TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi y'embwa ze ntunda ku 300,000/-

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi y'embwa ze ntunda ku 300,000/-

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd July 2019

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako bye nneetaaga

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 703x422

Yawe ne munne nga balongooa enkoko

Bya Hafswa Nankanja

Abavubuka bangi olumaliriza emisomo banoonya mirimu gye basomereredde egitakyalabika. Ekiva mu kino, abasinga obasanga ku mbalaza mu lugambo na kuzannya zzaala n’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka. 

Wabula ky’ekiseera abavubuka abalenzi n’abwala okukyusa endowooza y’okukola by’osomeredde batunuleko ne ku mirimu emirala egiyingiza ensimbi ate nga osobola okwekozesa kyokka nga teweetaaga kapito mungi.

Mu kifo ky’okutunuulira oba okunyooma omulimu gwonna, sooka weebuuze by'ofiirwa mu kulindirira bye wasomerera ne by'ofunamu ng'okoze omulimu ng'ogwo. 

 awe ngannyulula enkoko mu mazzi agookya okugimaanya Yawe ng'annyulula enkoko mu mazzi agookya okugimaanya

 

Mbaaga nkoko ne nfuna ssente

Innocent Yawe 23, omutuuze w'e Kibuye omu ku bavubuka abatono abaasalawo okuva mu kutunuulira abazadde n'ayingirira omulimu gw'okubaaga enkoko n'okuzirongoosa. Omulimu guno agukolera mu katale e Kibuye nga bakasitoma abafuna ku midaala gy'abasuubuzi b'enkoko. Annyonnyola bw'akola omulimu guno:

Ebintu bya Katonda bizibu, sikirotangako wadde okukirowozaako nti ndisibira mu mulimu gw’okusala enkoko kubanga neegombanga busawo obw'abantu oba waakiri omukubi wa pulaani y'amayumba, nga okulongoosa enkoko ngutwala ng'omulimu gw'obucaafu ogw’abataasoma. Nkizudde kati nti, gusobola okukuyimirizaawo.

Nasomako okutuuka mu  S.4 ku Nansana S.S ssente ne zibula, nalaba ng'okutuula awaka ate nzire mu kusabiriza bazadde bange ebyetaago tekinkolera.

 awe ngayoza enkoko ewedde okumaanya Yawe ng'ayoza enkoko ewedde okumaanya

 

Nasooka ne nneebuuza ensonga lwaki ndera engalo nga buli kimu ku mubiri nkirina, kwe kusalawo noonye ku mirimu egya lejja lejja mwe nyinza okufuna ku ssente.

Nanoonya emirimu n’engatto ne zituuka okugwa olubege nga ne b’osanga mu bifo ebimu balaba ng’azze okubatwalako emirimu gyabwe.

Wabula mbeera eby’okunoonya emirirmu mbivuddeko, mukulu wange, Moses Kigozi abeera ku lw'e Salaama n’ankubira essimu ng’ende ewuwe. Mu mwezi ogwokubiri ng’atutte, yaleeta abazimbi okuddaabiriza enju ye n’ang’amba nkole nabo era twakolera omwaka mulamba.

Eyali mukama waffe mu kuzimba yafunanga emirimu emirala okumpi n'ampita muyambeko nga naye bw'ansasula.

Bwe twatuuka okusiiga langi ewa baaba, ate omuzimbi n’agenda e Masaka olwo amagezi ne gamwesiba. Namugamba nti, nja kugisiiga kye nakola nasiima.

Mukulu wange naye alongoosa nkoko era namusaba antwale nange nkole mu katale e Kibuye gye yannyanjula ne banzikiriza.

Nasasula 70,000/- egy'obwammemba nga baaba yansasulirako 40,000/- ezaali ez'omusaala gwange gwe namusiigira langi endala ne nzisasula oluvannyuma lw’emyezi ebiri.

 awe ngatwala ezimu ku nkoko zamaanya Yawe ng'alaga emu ku mbwa z'alunda

 

Nalinawo 8,000/- ne ngulako ettaawo ne magetisi nga wayise wiiki emu. Teri mulimu mwangu, ng'oggyeko okubeera n'amazima, buli mulimu gwetaaga omuntu omukujjukujju era omukalabakalaba ate ng'olina obwangu obw'ekitalo. Bino bye bimu ku bimpaangaazizza mu mulimu guno kubanga baaba olwandeeta teyatawaana ate kunnoonyeza mirimu naye nafuna bakasitoma. 

Abalala naddala Abasiraamu bw'awulira nga bakuyita erinnya takutunulako ng'alowooza nti oyinza okumuliisa ennyama enkaafu.

