TOP

Twayigira ku bannaffe okutunga engatto ezituliisa kati

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Okutunga engatto twamala kulaba bwetaavu mukitundu kyaffe e Nabutitti - Kansanga era tetwejjusa

Georgewebuse 703x422

Sserebe ng'akola obugwa bw'ateeka ku ngatto

Bya Benjamin Ssemwanga

Abavubuka bakaaba emirimu ne badda mukusaba Gavumenti okubayamba oluusi ekitasoboka kuba teyinza kuwa muntu ssekinnoomu.

George Sserebe, olwakitegeera nti ensi kuyiiya kwe kutandika okutunga engatto nga yayigira ku bantu abaali bakola ezisiibwamu. Annyonnyola nti: Ekirowoozo twakifuna ne bannange basatu nga tulaba obwetaavu bw’engatto e Nabutitti - Kansanga era ne tutandika mu 2018 nga twafuna abatuyigiriza era olwamaliriza naffe ne tutandikawo ekyaffe.

 serebe ngali mu kafo ke wakolera e abutitti Sserebe ng'ali mu kafo ke w'akolera e Nabutitti

 

Bye nfunye

  1. Okubeerako kye nkola ng’omuvubuka ne sifuuka kireereesi.
  2. Nsobola okwebeezaawo nga sisabiriza.

Ebisoomooza

  1. Ebikozesebwa bya bbeeyi ya waggulu nga kw’otadde n’emisolo egiteekebwako emiyitirivu.
  2.  Okuvuganya ku katale ke tutundako engatto nakwo kunene kuba abazikola tuli bangi.
 zimu ku ngatto eziwedde okukola Ezimu ku ngatto eziwedde okukola

 

Tufunamu tutya

Bwe tumala okutunga engatto tuzitunda ku bbeeyi ey’enjawulo okuli 10,000/- ne 15,000/- omuli okutunda mu kamukamu n’okusuubuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye