TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Abayizi mubatendeke ebyemikono beetegekere ebiseera byabwe eby'omu maaso

Abayizi mubatendeke ebyemikono beetegekere ebiseera byabwe eby'omu maaso

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2019

Abayizi ba pulayimale bakoze peeva ne beewuunyisa omukungu wa KCCA e Kyebando

Paverswebuse 703x422

Omuyizi ng'akola peeva mu maaso g'akulira ebyenjigiriza mu KCCA, Nambi Namuddu n'abasomesa abalala

Bya Madinah Sebyala

Akulira ebyenjigiriza mu kibuga ky’e Mukono, Juliet Nambi Namuddu akunze abasomesa bayambeko okusitula ebitone by’abayizi ebyemikono by’agambye nti, biwa omwana ebiseera eby’omu maaso ebirungi kuba bimuteekateeka obutanoonya mirimu. 

Namuddu yagambye nti, okutumbula ebyemikono ky’ekimu ku minisitule y'ebyenjigiriza n’emizannyo ky’esiiba ebakubiriza okukola wabula amasomero mangi tegafuddeeyo ku nsonga eno ekireetera abaana okukaluubirizibwa nga bamalirizza emisomo naddala mu kunoonya emirimu n’akunga amasomero gonna okulaba ng’ebyemikono babisoosowaza. 

 muyizi omuwala ngannyonnyola akulira ebyenjigiriza mu  ambi amuddu bwe bakola peeva Omuyizi omuwala ng'annyonnyola akulira ebyenjigiriza mu KCCA, Nambi Namuddu bwe bakola peeva

 

Yabadde ku mwoleso gw’ebyemikono ogwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti, “Okutumbula ebyemikono eggwanga kwe linaatambulira enkya” ku ssomero lya St. Paul Kyebando P/S  mu Divisoni y'e Kawempe ku Lwokutaano.

Abayizi baayolesezza ebitone nga bakozesa obwongo n’emikono nga bayita mu Club 31 omwabadde okutunga, okukuba bbulooka, okubumba, okuyimba, okukola peeva n’ebirala.  

Namuddu yakunze abazadde okussa mu nkola abayizi bye babalazeeko babagulire ebyetaagisa bagufuule mulimu basobole okubaako obuntu obutono bwe beetuusaako.

Omukulu w'essomero lino, Kisakye Nsubuga yagambye nti kino bakikoze kwagala kulaga nsi nti ebyemikono ly’essuubi ly’abayizi ery’omu maaso n'asuubiza nti, bajja kugenda mu maaso nga babiyigiriza abayizi baabwe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza