Bya Madinah Sebyala
Omumyuka wa Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Disitulikiti y’e Mukono, Hajji Haruna Ssemakula eyeesowoddeyo okuvuganya ku kifo kya Ssentebe wa NRM akunze abakyala obutawa baami baabwe ku mukwano ssinga tebawagira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kubanga yabaggya emmanju nga balina kumwebaza nga bamwongedde kisanja.
Ssemakula yagambye nti, kibeera kya bulyazaamaanyi abakyala obutawagira Pulezidenti Museveni abatadde ku mwanjo.
“Abakyala bwe muzuula abaami bammwe nga tebawagira Pulezidenti Museveni, ‘apana kombya’, kuba mmwe bannakazadde b’eggwanga ng’olutalo bwe lujja mmwe musinga okukosebwa,” Hajji Ssemakula bwe yabafalaasidde.

Yabadde ku wooteeri ya Alvers e Wantoni ku Mmande bwe yabadde asisinkanye obukiiko bw’abakyala ku mitendera egy’enjawulo okuva ku byalo okutuuka waggulu nga baakulembeddwa Hajjati Farida Kibowa akulira akakiiko ka National Women Council abaasisinkanye okukkaanya bye bagenda okusaba Pulezidenti okubakolera bw’anaaba akyadde e Mukono.
Hajjati Kibowa ne Sarah Kasadha, akulira akakiika k’abakyala ba NRM mu Disitulikiti y’e Mukono bagamba nti baagala Pulezidenti ebibiina byonna eby’abakyala bifune ku ssente za Women Entrepreneur Programme ezitaliiko magoba.
Bagasseeko nti, mu kusooka ssente zino okuzifuna babadde balina okubeera abantu 15 nga bali mu bibiina kyokka kati n’abantu 5 basobola okuzifuna kyokka ne bagamba nti, baagala Pulezidenti akyuse mu tteeka ng’omuntu omu asobola okuzifuna.