TOP

Abakyala b'e Masaka obwavu babugobye na kukola sabbuuni

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Abakyala abasoba mu 50 e Masaka baakoowa okusabiriza abaami kati bakola byamikono okubeezaawo famire zaabwe.

Womenmakingsoapwebuse 703x422

Abakyala nga balaga bwe bakola sabbuuni

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga abakyala babeera basuubira kuweebwa naye bano ab’e Masaka, bagamba nti ebyo byadda omulembe guno gwa kuyiiya.

Bano baasalawo okweyigiriza okukola ebintu eby’enjawulo basobole okuggyamu ssente bakyuuse ku bulamu bwabwe.

Beeyigiriza okutunga ebyalaani, okufumba, okukola sabbuuni n’ebirala.

 bakyala nga balaga sabbuuni awedde okukola Abakyala nga balaga sabbuuni awedde okukola

 

Lydia Nampiima, abakulira agamba nti bwe yali tanneegatta ku bakyala bano, yali alima era ng’alinda bba n’aleeta ne balya. Omwami bwataaguliranga baana ngoye oba ngatto, olwo nga tebambala era nga bw’atasasula bisale bya ssomero, olwo nga tebasoma.

Wabula kati, Nampiima agamba nti, okuva lwe yeegatta ku bakyala bano embeera yakyuka.

Agamba nti: Ekibiina kirimu abakyala 50 wadde baatandika 10.

Basonda ssente ne bafuna ekifo we bapangisa nga wano we bakung’aanira ne bayiga ebyemikono.

Bwe bamala okukola, batunda bye bakoze era ne bafuna ssente ze batereka okumala emyezi esatu olwo nga ziweze ne bazigabana nga baggyeko n’ezisasula ekifo we bakolera.

 ampiima sentebe wekibiina kyabakyala ngalaga sabbuuni gwe bakola Nampiima, Ssentebe w'ekibiina ky'abakyala ng'alaga sabbuuni gwe bakola

 

Baawandiisa ekibiina kyabwe

Jude Jjuuko, omu ku basajja abeeyama okuyamba abakyala bano okusomesebwa okukola ebintu eby’enjawulo agamba nti, bwe yabasanga yasanyuka ng’alaba abakyala abaagala okukola.

Yabasaba okukola Ssemateeka afuga ekibiina era bwe baakimaliriza, yatandika okubaleetera abantu ab’enjawulo okubasomesa okukola ebintu eby’enjawulo. Bano kati bakola era basanyufu.

 ude juuko ngaliko byannyonnyola Jude Jjuuko ng'aliko by'annyonnyola

 

Ekibakuumidde awamu

  1. Bategeeragana: Abakyala bano bategeeragana n’okukola obulungi ebintu byabwe era bwe kituuka ku kugabana ssente, bakikola awatali luyombo.

Ssente zino bamanyi n’okuziwola bannaabwe abali mu bwetaavu era nga wadde abeera tazikomezzaawo mu budde, tebamussa ku nninga kusasula kuba babeera bamanyi nti ajja kusasula.

  1. Baagaliza: Agnes Nairuba, omu ku bammemba agamba nti, abakyala baagaliza era eby’okuwalaggana tebiri mu kibiina kyabwe. Omuntu bwe yeegomba munne ky’alina, amwebuuzaako n’amuyamba naye okukifuna ekibayambye okwekulaakulanya.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...