Kye nneebaliza Katonda, baaba waliwo akaseera we yafunira bakasitoma be n'andagira mbakoleko olwo nga nze abantu ne bwe mbakakasa ntya beefuula abatampulira. Nabakolako bulungi ne basiima bwe ntyo ne nfuna entandikwa era kati abamu bankubira ssimu ne mbaguliza enkoko ne nzirongoosa ne basanga ziwedde.

 awe bwafaanana Yawe bw'afaanana

 

Enkoko zaawulwamu emiteeko:

Okubaaga enkoko kwawulwamu emiteeko esatu. Buli kika kya nkoko kirina ensala ya njawulo nga bw'ekulema okutuukiriza we bakulabira nti oli muyiga era tebaddamu kuzikuwa.

  1. Waliwo enkoko ez'ennyama oba ze bayita enjeru. Zino ze zitwalibwa abakozi ba bizinensi ng'abookya, abasiika mu butto n'abalala. Zino olw'okugonda n'ensala yaazo ya kwegendereza. Emirundi egisinga bakasitoma ffe tubatemeramu ebifi okusinziira ku ky'abeera yakugambye naye olina okukakasa nti, amaliba gasigala geekutte bulungi ku nnyama songa n'amagumba ogamenyedde mu nnyingo. Abamu baagala oleke ng'amagulu mawanvu ate abalala nga mampi, kino bwe kikulema nga ggwe omulimu tolina.

Olw'okuba bakasitoma bano babeera mu bizinensi bo tubakolerako ku 500/- zokka.

  1. Waliwo enkoko ez'awaka. Muno mwe tutwalira enkoko ez'amagi, eng’anda n'endala ezitali za bizinensi. Zino ziba zikalubamu naye olina okuzirongoosa bulungi ne zisigala nga tozibabudde mazzi mwe tuzinnyika. Zino okuzikolako kwonna kuggweera mu 1,000/-.
  2. Ezitannyikibwa mu mazzi gookya: Omutendera omulala gwe gw'enkoko ez'okukongola obukongozi nga tosoose kuzinnyika mu mazzi agookya. Zino tuziyita za V.I.P era n’ebbeeyi yaazo eyawukana ku ndala. Olina okufaayo ku kasitoma ky'ayagala, bw'okisobya ggwe okisasulira.
 biyumba awe mwalundira embwa ze Ebiyumba Yawe mw'alundira embwa ze

 

Emisoso egiri mu  kulongoosa enkoko

  1. Okukwana emikwano n'abasuubuzi b'enkoko ab'emidaala. Bano be bamu ku bakufunira bakasitoma.
  2. Eby'otulo tw'oku makya olina okubivaako kubanga bakasitoma bakeera okusala enkoko za woteeri n’ebiriiro by’emmere ebirala. Kasitoma agula enkoko nga ttaano ng'ayagala ozimuwe mu ddakiika 30. Kitegeeza nti, buli nkoko olina okugimalirako eddakiika ezitasukka mukaaga nga kuno kw'otadde n'obudde bw'omala mu kkubo okuva ku mudaala okutuuka gye tuzikolerako.
  3. Olina okukozesa obwangu obw'ekitalo kubanga oyinza okuba ng'oliko enkoko z’ononye ku mudaala n'osangayo kasitoma omulala n'akubuuza nti onoosobola okunkolako amangu. Olw'okuba oyagala ssente era okkiriza. Ate obeera waakatandika okumukolako, omulala n'ajja nga naye ali mu bwangu. Bano bonna oteekeddwa okubakolerako mu budde bwabwe bwe mulagaanye ne kubulako atoma.
  4. Bakasitoma bonna basobola okukukwasa enkoko ekika kye kimu naye okozesa obukugu obw'enjawulo okulaba nga buli omu omuddiza ezo zennyini ze yakuwadde. Mu mbeera eno kye nkola buli kasitoma nnamba ky'ampadde okugeza nsobola okusala ku magulu, endala emitwe nsala miwanvu n'emimpi. Buno bwe bukujjukujju.
  5. Enkoko bw'ozituusa oteekeddwa okunoonya omuntu Omusiraamu y'ateekeddwa okuzisalako emikono era bwe weetumiikiriza nga toli Musiraamu kikugobya ku mulimu.
  6. Enkoko enzungu (enjeru) tolina kuzinnyika mu mazzi gookya kubanga otta empooma yaazo so ng'endala nga ez'amagi n'eng’anda amazzi galina okuba nga gookyera ddala. Ate olina okukozesa obwangu ng'ozikyusakyusa n'oziggyamu mangu nga tezinnaba kwefumba.
  7. Buli nkoko bagitusoloozaako 50/- ez’okulongoosa ekifo. Kuno ogattako ez'amazzi ge tukozesa agookya n'amabisi.
  8. Kasitoma omuwa buli kintu ekibeera mu nkoko ze okugeza; ebibumba, amagi, n'abalala basaba ebyenda.

