TOP

Owa yunivasite asobola okutunda ffene n'afuna fiizi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2019

Ffene gwe ntunda nfunamu 450,000/- n'okusingawo mu mwezi nga zino omuyizi wa yunivasite ng'amutunze azisonda n'afuna fiizi

Img6119webuse 703x422

Kyobe ng'aguza omuyizi ffene

Bya Sauyah Namwanje

Abayizi ba yunivasite batandise okusoma naye bangi ebiseera ebisinga bwe babeera tebalina ssomo, obudde babumala mu kwebaka, ku mikutu egy’omutimbagano n’okulaba firimu n’obutambi ebya buli ngeri.

Naye omuyizi yenna owa yunivasite asobola okubaako omulimu gwe yeetandikira n’afunamu ku nsimbi ate nga naye asobola okwebeezaawo n’awewula ne ku muzadde we.

Peter Kyobe, atunda ffene agamba nti guno gwe mulimu omuntu gw’asobola okutandika ne kapito wa 20,000/- era tegwetaaga kusasula za kifo kubanga obeera kumpi n’akatale. Ku 20,000/- ogulako akambe (kagula wakati wa 1,000/- ne 2,000/-), ekigaali ky’oyinza okupangisa wakati wa 2,000/- ne 3,000/- buli  lw’okola (okugula ekiwedde oyinza okukifuna ku 200,000/-), butto, obuveera oba amawulire.

 yobe ngawa omuyizi ffene gwatunda 1000 Kyobe ng'awa omuyizi ffene gw'atunda 1,000/-

 

Osobola okufuna enkota za ffene ku 20,000/- okuva mu katale oba mu nnimiro era ggwe osalawo okusinziira ku ssente z’obeera oyagala okufuna olunaku olwo bwe bungi bwa ffene gw’osuubula.

Bw’omugula ku mulimi nga yamwereetedde mu katale osobola okumufunako amagoba ga 50,000/- oba 60,000/- ate bw’omuggya ku musuubuzi gw’oguze 20,000/- osobola okumufunako amagoba agali wakati wa 35,000/- ne 40,000/-.

Kyobe agamba nti, omuyizi bw’aba akyasoma abeera alaba ebiseera bye eby’omu maaso nga bitangaavu ng’ate emirimu egy’engeri eno tegikugyaamu so ng’ate byonna biyinza okugaana.

Ayongerako nti, bizinensi eno bw’ogikola buli lunaku mu mwezi osobola okufuna 450,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...