TOP
  • Home
  • Yiiya Ssente
  • Obwayinginiya mbwongerezaako okuzimba ebyoto ne nfuna ssente

Obwayinginiya mbwongerezaako okuzimba ebyoto ne nfuna ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 30th July 2019

Nagaana okulemera ku mulimu ogumu nga ndabye omuwaatwa awali ssente

Installationofthestovesbeingdonewebuse 703x422

Ogang ng'amaliriza okuzimba ekyoto eky'omu nyumba

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga omuntu bw’amaliriza okusoma, atandikirawo okunoonya omulimu era bw’agufuna, abasinga balowooza nti batuuse gye balaga naye Tony Ogang agamba nti beerimba.

Ogang yasomerera bwayinginiya era azimba amayumba n’okuwunda nga kuno kwe yayongereza okukola ebyoto. Agamba nti:

Olumu nalaba abantu nga batawaanyizibwa nga bafumba ne mmanya nga waliwo ekibulawo era ne nfuna ekirowoozo ky’okukola ebyoto ebirongooseemu ne nfuna ssente.

 kyoto ekiwedde okuzimba ebweru Ekyoto ekiwedde okuzimba ebweru

 

Naddayo eka ne nkola kye nalowooza era mikwano gyange bwe bajja ewange nabo bansaba mbakolere ng’eno ye yali entandikwa y’enkyukakyuka mu nfuna yange.

Bwe nalaba ng’akatale kagezze ne nfuna ekifo awagazi we nkolera nga kati nkola n’essigiri ezikekkereza ezikozesa amanda n’enku.

Nkozesa sseminti, bbulooka, omusenyu, tayiro n’ebirala. Nzimba ekyoto ekikozesa amanda n’enku

Nga n’awagenda evvu wabaawo ne kyanguyira afumba okuliggyamu.

 masiga agafumbisa enku namanda agawedde okuzimba mu nju munda Amasiga agafumbisa enku n'amanda agawedde okuzimba mu nju munda.

 

Kungulu kw’ekyoto nteekako tayiro okulabisa effumbiro obulungi era nga liyonjo.

Kissibwako payipu efulumya omukka ebweru ne gutabuna mu ffumbiro.

Mu bye nfunye mulimu; okwongera ku nfuna yange,

okuwa abavubuka emirimu n’okwebeezaawo mu bulamu obweyagaza ne famire ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hit2 220x290

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA...

Eby'okwerinda binywezeddwa mu KCCA

Kam1 220x290

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite...

Mao abalaatidde mu nsonga za Anite

Lop2 220x290

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye...

Omugagga Samuel Buchanan bamuvunaanye gwa mmundu

Lop2 220x290

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo...

Taata wa Babirye ayogedde ku biriwo

boogera Baliraanwa ba Babirye boogedde...

boogera Baliraanwa ba Babirye boogedde