Olunaku nkola ku nkoko eziri wakati wa 15 ne 25. Muno mubaamu ez'abawooteeri abagula mu bungi.

Olunaku nsobola okunnyuka ne ssente ezitakka wansi wa 15,000/- ng’amagoba.

Tulina n'ekibiina kyaffe nga kya bantu mukaaga mwe tutereka 50,000/- buli wiiki, era wabeerawo munnaffe afuna ssente zino ng'omugatte zibeera emitwalo 30.

 awe ngazannyamu nemu ku mbwa ze Yawe ng'azannyamu n'emu ku mbwa ze

 

Mpeebwa obwamaneja w’ekifo

Abatwala ekifo kino baasiima enkola yange era waayita emyezi ebiri gyokka ne bampa obwamaneja bw’ekifo kino.

Sasooka kukikkiririzaawo nga nneewuunya engeri gy’ambuusizza amadaala ne mpita ku bannange be nasangawo. Olw’okwekkiririzaamu, namanya nti guno mukisa ogwali guvudde ewa Katonda gwe nali nnina okukozesa okuyamba abalala. Mu bukulembeze bwange nsobodde okuyambiramu abavubuka bangi nga mbawa emirimu kubanga buli ajja ng’asaba emirimu wano alina okusooka okundaba. Bwe bajja sibakaluubiriza, kasita ndaba ng’oli mwesimbu nga nkukkiriza kubanga guno omulimu amaanyi go, obwesimbu n’obukujjukujju bye bimu ku bikweyimirira.  

Enjawulo eri ku buweereza bwange

Nasalawo okukung’aanya ebyenda by’enkoko zonna ezisalibwa era mbiguza abalunda embwa n’embizzi okuva ku 1,000/- (olubatu lumu) okutuuka ku bungi omuntu bw’ayagala.

Buli lunaku ntunda ebyenda bya 40,000/- era ssente zino ze zinnyamba ku kuddukanya ekifo kino. Kwe nsasula ez’ekifo 380,000/- buli mwezi, gattako okuyonja ekifo kubanga nateekako abantu ababeerawo obudde bwonna okulaba ng’ekifo kiyonjo.

 awe nemu ku mbwa ze Yawe n'emu ku mbwa ze

 

Nsasulako amazzi agalongoosa ekifo ne ge twozesa enkoko. Kale okutwaliza awamu, mu kifo ky’okutawaanya abantu nga mbasoloozaamu ssente ezikola, nasalawo okukola kino era kinnyambye mu kuddukanya emirimu.   

Waliwo ne 50/- eziwoozebwa ku buli nkoko omuntu gy’aleese okulongoosa. Zino nazo nziwa nannyini kifo era buli lunaku mmuwa wakati wa 40,000/- ne 50,000/- okusinziira ku bwe tuba tukoze.

Bizinensi enzaalidde endala

Bakasitoma bange be nguza ebyenda nabakwanako emikwano. Lumu nababuuza ebyenda kye babikozesa kwe kunzibirako nti, babiwa embwa zaabwe naddala enzungu. Nneekwata ku bamu ne mbasaba okunsomera mu ddiiru y’embwa eno. Oluvannyuma lw’okunyinyonnyola nalaba nga bifuna kiralu era wano nange we nafunira ekirowoozo ky’okutandika bizinensi ey’okulunda embwa gye natandika mu mwezi gwokusatu omwaka oguwedde.

Olw'okunsobozesa okulambula obulungi nasalawo okunoonya ekifo mu Kibuye mwennyini okuliraana we nkolera. Nakwatagana ne mukwano gwange ne tufuna ku kikubo ekiri mu maaso ga poliisi y'e Kibuye.

Embwa zino nzisuubula ku bakasitoma bange ab'enkoko bennyini ku ssente eziri wakati w'emitwalo 30 ne 40. Zino zibeera ziri mu myezi ebiri gyokka era be bakuzigirira abalala ab'okukugulako ebyana.

Mu kiseera kino nninawo embwa nga ttaano ng'emu yazadde ate endala eri ggwako. Nsuubira bw'eneeba ezadde nnyinza okufunawo ebibwa nga bitaano n’okusingawo. Bw'okubisa ebyana 5 x 300,000/- buli kimu ofuna 1,500,000/- oba 2,000,000/- mu bbanga lya myezi etaano gyokka. 

Bakasitoma abaabulijjo bazigula ssaako n'ebitongole okuzeeyambisa ku gw'obukuumi.

