente ezimbeezaawo

Bssenyongangasiikaloolekisiwebuse 703x422

Ssenyonga ng'asiika eggi ly'okukola loolekisi

Bya Hafswa Nankanja

Abantu bangi naddala abavubuka basiiba mu zzaala, n’emizannyo gy’okwegayaaza emirala mingi, kyokka ekyewuunyisa tebalina mirimu mirambulukufu mwe baggya ze bamussaamu n’ekiddirira kubeera kukemebwa era bangi bakwatibwa mu bumenyi bw’amateeka oba okudda mu kusabiriza bannaabwe abalinawo.

Jovius Kado Ssennyonga, asiika capati ku siteegi e Namagoma ku luguudo lw’e Masaka, omu ku bavubuka abaasalawo okwerwanako n’ava mu bwa kireereese.

Anyumya bw’ati: Ebbanga erigenda mu mwaka omulamba lye namala nga sirina mulimu lyammala okuyiga nti kibi okulera engalo kubanga okwetuusaako ebyetaagisa kikubeerera kizibu ddala.

Ssenyonga annyonnyola bw’ati; Ekirooto kyange kyali kyawukanira wala n’okusiika capati. Nasomanga nduubirira kubeera wa byamazzi (Plumber) kubanga bye nnali nsoma mu kiseera ekyo nga binsobozesa bulungi okutuuka ku kirooto kyange.

Ebyembi nga binajja, laba ate bazadde bange bwe bafuna obuzibu bwa ssente mu 2016 nga naakatuula ebigezo byange ebya S.4. Ebigezo byakomawo nga mbiyise bulungi kyokka nga  fiizi ezinnyongerayo tewali.

Nayagala noonye omulimu ogw’amangu waakiri nkung’aanye ku ssente ng’ende nsome kkoosi mu ttendekero ly’ebyemikono lyonna. Emyezi gyagenderera ng’emirimu tegirabika okutuusa Katonda lwe yaleeta mukwano gwange eyali yeetaaga omuntu ow’okumuyambako okutunda eyatayimu ne mobayiro mmane. 

Ono yateekawo akayumba akakola eby’okutambuza ssente n’ampa omulimu gw’okumukolera. Twateesa ng’ensasula yange eva ku magoba ge nnaafunanga ku mukutu ogumu oluvannyuma lwa buli lwezi. Omwezi we gwaggwerangako nga ndi mu ssente eziri wakati w’emitwalo 15 ne 28.

Ebyembi wano saakolerawo bbanga ddene. Nali naakatambuzaako emyezi ng’esatu ebintu ne bimbijjira. Lumu mbeera mbala ebitabo ne nneesanga nga ssente ezisoba mu mitwalo 60 tezirabikako mayitire.

Mu kuteebereza kirabika bakasitoma nabawanga ssente nnyingi kw’ezo ze baasabanga oba nga baazinnyagako mu lukujjukujju engeri gye nnali omupya mu nkola eno.

Nga nsobeddwa eky’okukola nasalawo okweroopa ewa mukama wange nga ye tannaba kukyezuulira era wano omulimu we gwakoma. Olw’obuswavu obwali buntuuseeko, nze kennyini neesabira okuwummula nga sikyasobola kutunula mukwano gwange mu maaso oluvannyuma lw’okubuza ssente ze ennyingi bwezityo.

Bwekityo ekirooto kyange eky’okusoma kkoosi ne kifa olwa ssente obutawera.

Omwezi gwayita gumu gwokka nga nvudde ku mulimu ne ntandika okusiiwuuka olw’embeera y’obwavu.

 senyonga ngakuba capati Ssenyonga ng'akuba capati

 

Nagenda ewa muganda wange eyali asiika capati ne munnyonnyola embeera gye nnali mpitamu. Yansomesa kalonda yenna akwatagana n’okusiika capati n’oluvannyuma n’ankwasa omuntu eyannyamba mu bya ssente. Banfunira emitwalo 40 ze nagulako ebikozesebwa okuli essigiri, emmeeza, manvuuli, eng’ano, butto, ebijanjaalo n’amagi olwo ne ntandika okukola.

Natandiikiriza mpola kyokka kati olunaku nsobola okukuba pakiti z’eng’ano ezitakka wansi wa 9 nga buli pakiti evaamu capati 40. Olunaku nfuna amagoba agali wakati wa 5,000/- ne 7,000/- ku buli pakiti. Kino kitegeeza nti, olunaku mbeera mu 30,000/- n’omusobyo. Omwezi ekifo nkisasulira 30,000/- awo ne nfissa ku ssente ezeegasa.

Nneebaza Katonda nti, omwaka ogumu gwe mmaze mu mulimu guno ngufunyemu. Kati nneesuza kuba mpangisa enju eyange erimu buli muvubuka atandika kye yeegomba okuba nakyo.

Omwaka guno ndi mu kaweefube wa kusonda nange nneegulire ku poloti mpone obupangisa.

Okusoomoozebwa

  1.  Ebikozesebwa birinnya buli kadde ate bakasitoma tosobola kubagamba nti wabongezza ssente za capati.
  2.  Endya mu kifo kino si nnungi kubanga olumu obeera wabaze kirala ate n’ofuna kirala ekikufiiriza ku kibalo ky’oba wakoze eky’okuterekako ez’okwekulaakulanya.

Abavubuka mbawa amagezi bave mu lugambo n’okuzannya zzaala, obudde bwe bamala mu beetingi babukozese mu bintu eby’amakulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yabuze3679 220x290

Owa Mobile Money eyabula yeeraliikirizza...

ABAZADDE beeraliikirivu olwa muwala waabwe awezezze kati wiiki nnamba ng’abuze okuva ewaka naddala.

Standerdcharteredbankedduukiriddennaabagereka1webuse 220x290

Disitulikiti y'e Mubende y'esingamu...

Nnaabagereka Sylvia Nagginda avuddeyo okudduukirira abaana abazaala nga tebanneetuuka basobole okwanguyirwa ku...

Wamma 220x290

Abataka balabudde omusika okukomya...

ABATAKA n’emikwano gy’omugenzi Sekyene e Kanyanya batudde ne balabula omusika we okuyimiriza mbagirawo ekigendererwa...

Tujja 220x290

Omwoleso gw’ebyobulimi n’obulunzi...

OMWOLESO gw’ebyobulimi n’obulunzi gugenda mu maaso ku lubalama lw’omugga Kiyira mu munisipaali y’e Jinja.

Omubaka wa Palamenti aleppuka na...

ERNEST Kiiza Apuuli omubaka wa Masindi mu Palamenti, attunka n’omusango gw’ebbanja lya kkampuni ya R.L Jain Ltd...