TOP

Zimba ennyumba z’abapangisa weenogere ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 9th August 2019

Ayagala okwetegekera obukadde bwe kisaanye ssente oziteeke mu mayumba g'abapangisa nga muzeeyi Owor ow'e Mutungo bw'akoze era teyejjusa

Owori2webusenew 703x422

Owori ng'alaga ennyumba z'abapangisa ze yazimba

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga abantu babeera ne ssente naye nga beewuunya kye basobola okuzikolamu nga kinaazaala amagoba.

Mark Owor, nga mutuuze w’e Mutungo agamba nti, omuntu talina kutunula walala wabula ateeke ssente mu kuzimba amayumba g’abapangisa tajja kwejjusa.

Agamba nti, yakigezaako era kati afuna ssente buli mwezi ng’omupangisa ne bw’agenda teyeeraliikirira kubanga abeera ajja kufuna omulala.

Annyonnyola nti, ekintu ekikulu omuntu ky’alina okussaako amaaso kwe kuzimba ennyumba ennungi eneesikiriza abantu abalina ku ssente nga bano tebakaluubizibwa kusasula.

 wor ngali mu mpya abaana babapangisa we bazannyira nabakulu okuwummulirako Owor ng'ali mu mpya abaana b'abapangisa we bazannyira n'abakulu okuwummulirako

 

“Ebintu ebirala by’olina okussaako essira y’engeri gy’ojja okufunamu ssente zino oba abapangisa bajja kuziteeka ku akawunti oba bazikuleetere awaka wo oba ggwe ozinone.

Engeri y’okusasula nkulu era ggwe azimba ennyumba z’abapangisa tolina kukibuusa maaso.”

Ebimuyambye okwekuumira mu bizinensi

  1. Abapangisa abayisa bulungi ng’abaleka ne bakola ebyo ebibasanyusa era tabamalaako mirembe wadde abeera kumpi nabo.
  2. Amanyi obuvunaanyizibwa bwa landiroodi era bwe wabeerawo obuzibu ku nnyumba, abutereeza mangu olwo abapangisa ne babeera basanyufu. Agamba nti, kino kiwangaazizza abapangisa be era abasinga bavaawo bamalirizza okuzimba ezaabwe.

By’afunyemu

Ssente ezimubeezaawo mu bukadde bwe era akikakasa nti n’abazzukulu baliganyulwa mu nnyumba zino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye

Lop1 220x290

Ebya Museveni ne Kagame bireka...

Ebya Museveni ne Kagame bireka wa basajja ba Kayihura

Hit1 220x290

Aba Bobi Wine baddizza Otafire...

Aba Bobi Wine baddizza Otafire omuliro