TOP

Gwe ayagala okulekulila omulimu, sooka kukuba pulaani

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 703x422

Abakozi mu saluuni ya Muhindo

Bya Stella Naigino  

Ebiseera ebisinga abantu abakozesebwa bwe bakoowa okukola abamu balekulira emirimu gyabwe nga tebalina pulaani ya mulimu mulala.

Bano ebiseera ebisinga batuula akabanga katono embeera n’etandika okubanyiga. Abamu batandika n’okwejjusa lwaki baleka omulimu naye babeera tebasobola kuddayo.

Abakugu bagamba nti, omuntu yenna alina waakola wadde ng’abeera akozesebwa, talina kulekawo mulimu ogwo nga tannafuna mulala oba nga tannakuba pulaani kumanya ky’azzaako.

 uhindo ngali mu saluuni ye Muhindo ng'ali mu saluuni ye

 

Annet Muhindo, yali akola mu bbanka gye yamala emyaka mwenda n’akoowa. Ekirungi yali yatereka ku ssente ze yakolanga era yavaayo yeetegese.

Ng’avudde ku mulimu, yakola bizinensi ya saluuni era kati teyejjusa kuba ayingiza ensimbi.

Agamba nti, bwe yali tannatandika, yasooka kwetegereza bizinensi gye yali agenda okukola era oluvannyuma lw’okunoonyereza yakizuula ng’abakyala baagaala okwenyiriza enviiri n’ensusu nga kyangu okubakolamu ssente.

  1.  Sikowa kunoonyereza

Muhindo agamba nti, wadde kati bizinensi ye yakula era efuna, takoowa kunoonyereza kumanya bintu biri ku mutindo era ebisanyusa abakyala. Kino kimufuula ow’enjawula ku bakyala abalala abalina bizinensi ezefaananyirizaako eyiye, era kino nakyo kyongera okusikiriza bakasitoma be.

  1. Mpuliriza bakasitoma era ne mbawabula

Ebiseera ebisinga kasitoma ajja alina ky’ayagala naye Muhindo bw’alaba nga tekijja kumukolera, amuwuliriza era naye n’amuwa ku magezi mu ngeri y’okumuwabula. Kino kimuyamba okumanya bakasitoma be ne bafuuka mikwano gye.

byokwekolako byabakyala nabyo uhindo abirina mu saluuni ye ngengeri yokwongera ku nnyingiza nokugaziya akataleEby'okwekolako by'abakyala nabyo Muhindo abirina mu saluuni ye ng'engeri y'okwongera ku nnyingiza n'okugaziya akatale

 

  1. Nsasula abakozi mu budde:

Ebiseera ebisinga bizinensi zigaana okukula lwa butasasula bakozi naye ye abakozi bakola era ne beesasula. “Nkola saluuni ne nfuna abakozi, ne mbasalira ekkatala lye balina okutuusa mu mwezi era nga ku ssente ze bakola, kwe baggya emisaala gyabwe n’ebisale by’ekifo we bakolera.

Kino nkikola kubalaga bizinensi si yange nzekka wabula yaffe ffenna era bwe wabaawo anziba, nabo babeera bebbye kubanga nze bwe ndaba nga tebakola nga bwe mbasuubira, bizinensi ngiggalawo,” Muhindo bw’agamba.

By’afunye

“Mu kukola nfunye emikwano eginjigirizza okukola n’engeri ez’enjawulo ez’okuyiiya ssente,” Muhindo bw’agamba.

Ayongerako nti, okukola kumuyambye okukulaakulanya bizinensi ye nga kati alina amatabi ga bizinensi ez’enjawulo mu bitundu ebiwerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600