Embwa zino nziriisa mmere ya byenda bya nkoko mpozzi lwe nkyusizzaako ne nziwa ku mukene oluusi n'obuugi bwa kasooli.

Nnina abasawo abakugu abazikolako okuggyako bwe zibeera zifunye obuzibu mu kiro nze kennyini nzeekolerako. Nnunda embwa ez'ebika eby'enjawulo enzungu nga zikulira mu bbanga ttono.

awe ngatwala enkoko zokusala gye bazirongoosezaYawe ng'atwala enkoko z'okusala gye bazirongooseza

 

Bye nfunye mu mulimu gwange

  1.    Nfunyeemu emikwano emirungi. Era bano bamu kw'abo abanfunira bakasitoma b'embwa n'abalala ab'okusalira enkoko.
  2. Nsobola okwebeezaawo. Kubanga olwali okutandika okukola mu mwezi gumu gwokka nali mmaze okwetongola okuva mu maka ga mukulu wange. Enju yange yonna erimu buli ky'owulira nti kiteekeddwa okubeera mu nju epangisibwa.
  3.   Ndi mu nteekateeka ya kwegulirayo poloti ntandike obulamu obulala.
  4. Nnina abavubuka bangi abalala be ndeese nga mu kiseera kino balina kye balagawo kye batandise kye bakola.
  5.   Nze ne bannange tukola ku bungi bw'enkoko zonna z'obeera otuwadde nga tupangisibwa ne ku mikolo egy'enjawulo. Bw'oba toyagala nkoko nyinyike mu mazzi gookya naawe tuzikulongosereza ne zinyirira bulungi.
  6.   Nnina omuvubuka gwe nkozesa ne nsasula omusaala nganange nnina ettoffaali lye ntadde ku ggwanga mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu.

Ebizibu

  1. Ng'oli mupya okufuna bakasitoma kizibu.
  2. Waliwo lw'oteeka enkoko za kasitomawo mu kifo ate ne munno n'ateekawo ezize, kati mu kuggya okusitula oli n'akola ensobi n'aggyawo ezizo. Kino kitusuuza bakasitoma kubanga babeera balowooza nti wazikyusizza mu bugenderevu. Olumu ziyinza okuba eng’anda ate ne balekawo enzungu. Loosi eno yonna ggwe agisasulira ate nga n'obwesigwa tosigazza.
  3. Waliwo ne bakasitoma abafuuka ab'olulango. Bano akukubira bukubizi ssimu nti ndi mu kkubo genda oggyeyo enkoko bwe ziti ozikoleko, kyokka oluusi ne yeekuba ng’omalirizza okuzisala. Wano olina okusasulira enkoko zino, osobola okufuna akuwaamu layisi naawe n’oyongerezaako.
  4. Nnina ab'eng’anda abamu abatusaba enkoko nga bagamba nti, engeri gye tukolayo tufuna za bwereere. Bw'otomuwa akunyiigira nga tamanyi nti naawe oyinza okumalako omwezi nga togikombyeko.
  5. Ekizibu ekisinga okunnuma kwe kugamba kasitoma nti enkoko ng’ende ngisale ye n'akugamba nti nedda mmwe mukyusa enkoko ne mutuwaamu ezifudde. Kasitoma enkoko agyegulira era n'atuula awo ne mumukolako ng'alaba, okuggyako aba bizinensi abatwesiga era nga nabo ezaabwe tuziggya ku midaala.
  6. Baliraanywa baffe nabo bayitiriza okutuvuma nga bwe tubawunyirira.
  7. Bakasitoma baffe kizibu okuteebereza nti, leero ogenda kubafuna mu bungi era olumu oyinza obutajja ate ne bayiika mu bungi. Oteekeddwa okujja buli lunaku nga ne wiikendi mw'ogitwalidde.
 nnocent alabirira embwa za awe Innocent Luwandagga alabirira embwa za Yawe

 

Ebinyambyeokubeera mu mulimu guno

  1.  Nkola sseebalirira: Ebya banandaba batya nabivaako, kasitoma bw'ampita nga ndi ku mulimu ate sidda mu bya kuwoza mbu kammale okukyusa engoye, ng’enderawo nsobole okutuukiriza obudde bwe. Olumu batutwala ewala nga e Masaka naye era nze ng’enda nyambalidde ddala ekiraga nti ng’enda ku mulimu.
  2. Abantu bootya okukulaba bw'onoonya ssente ate bw'ozibasaba tebaggya kuzikuwa.

Bw'onsanga mu biseera byange eby'eddembe kizibu okumanya nti nkola mulimu ogwenyinyalwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600