TOP

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente ezimbeezaawo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2019

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 703x422

Omukyala ng'agezesa mmotoka ya Kakooza enkadde

Bya Stella Naigino

Omuntu bw’alaba emmotoka enkadde ebiseera ebisinga alowooza nti, tezikyali ku mulembe naye abantu abamanyi okuyiiya ssente bo tebakoowa kukola nga Wazir Kakooza y’omu ku abo.

Kakooza akolera Ntinda ng’ayongera mutindo ku mmotoka enkadde n’azipangisa n’okuziguza abantu abalala era omulimu gwe agwenyumirizaamu.

 motoka enjeru akooza gye yawunda bwefaanana mu maaso Mmotoka enjeru Kakooza gye yawunda bwefaanana mu maaso

 

Nkola bye njagala

Kakooza agamba nti, eky’okubeera ng’akola ku mmotoka enkadde n’azongerako omutindo ky’ekintu ky’ayagala era ng’akinyumirwa.

“Okuvuga mmotoka zino eziriwo kati tekinsanyusa era nkimanyi nti mmotoka enkadde y’emmotoka entuufu omuntu gy’alina okuvuga.

Omuntu yenna ayagala okukola era afune akole ekintu ky’ayagala nga ne bw’asanga ebimusoomooza tawanika wabula yeeyongera mu maaso olw’omukwano gw’abeera nagwo n’ekyo ky’akola.

 no erabika ngeyendabirwaamu emuku zettanirwa abagole Eno erabika ng'ey'endabirwaamu emu ku zettanirwa abagole. Wano yali mu mwoleso gw'emmotoka enkadde.

 

Akola ebisikiriza bakasitoma

  1. Mmotoka zange ezisinga zikozesebwa bagole abazipangisa. Okusikiriza bakasitoma, mmotoka nkikola nga za mutindo gwa waggulu era nga za mulembe.
  2. Ebintu bye nteeka ku mmotoka, bisikiriza bakasitoma abandeetera abalala ne kinkuumira mu mulimu.
  3. Bakasitoma bange njogera nabo bulungi okusobola okubafunako emirimu.

Mmotoka enkadde okugiddaabiriza okugituusa w’ogyagala kitwala ssente nnyingi era okuziggyayo tekiba kyangu. Wabula bakasitoma bwe bajja mbalamulira ssente wadde olumu ziba nnyingi, njogera nabo era ne bazimpa ne baleeta n’abalala.

 no emmyuufu eriko nomupiira ogulinga ogwa sipeeya naye nga gwa matiribona Eno emmyuufu eriko n'omupiira ogulinga ogwa sipeeya naye nga gwa matiribona

 

Okusoomooza

Sipeya w’emmotoka enkadde wa bbula era nga mu Uganda ebiseera ebisinga tabaamu ate gw’ofuna abeera ku buseere. Mbeera nnina okumutumya nga mpita ku mukutu gwa yintaneeti nakyo eky’obuseere ate nga kitwala ebbanga. Abakanika mmotoka zino nabo batono.

Akatale

Ebiseera ebisinga nvuga mmotoka zange mu kibuga nga naziteekako nnamba y’essimu, gwe zisikiriza ng’ankubira.

Abalala bansanga mu galagi yange we nkolera.

akooza nengule gye yawangula mu 2017 Kakooza n'engule gye yawangula mu 2017

 

Nnettanira emyoleso gy’emmotoka enkadde egibeerawo mu ggwanga ne mu bifo eby’enjawulo. Gino ginkolera era mu 2017 nawangula okubeera n’emmotoka enkadde ennyingi nga ziri ku mutindo ogwa waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600