TOP

Atalina mulimu wettanire eby’okufumba

By Musasi wa Bukedde

Added 30th July 2019

Anoonya emirimu sooka ogendeko mu mmere tojja kwejjusa

Luyiigarightakolanabakozwebuse 703x422

Luyiga ng'akyusa enkoko

Bya Stella Naigino

Emirundi egisinga abantu bakaaba bwavu na butaba na mirimu nga beerabidde nti ensi kuyiiya nga n’ekimu ku by’oyinza okukolamu ssente kwe kufumba.

Brenda Luyiga, yasoma bya mawulire, wabula bwe yakolako nga ssente z’afuna ntono n’adda mu by’okufumba.

 bamu ku bakozi ba uyiga nga bateekateeka ebyokulya mu kifo ekiyonjo Abamu ku bakozi ba Luyiga nga bateekateeka ebyokulya mu kifo ekiyonjo

 

Agamba nti, “ Njagala eby’okufumba ate omuntu bw’akola omulimu ng’ayagala buli kimu kitambula bulungi. Sirekerera bakozi wabula mbayamba ne kinnyamba n’okumanya bizinensi bwetambula buli lunaku.

Ekirala mmanya kye bayitamu nga bakola n’okusoomoozebwa kwe basanga ne ndaba bwe tumalawo obumulumulu obwo.

Nfumba ku mikolo era abantu bangi bampa emirimu. Nkozesa abantu ab’enjawulo omuli n’aba famire yange nga bano buli omu alina emirimu gy’ateekeddwa okukola nga kino kimuyambako obutatawaanyizibwa kulondoola bakozi balala.

 mmere ewedde okuteekateeka ngerinze kugabulwa ku mukolo Emmere ewedde okuteekateeka ng'egabulwa ku mukolo

 

Obuyonjo kintu kikulu naddala mu bintu by’emmere kubanga obeera okwatiridde bulamu bw’abantu, ate nakyo kisika bakasitoma.”

Okusoomoozebwa

Luyiga agamba nti, ebbeeyi y’emmere olumu yeeyongera nga kino kibakosa kuba emmere tetugyongeza.

 uyiga yeenyigira mu mirimu gyonna Luyiga yeenyigira mu mirimu gyonna

 

By’afunye

Kinnyambye okwongera ku nyingiza yange era sseeraliikirira kya ssente.

Mpadde abantu emirimu ne ngatta ku ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...